< Engero 15 >
1 Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.
回答柔和,使怒消退; 言语暴戾,触动怒气。
2 Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi, naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
智慧人的舌善发知识; 愚昧人的口吐出愚昧。
3 Amaaso ga Mukama galaba buli wantu, alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.
耶和华的眼目无处不在; 恶人善人,他都鉴察。
4 Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
温良的舌是生命树; 乖谬的嘴使人心碎。
5 Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe, naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
愚妄人藐视父亲的管教; 领受责备的,得着见识。
6 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
义人家中多有财宝; 恶人得利反受扰害。
7 Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya, naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
智慧人的嘴播扬知识; 愚昧人的心并不如此。
8 Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama, naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
恶人献祭,为耶和华所憎恶; 正直人祈祷,为他所喜悦。
9 Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama, naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
恶人的道路,为耶和华所憎恶; 追求公义的,为他所喜爱。
10 Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi, n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
舍弃正路的,必受严刑; 恨恶责备的,必致死亡。
11 Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama, n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu! (Sheol )
阴间和灭亡尚在耶和华眼前, 何况世人的心呢? (Sheol )
12 Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era teeyeebuuza ku b’amagezi.
亵慢人不爱受责备; 他也不就近智慧人。
13 Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso, naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.
心中喜乐,面带笑容; 心里忧愁,灵被损伤。
14 Omutima omutegeevu gunoonya okumanya, naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.
聪明人心求知识; 愚昧人口吃愚昧。
15 Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera, naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.
困苦人的日子都是愁苦; 心中欢畅的,常享丰筵。
16 Okuba n’akatono ng’otya Mukama, kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
少有财宝,敬畏耶和华, 强如多有财宝,烦乱不安。
17 Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
吃素菜,彼此相爱, 强如吃肥牛,彼此相恨。
18 Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo, naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
暴怒的人挑启争端; 忍怒的人止息纷争。
19 Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa, naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.
懒惰人的道像荆棘的篱笆; 正直人的路是平坦的大道。
20 Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
智慧子使父亲喜乐; 愚昧人藐视母亲。
21 Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi, naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
无知的人以愚妄为乐; 聪明的人按正直而行。
22 Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa, naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
不先商议,所谋无效; 谋士众多,所谋乃成。
23 Okuddamu obulungi kisanyusa, era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
口善应对,自觉喜乐; 话合其时,何等美好。
24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe. (Sheol )
智慧人从生命的道上升, 使他远离在下的阴间。 (Sheol )
25 Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
耶和华必拆毁骄傲人的家, 却要立定寡妇的地界。
26 Enkwe za muzizo eri Mukama, naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
恶谋为耶和华所憎恶; 良言乃为纯净。
27 Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
贪恋财利的,扰害己家; 恨恶贿赂的,必得存活。
28 Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula, naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
义人的心,思量如何回答; 恶人的口吐出恶言。
29 Mukama ali wala n’aboonoonyi, naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
耶和华远离恶人, 却听义人的祷告。
30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima, n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
眼有光,使心喜乐; 好信息,使骨滋润。
31 Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu, alituula wamu n’abagezi.
听从生命责备的, 必常在智慧人中。
32 Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka, naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
弃绝管教的,轻看自己的生命; 听从责备的,却得智慧。
33 Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi, n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
敬畏耶和华是智慧的训诲; 尊荣以前,必有谦卑。