< Engero 14 >
1 Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
2 Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama, naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.
3 Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa, naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
4 Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu, naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
5 Omujulizi ow’amazima talimba, naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.
6 Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba, naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.
7 Teweeretereza muntu musirusiru, kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.
8 Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola, naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
9 Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi, naye abalongoofu baagala emirembe.
10 Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo, tewali ayinza kugusanyukirako.
11 Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa, naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.
12 Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu, naye ng’enkomerero yaalyo kufa.
13 Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku, era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.
14 Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye, n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira, naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.
16 Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi, naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
17 Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru, n’omukalabakalaba akyayibwa.
18 Abatalina magezi basikira butaliimu, naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.
19 Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu, n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.
20 Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu, naye abagagga baba n’emikwano mingi.
21 Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba? Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.
23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga, naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.
25 Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu, naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.
26 Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi, era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
27 Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi, naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.
29 Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi, naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
30 Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.
31 Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
32 Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa, naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.
33 Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera, era yeeyoleka ne mu basirusiru.
34 Obutuukirivu buzimba eggwanga, naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.
35 Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi, naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.