< Engero 12 >
1 Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi; naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
喜愛受教的人,必喜愛智慧;憎恨規勸的人,真是糊塗。
2 Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama, naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
善心的人,必得上主喜悅;心術邪惡的人,必受降罰。
3 Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu, naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
沒有人作惡而能穩立,唯有義人的根基永不動搖。
4 Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
賢能的妻子,是她丈夫的冠冕;無恥的妻子,宛如丈夫骨中的腐蝕。
5 Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima, naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
義人思念公正,惡人計劃詭譎。
6 Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi, naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
惡人的言談,是流血的陷阱;義人的口舌,設法搭救他人。
7 Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala, naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
惡人一旦傾覆,便不復存在;義人的家室,卻得以久存。
8 Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa, naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
人憑自己的識見,獲得讚美;但心地邪僻的人,必受輕視。
9 Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera, asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
一個自給自足的平民,比愛排場而缺食的人,更為可貴。
10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye, naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
義人珍惜禽獸的生命,惡人的心腸殘忍刻薄。
11 Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi, naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
自耕其地的人,必得飽食;追求虛幻的人,實屬愚昧。
12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe, naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
邪惡的想望,是惡人的羅網;義人的根基,卻永不動搖。
13 Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana, naye omutuukirivu awona akabi.
惡人失口,自尋苦惱;義人卻能幸免受累。
14 Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke, n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
人必飽嘗自己口舌的果實,必按自己的行為獲得報應。
15 Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye, naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
愚昧的人,常以為自己的道路正直;但明智的人,卻常聽從勸告。
16 Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
愚昧的人,立時顯出自己的憤怒;機智的人,卻忍辱而不外露。
17 Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu, naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
吐露真情,是彰顯正義;作假見證,是自欺欺人。
18 Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
出言不慎,有如利刃傷人;智者的口,卻常療愈他人。
19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
講實話的唇舌,永垂不朽;說謊話的舌頭,瞬息即逝。
20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi, naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
圖謀惡事的,心懷欺詐;策劃和平的,必得喜樂。
21 Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu, naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
義人常無往不利,惡人卻備受災殃。
22 Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira ab’amazima.
欺詐的唇舌,為上主所深惡;行事誠實的,纔為他所中悅。
23 Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi, naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
機智的人,使自己的才學深藏不露;心中愚昧的人,只會彰顯自己的愚蠢。
24 Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
勤勞的手,必要掌權;懶慢的手,只有服役。
25 Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
憂鬱使人心消沉,良言使人心快活。
26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye, naye ekkubo ly’ababi libabuza.
義人給自己的友伴指示道路,惡人的行動卻引人誤入歧途。
27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe, naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
懶惰的人,無米為炊;勤勞的人,腰纏萬貫。
28 Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.
正義的路,導向生命;邪惡的路,引人喪亡。