< Engero 11 >
1 Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama, naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.
2 Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse, naye obwetoowaze buleeta amagezi.
3 Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya, naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.
4 Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango, naye obutuukirivu buwonya okufa.
5 Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.
6 Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya, naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.
7 Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula, ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.
8 Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana, naye jjijjira omukozi w’ebibi.
9 Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa, naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.
10 Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza; abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.
11 Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga: naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.
12 Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we, naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.
13 Aseetula olugambo atta obwesigwa, naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.
14 Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana, naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.
15 Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona, naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.
16 Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa, naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.
17 Omusajja alina ekisa aganyulwa, naye alina ettima yeereetako akabi.
18 Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa, naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.
19 Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu, naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.
20 Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu, naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.
21 Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa, naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.
22 Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi, bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.
23 Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere, naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.
24 Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.
25 Omuntu agaba anagaggawalanga, n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
26 Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu, naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.
27 Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja, naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.
28 Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa, naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.
29 Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo; era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu, era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.
31 Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno, oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?