< Engero 10 >
1 Engero za Sulemaani: Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
The proverbs of Solomon: A wise son brings joy to his father, but a foolish son grief to his mother.
2 Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
Ill-gotten treasures profit nothing, but righteousness brings deliverance from death.
3 Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala, naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
The LORD does not let the righteous go hungry, but He denies the craving of the wicked.
4 Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
Idle hands make one poor, but diligent hands bring wealth.
5 Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
He who gathers in summer is a wise son, but he who sleeps during harvest is a disgraceful son.
6 Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
Blessings are on the head of the righteous, but the mouth of the wicked conceals violence.
7 Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu, naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
The memory of the righteous is a blessing, but the name of the wicked will rot.
8 Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro, naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
A wise heart will receive commandments, but foolish lips will come to ruin.
9 Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe, naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
He who walks in integrity walks securely, but he who perverts his ways will be found out.
10 Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku, n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
He who winks the eye causes grief, and foolish lips will come to ruin.
11 Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
The mouth of the righteous is a fountain of life, but the mouth of the wicked conceals violence.
12 Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
Hatred stirs up dissension, but love covers all transgressions.
13 Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera, naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
Wisdom is found on the lips of the discerning, but a rod is for the back of him who lacks judgment.
14 Abantu ab’amagezi batereka okumanya, naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
The wise store up knowledge, but the mouth of the fool invites destruction.
15 Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
The wealth of the rich man is his fortified city, but poverty is the ruin of the poor.
16 Empeera y’omutuukirivu bulamu, naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
The labor of the righteous leads to life, but the gain of the wicked brings punishment.
17 Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu, naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
Whoever heeds instruction is on the path to life, but he who ignores reproof goes astray.
18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba, era omuntu akonjera, musirusiru.
The one who conceals hatred has lying lips, and whoever spreads slander is a fool.
19 Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
When words are many, sin is unavoidable, but he who restrains his lips is wise.
20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
The tongue of the righteous is choice silver, but the heart of the wicked has little worth.
21 Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
The lips of the righteous feed many, but fools die for lack of judgment.
22 Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike.
The blessing of the LORD enriches, and He adds no sorrow to it.
23 Omusirusiru asanyukira okukola ebibi, naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
The fool delights in shameful conduct, but a man of understanding has wisdom.
24 Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako, naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
What the wicked man dreads will overtake him, but the desire of the righteous will be granted.
25 Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa, naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
When the whirlwind passes, the wicked are no more, but the righteous are secure forever.
26 Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso, n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
Like vinegar to the teeth and smoke to the eyes, so is the slacker to those who send him.
27 Okutya Mukama kuwangaaza omuntu, naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
The fear of the LORD prolongs life, but the years of the wicked will be cut short.
28 Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu, naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
The hope of the righteous is joy, but the expectations of the wicked will perish.
29 Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
The way of the LORD is a refuge to the upright, but destruction awaits those who do evil.
30 Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna, naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
The righteous will never be shaken, but the wicked will not inhabit the land.
31 Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi, naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
The mouth of the righteous brings forth wisdom, but a perverse tongue will be cut out.
32 Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde; naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
The lips of the righteous know what is fitting, but the mouth of the wicked is perverse.