< Abafiripi 1 >

1 Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni;
PAUL and Timotheus, the servants of Jesus Christ, to all the saints in Christ Jesus which are at Philippi, with the bishops and deacons:
2 ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Grace be unto you, and peace, from God our Father, and from the Lord Jesus Christ.
3 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,
I thank my God upon every remembrance of you,
4 era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu.
Always in every prayer of mine for you all making request with joy,
5 Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri.
For your fellowship in the gospel from the first day until now;
6 Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
Being confident of this very thing, that he which hath begun a good work in you will perform it until the day of Jesus Christ:
7 Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa.
Even as it is meet for me to think this of you all, because I have you in my heart; inasmuch as both in my bonds, and in the defence and confirmation of the gospel, ye all are partakers of my grace.
8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu.
For God is my record, how greatly I long after you all in the bowels of Jesus Christ.
9 Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera,
And this I pray, that your love may abound yet more and more in knowledge and in all judgment;
10 mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo,
That ye may approve things that are excellent; that ye may be sincere and without offence till the day of Christ;
11 nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Being filled with the fruits of righteousness, which are by Jesus Christ, unto the glory and praise of God.
12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri,
But I would ye should understand, brethren, that the things which happened unto me have fallen out rather unto the furtherance of the gospel;
13 n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna.
So that my bonds in Christ are manifest in all the palace, and in all other places;
14 N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
And many of the brethren in the Lord, waxing confident by my bonds, are much more bold to speak the word without fear.
15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi.
Some indeed preach Christ even of envy and strife; and some also of good will:
16 Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri.
The one preach Christ of contention, not sincerely, supposing to add affliction to my bonds:
17 Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu.
But the other of love, knowing that I am set for the defence of the gospel.
18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nzija kweyongera okusanyuka.
What then? notwithstanding, every way, whether in pretence, or in truth, Christ is preached; and I therein do rejoice, yea, and will rejoice.
19 Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange.
For I know that this shall turn to my salvation through your prayer, and the supply of the Spirit of Jesus Christ,
20 Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa.
According to my earnest expectation and my hope, that in nothing I shall be ashamed, but that with all boldness, as always, so now also Christ shall be magnified in my body, whether it be by life, or by death.
21 Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.
For to me to live is Christ, and to die is gain.
22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo.
But if I live in the flesh, this is the fruit of my labour: yet what I shall choose I wot not.
23 Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.
For I am in a strait betwixt two, having a desire to depart, and to be with Christ; which is far better:
24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe
Nevertheless to abide in the flesh is more needful for you.
25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza,
And having this confidence, I know that I shall abide and continue with you all for your furtherance and joy of faith;
26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
That your rejoicing may be more abundant in Jesus Christ for me by my coming to you again.
27 Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu.
Only let your conversation be as it becometh the gospel of Christ: that whether I come and see you, or else be absent, I may hear of your affairs, that ye stand fast in one spirit, with one mind striving together for the faith of the gospel;
28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda.
And in nothing terrified by your adversaries: which is to them an evident token of perdition, but to you of salvation, and that of God.
29 Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe.
For unto you it is given in the behalf of Christ, not only to believe on him, but also to suffer for his sake;
30 Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
Having the same conflict which ye saw in me, and now hear to be in me.

< Abafiripi 1 >