< Abafiripi 2 >

1 Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira,
If [there be] therefore any consolation in Christ, if any comfort of love, if any fellowship of the Spirit, if any bowels and mercies,
2 mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu,
Fulfil ye my joy, that ye be likeminded, having the same love, [being] of one accord, of one mind.
3 nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
[Let] nothing [be done] through strife or vainglory; but in lowliness of mind let each esteem other better than themselves.
4 nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
Look not every man on his own things, but every man also on the things of others.
5 Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,
Let this mind be in you, which was also in Christ Jesus:
6 ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
Who, being in the form of God, thought it not robbery to be equal with God:
7 wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu, era n’azaalibwa ng’omuntu, era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
But made himself of no reputation, and took upon him the form of a servant, and was made in the likeness of men:
8 ne yeetoowaza, n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa, ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
And being found in fashion as a man, he humbled himself, and became obedient unto death, even the death of the cross.
9 Katonda kyeyava amugulumiza, n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
Wherefore God also hath highly exalted him, and given him a name which is above every name:
10 buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi, era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
That at the name of Jesus every knee should bow, of [things] in heaven, and [things] in earth, and [things] under the earth;
11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
And [that] every tongue should confess that Jesus Christ [is] Lord, to the glory of God the Father.
12 Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.
Wherefore, my beloved, as ye have always obeyed, not as in my presence only, but now much more in my absence, work out your own salvation with fear and trembling.
13 Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.
For it is God which worketh in you both to will and to do of [his] good pleasure.
14 Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,
Do all things without murmurings and disputings:
15 mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
That ye may be blameless and harmless, the sons of God, without rebuke, in the midst of a crooked and perverse nation, among whom ye shine as lights in the world;
16 nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.
Holding forth the word of life; that I may rejoice in the day of Christ, that I have not run in vain, neither laboured in vain.
17 Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna.
Yea, and if I be offered upon the sacrifice and service of your faith, I joy, and rejoice with you all.
18 Era nammwe musanyukire wamu nange.
For the same cause also do ye joy, and rejoice with me.
19 Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako.
But I trust in the Lord Jesus to send Timotheus shortly unto you, that I also may be of good comfort, when I know your state.
20 Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange,
For I have no man likeminded, who will naturally care for your state.
21 kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo.
For all seek their own, not the things which are Jesus Christ’s.
22 Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri.
But ye know the proof of him, that, as a son with the father, he hath served with me in the gospel.
23 Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
Him therefore I hope to send presently, so soon as I shall see how it will go with me.
24 Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.
But I trust in the Lord that I also myself shall come shortly.
25 Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange,
Yet I supposed it necessary to send to you Epaphroditus, my brother, and companion in labour, and fellowsoldier, but your messenger, and he that ministered to my wants.
26 ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala.
For he longed after you all, and was full of heaviness, because that ye had heard that he had been sick.
27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera.
For indeed he was sick nigh unto death: but God had mercy on him; and not on him only, but on me also, lest I should have sorrow upon sorrow.
28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina.
I sent him therefore the more carefully, that, when ye see him again, ye may rejoice, and that I may be the less sorrowful.
29 Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa,
Receive him therefore in the Lord with all gladness; and hold such in reputation:
30 kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Because for the work of Christ he was nigh unto death, not regarding his life, to supply your lack of service toward me.

< Abafiripi 2 >