< Obadiya 1 >

1 Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya. Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu. Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda, Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti, “Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
חזון עבדיה כה אמר אדני יהוה לאדום שמועה שמענו מאת יהוה וציר בגוים שלח קומו ונקומה עליה למלחמה׃
2 “Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, era olinyoomererwa ddala.
הנה קטן נתתיך בגוים בזוי אתה מאד׃
3 Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
זדון לבך השיאך שכני בחגוי סלע מרום שבתו אמר בלבו מי יורדני ארץ׃
4 Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama.
אם תגביה כנשר ואם בין כוכבים שים קנך משם אורידך נאם יהוה׃
5 “Singa ababbi babajjira, n’abanyazi ne babalumba ekiro, akabi nga kaba kabatuuseeko. Tebandibabbyeko byonna bye baagala? Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde, tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
אם גנבים באו לך אם שודדי לילה איך נדמיתה הלוא יגנבו דים אם בצרים באו לך הלוא ישאירו עללות׃
6 Esawu alinyagulurwa, eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
איך נחפשו עשו נבעו מצפניו׃
7 Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo, Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula; abo abalya emmere yo balikutega omutego, balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
עד הגבול שלחוך כל אנשי בריתך השיאוך יכלו לך אנשי שלמך לחמך ישימו מזור תחתיך אין תבונה בו׃
8 “Ku lunaku olwo, sirizikiriza bagezi b’e Edomu, abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
הלוא ביום ההוא נאם יהוה והאבדתי חכמים מאדום ותבונה מהר עשו׃
9 “Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya, era na buli muntu mu nsozi za Esawu alittibwa.
וחתו גבוריך תימן למען יכרת איש מהר עשו מקטל׃
10 Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo, oliswazibwa. Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
מחמס אחיך יעקב תכסך בושה ונכרת לעולם׃
11 Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo, nga banyaga obugagga bwa Isirayiri, ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye, ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi, wali omu ku bo.
ביום עמדך מנגד ביום שבות זרים חילו ונכרים באו שערו ועל ירושלם ידו גורל גם אתה כאחד מהם׃
12 Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye eby’okulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda, newaakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
ואל תרא ביום אחיך ביום נכרו ואל תשמח לבני יהודה ביום אבדם ואל תגדל פיך ביום צרה׃
13 Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange ku lunaku kwe baalabira obuyinike, wadde okubasekerera ku lunaku kwe baabonaabonera, newaakubadde okutwala obugagga bwabwe ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
אל תבוא בשער עמי ביום אידם אל תרא גם אתה ברעתו ביום אידו ואל תשלחנה בחילו ביום אידו׃
14 Temulindira mu masaŋŋanzira okutta abo abadduka, wadde okuwaayo abawonyeewo mu biro eby’okulabiramu ennaku.
ואל תעמד על הפרק להכרית את פליטיו ואל תסגר שרידיו ביום צרה׃
15 “Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.
כי קרוב יום יהוה על כל הגוים כאשר עשית יעשה לך גמלך ישוב בראשך׃
16 Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma; balikinywa, babe ng’abataganywangako.
כי כאשר שתיתם על הר קדשי ישתו כל הגוים תמיד ושתו ולעו והיו כלוא היו׃
17 Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona, kubanga lutukuvu, n’ennyumba ya Yakobo eritwala omugabo gwabwe.
ובהר ציון תהיה פליטה והיה קדש וירשו בית יעקב את מורשיהם׃
18 Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro, n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro. Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku, era baligyokya n’eggwaawo. Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu n’omu alisigalawo, kubanga Mukama akyogedde.
והיה בית יעקב אש ובית יוסף להבה ובית עשו לקש ודלקו בהם ואכלום ולא יהיה שריד לבית עשו כי יהוה דבר׃
19 “Abantu b’e Negebu balitwala olusozi Esawu, n’abantu ab’omu biwonvu balitwala ensi y’Abafirisuuti. Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya, ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
וירשו הנגב את הר עשו והשפלה את פלשתים וירשו את שדה אפרים ואת שדה שמרון ובנימן את הגלעד׃
20 Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani, balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi; abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, balyetwalira ebibuga mu Negebu.
וגלת החל הזה לבני ישראל אשר כנענים עד צרפת וגלת ירושלם אשר בספרד ירשו את ערי הנגב׃
21 Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni, okufuga ensozi za Esawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.”
ועלו מושעים בהר ציון לשפט את הר עשו והיתה ליהוה המלוכה׃

< Obadiya 1 >