< Okubala 5 >
1 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
RAB Musa'ya şöyle dedi:
2 “Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu.
“İsrail halkına de ki, deri hastalığı veya akıntısı olan ya da ölüye dokunduğundan kirli sayılan herkesi ordugahın dışına çıkarsınlar.
3 Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.”
Erkeği de kadını da çıkaracaksınız. Aralarında yaşadığım ordugahlarını kirletmemeleri için onları ordugahın dışına çıkaracaksınız.”
4 Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
İsrail halkı denileni yaparak RAB'bin Musa'ya buyurduğu gibi onları ordugahın dışına çıkardı.
5 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
RAB Musa'ya şöyle dedi:
6 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,
“İsrail halkına de ki, ‘Bir erkek ya da kadın, insanın işleyebileceği günahlardan birini işler, RAB'be ihanet ederse o kişi suçlu sayılır.
7 era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango.
İşlediği günahı itiraf etmeli. Karşılığını, beşte birini üzerine ekleyerek suç işlediği kişiye ödeyecek.
8 Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona.
Eğer kişinin işlenen suçun karşılığını alacak bir yakını yoksa, suçun karşılığı RAB'be ait olacak. Günahın bağışlanması için sunulan bağışlamalık koçla birlikte suçun karşılığı da kâhine verilecek.
9 Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo.
İsrail halkının kâhine sunduğu kutsal armağanların bağış kısımları kâhinin olacak.
10 Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’”
Herkesin kendine ayırdığı sunular kendinin, ama kâhine verdikleri kâhinin olacaktır.’”
11 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
RAB Musa'ya şöyle dedi:
12 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba
“İsrail halkına de ki, ‘Eğer bir adamın karısı yoldan çıkar, ona ihanet eder,
13 ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola;
başka bir adamla yatar, kirlendiği halde bu olayı kocasından gizlerse ve tanık olmadığı için kadının yaptığı ortaya çıkmazsa,
14 singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako,
koca karısını kıskanır, ona karşı yüreğinde kuşku uyanırsa, kadın suçluysa ya da suçlu olmadığı halde kocası onu kıskanır, ona karşı yüreğinde kuşku uyanırsa,
15 kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.
adam karısını kâhine götürecek. Karısı için sunu olarak onda bir efa arpa unu alacak. Üzerine zeytinyağı dökmeyecek, günnük koymayacak. Çünkü bu kıskançlık sunusudur. Suçu anımsatan anımsatma sunusudur.
16 “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda.
“‘Kâhin kadını öne çağırıp RAB'bin önünde durmasını sağlayacak.
17 Anaddiranga amazzi amatukuvu nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema.
Sonra, toprak bir kabın içine kutsal su koyacak. Konutun kurulu olduğu yerden biraz toprak alıp suya katacak.
18 Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
Kadını RAB'bin önünde durdurduktan sonra onun saçını açacak, anımsatma sunusu, yani kıskançlık sunusunu eline verecek. Kendisi de lanet getiren acı suyu elinde tutacak.
19 Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’
Sonra kadına ant içirtip şöyle diyecek: Eğer başka bir adam seninle yatmadıysa, kocanla evliyken yoldan çıkıp günah işlemediysen, lanet getiren bu acı su sana zarar vermesin.
20 Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa,
Ama kocanla evliyken yoldan çıkıp başka biriyle yatarak günah işlediysen
21 wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba.
–kâhin kadına lanet andı içirtip şöyle diyecek– RAB sana eriyen kalça, şişen karın versin. RAB halkın arasında seni lanetli ve iğrenç duruma düşürsün.
22 Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’ “Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’
Lanet getiren bu su karnına girince karnını şişirsin, kalçanı eritsin. “‘O zaman kadın, Amin, amin, diyecek.
23 “‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa.
“‘Kâhin bu lanetleri bir kitaba yazıp acı suda yıkayacak.
24 Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri.
Lanet getiren acı suyu kadına içirecek. Su kadının içine girince acılık verecek.
25 Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto.
Kâhin kadının elinden kıskançlık sunusunu alacak, RAB'bin huzurunda salladıktan sonra sunağa getirecek.
26 Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali.
Kadının anma payı olarak sunudan bir avuç alıp sunakta yakacak. Sonra kadına suyu içirecek.
27 Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe.
Eğer kadın kocasına ihanet etmiş, kendini kirletmişse, lanet getiren suyu içince acı duyacak; karnı şişip kalçası eriyecek. Halkı arasında lanetli olacak.
28 Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’
Ama kendini kirletmemişse, temizse, zarar görmeyecek, çocuk doğurabilecek.
29 “‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba,
“‘Kıskançlık yasası budur. Bir kadın yoldan çıkar, kocasıyla evliyken kendini kirletirse,
30 oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo.
ya da bir koca karısını kıskanır, ona karşı yüreğinde kuşku uyanırsa, kâhin kadını RAB'bin önünde durduracak, bu yasayı ona uygulayacak.
31 Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’”
Kocası herhangi bir suçtan suçsuz sayılacak, kadınsa suçunun cezasını çekecek.’”