< Okubala 35 >

1 Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
וידבר יהוה אל משה בערבת מואב על ירדן ירחו לאמר
2 “Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo.
צו את בני ישראל ונתנו ללוים מנחלת אחזתם ערים לשבת ומגרש לערים סביבתיהם תתנו ללוים
3 Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.
והיו הערים להם לשבת ומגרשיהם יהיו לבהמתם ולרכשם ולכל חיתם
4 “Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano.
ומגרשי הערים אשר תתנו ללוים--מקיר העיר וחוצה אלף אמה סביב
5 Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga.
ומדתם מחוץ לעיר את פאת קדמה אלפים באמה ואת פאת נגב אלפים באמה ואת פאת ים אלפים באמה ואת פאת צפון אלפים באמה--והעיר בתוך זה יהיה להם מגרשי הערים
6 “Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri.
ואת הערים אשר תתנו ללוים--את שש ערי המקלט אשר תתנו לנס שמה הרצח ועליהם תתנו ארבעים ושתים עיר
7 Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro.
כל הערים אשר תתנו ללוים--ארבעים ושמנה עיר אתהן ואת מגרשיהן
8 Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”
והערים אשר תתנו מאחזת בני ישראל--מאת הרב תרבו ומאת המעט תמעיטו איש כפי נחלתו אשר ינחלו יתן מעריו ללוים
9 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
וידבר יהוה אל משה לאמר
10 “Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani,
דבר אל בני ישראל ואמרת אלהם כי אתם עברים את הירדן ארצה כנען
11 mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga.
והקריתם לכם ערים ערי מקלט תהיינה לכם ונס שמה רצח מכה נפש בשגגה
12 Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga, omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina.
והיו לכם הערים למקלט מגאל ולא ימות הרצח עד עמדו לפני העדה למשפט
13 Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro.
והערים אשר תתנו--שש ערי מקלט תהיינה לכם
14 Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro.
את שלש הערים תתנו מעבר לירדן ואת שלש הערים תתנו בארץ כנען ערי מקלט תהיינה
15 Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’
לבני ישראל ולגר ולתושב בתוכם תהיינה שש הערים האלה למקלט--לנוס שמה כל מכה נפש בשגגה
16 “‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
ואם בכלי ברזל הכהו וימת רצח הוא מות יומת הרצח
17 Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala.
ואם באבן יד אשר ימות בה הכהו וימת--רצח הוא מות יומת הרצח
18 Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
או בכלי עץ יד אשר ימות בו הכהו וימת--רצח הוא מות יומת הרצח
19 Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga.
גאל הדם הוא ימית את הרצח בפגעו בו הוא ימתנו
20 Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta,
ואם בשנאה יהדפנו או השליך עליו בצדיה וימת
21 oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.
או באיבה הכהו בידו וימת--מות יומת המכה רצח הוא גאל הדם ימית את הרצח--בפגעו בו
22 “‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba,
ואם בפתע בלא איבה הדפו או השליך עליו כל כלי בלא צדיה
23 oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya;
או בכל אבן אשר ימות בה בלא ראות ויפל עליו וימת--והוא לא אויב לו ולא מבקש רעתו
24 kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali.
ושפטו העדה בין המכה ובין גאל הדם--על המשפטים האלה
25 Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.
והצילו העדה את הרצח מיד גאל הדם והשיבו אתו העדה אל עיר מקלטו אשר נס שמה וישב בה עד מות הכהן הגדל אשר משח אתו בשמן הקדש
26 “‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira,
ואם יצא יצא הרצח את גבול עיר מקלטו אשר ינוס שמה
27 omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu.
ומצא אתו גאל הדם מחוץ לגבול עיר מקלטו ורצח גאל הדם את הרצח--אין לו דם
28 Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.
כי בעיר מקלטו ישב עד מות הכהן הגדל ואחרי מות הכהן הגדל--ישוב הרצח אל ארץ אחזתו
29 “‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga.
והיו אלה לכם לחקת משפט לדרתיכם בכל מושבתיכם
30 Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.
כל מכה נפש--לפי עדים ירצח את הרצח ועד אחד לא יענה בנפש למות
31 “‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.
ולא תקחו כפר לנפש רצח אשר הוא רשע למות כי מות יומת
32 “‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.
ולא תקחו כפר לנוס אל עיר מקלטו לשוב לשבת בארץ עד מות הכהן
33 “‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo.
ולא תחניפו את הארץ אשר אתם בה כי הדם הוא יחניף את הארץ ולארץ לא יכפר לדם אשר שפך בה כי אם בדם שפכו
34 Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’”
ולא תטמא את הארץ אשר אתם ישבים בה--אשר אני שכן בתוכה כי אני יהוה--שכן בתוך בני ישראל

< Okubala 35 >