< Okubala 34 >
1 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
The Lord told Moses,
2 “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:
“Give this command to the Israelites: ‘When you enter the country of Canaan, it will be allocated to you to own with the following boundaries:
3 “‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba,
The southern extent of your country will be from the Desert of Zin along the border of Edom. Your southern border will run east from the end of the Dead Sea,
4 n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni,
cross south of Scorpion Pass, on to Zin, and reach its southern limit south of Kadesh-barnea. Then it will go to Hazar-addar and on to Azmon.
5 awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.
There the boundary will turn from Azmon to the Wadi of Egypt, ending at the Mediterranean Sea.
6 Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.
Your western border will be the coast of the Mediterranean Sea. This is to be your boundary to the west.
7 Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola;
Your northern border will run from the Mediterranean Sea straight to Mount Hor.
8 eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada,
From Mount Hor the boundary will go to Lebo-hamath, then on to Zedad,
9 ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.
to Ziphron, ending at Hazar-enan. This will be your boundary to the north.
10 Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu.
Your eastern border will run straight from Hazar-enan to Shepham
11 Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya.
Then the boundary will go down from Shepham to Riblah on the east side of Ain. It will pass down along the slopes east of the Sea of Galilee.
12 Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’”
Then the boundary will go down along the Jordan, ending at the Dead Sea. This is to be your land with its surrounding borders.’”
13 Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu,
Moses gave the order to the Israelites, “Allocate ownership of this land by lot. The Lord has commanded it to be given to the nine and a half tribes.
14 kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe.
The tribes of Reuben and Gad, together with the half-tribe of Manasseh, have already received their allocation.
15 Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”
These two and a half tribes have received their allocation on the east side of the Jordan opposite Jericho.”
16 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
The Lord told Moses,
17 “Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
“These are the names of the men who will be in charge of allocating ownership of the land for you: Eleazar the priest and Joshua, son of Nun.
18 Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.
Have one leader from each tribe help in the distribution of the land.
19 “Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.
These are their names: From the tribe of Judah: Caleb, son of Jephunneh.
20 Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.
From the tribe of Simeon: Shemuel, son of Ammihud.
21 Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.
From the tribe of Benjamin: Elidad, son of Chislon.
22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.
A leader from the tribe of Dan: Bukki, son of Jogli.
23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.
A leader from the tribe of Manasseh, son of Joseph: Hanniel son of Ephod.
24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.
A leader from the tribe of Ephraim: Kemuel, son of Shiphtan.
25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.
A leader from the tribe of Zebulun: Eli-zaphan, son of Parnach.
26 Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,
A leader from the tribe of Issachar: Paltiel, son of Azzan.
27 ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,
A leader from the tribe of Asher: Ahihud, son of Shelomi.
28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”
A leader from the tribe of Naphtali: Pedahel, son of Ammihud.”
29 Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.
These are the names of those the Lord put in charge of allocating land ownership in the country of Canaan.