< Okubala 33 >

1 Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni.
Hæ sunt mansiones filiorum Israël, qui egressi sunt de Ægypto per turmas suas in manu Moysi et Aaron,
2 Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Bino bye bitundu ebyo:
quas descripsit Moyses juxta castrorum loca, quæ Domini jussione mutabant.
3 Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi;
Profecti igitur de Ramesse mense primo, quintadecima die mensis primi, altera die Phase, filii Israël in manu excelsa, videntibus cunctis Ægyptiis,
4 ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
et sepelientibus primogenitos, quos percusserat Dominus (nam et in diis eorum exercuerat ultionem),
5 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.
castrametati sunt in Soccoth.
6 Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.
Et de Soccoth venerunt in Etham, quæ est in extremis finibus solitudinis.
7 Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.
Inde egressi venerunt contra Phihahiroth, quæ respicit Beelsephon, et castrametati sunt ante Magdalum.
8 Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.
Profectique de Phihahiroth, transierunt per medium mare in solitudinem: et ambulantes tribus diebus per desertum Etham, castrametati sunt in Mara.
9 Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
Profectique de Mara, venerunt in Elim, ubi erant duodecim fontes aquarum, et palmæ septuaginta: ibique castrametati sunt.
10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.
Sed et inde egressi, fixerunt tentoria super mare Rubrum. Profectique de mari Rubro,
11 Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.
castrametati sunt in deserto Sin.
12 Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.
Unde egressi, venerunt in Daphca.
13 Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.
Profectique de Daphca, castrametati sunt in Alus.
14 Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.
Egressique de Alus, in Raphidim fixere tentoria, ubi populo defuit aqua ad bibendum.
15 Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.
Profectique de Raphidim, castrametati sunt in deserto Sinai.
16 Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.
Sed et de solitudine Sinai egressi, venerunt ad sepulchra concupiscentiæ.
17 Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.
Profectique de sepulchris concupiscentiæ, castrametati sunt in Haseroth.
18 Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.
Et de Haseroth venerunt in Rethma.
19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.
Profectique de Rethma, castrametati sunt in Remmomphares.
20 Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.
Unde egressi venerunt in Lebna.
21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.
De Lebna castrametati sunt in Ressa.
22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.
Egressique de Ressa, venerunt in Ceelatha.
23 Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
Unde profecti, castrametati sunt in monte Sepher.
24 Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.
Egressi de monte Sepher, venerunt in Arada.
25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.
Inde proficiscentes, castrametati sunt in Maceloth.
26 Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.
Profectique de Maceloth, venerunt in Thahath.
27 Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.
De Thahath, castrametati sunt in Thare.
28 Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.
Unde egressi, fixere tentoria in Methca.
29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.
Et de Methca, castrametati sunt in Hesmona.
30 Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.
Profectique de Hesmona, venerunt in Moseroth.
31 Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.
Et de Moseroth, castrametati sunt in Benejaacan.
32 Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.
Profectique de Benejaacan, venerunt in montem Gadgad.
33 Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.
Unde profecti, castrametati sunt in Jetebatha.
34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.
Et de Jetebatha venerunt in Hebrona.
35 Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.
Egressique de Hebrona, castrametati sunt in Asiongaber.
36 Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.
Inde profecti, venerunt in desertum Sin, hæc est Cades.
37 Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu.
Egressique de Cades, castrametati sunt in monte Hor, in extremis finibus terræ Edom.
38 Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
Ascenditque Aaron sacerdos in montem Hor jubente Domino: et ibi mortuus est anno quadragesimo egressionis filiorum Israël ex Ægypto, mense quinto, prima die mensis,
39 Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.
cum esset annorum centum viginti trium.
40 Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.
Audivitque Chananæus rex Arad, qui habitabat ad meridiem, in terram Chanaan venisse filios Israël.
41 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
Et profecti de monte Hor, castrametati sunt in Salmona.
42 Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.
Unde egressi, venerunt in Phunon.
43 Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.
Profectique de Phunon, castrametati sunt in Oboth.
44 Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.
Et de Oboth venerunt in Ijeabarim, quæ est in finibus Moabitarum.
45 Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.
Profectique de Ijeabarim, fixere tentoria in Dibongad.
46 Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.
Unde egressi, castrametati sunt in Helmondeblathaim.
47 Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.
Egressique de Helmondeblathaim, venerunt ad montes Abarim contra Nabo.
48 Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko.
Profectique de montibus Abarim, transierunt ad campestria Moab, supra Jordanem, contra Jericho.
49 Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.
Ibique castrametati sunt de Bethsimoth usque ad Abelsatim in planioribus locis Moabitarum.
50 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti,
Ubi locutus est Dominus ad Moysen:
51 “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani;
Præcipe filiis Israël, et dic ad eos: Quando transieritis Jordanem, intrantes terram Chanaan,
52 mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza.
disperdite cunctos habitatores terræ illius: confringite titulos, et statuas comminuite, atque omnia excelsa vastate,
53 Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini.
mundantes terram, et habitantes in ea. Ego enim dedi vobis illam in possessionem,
54 Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.
quam dividetis vobis sorte. Pluribus dabitis latiorem, et paucis angustiorem. Singulis ut sors ceciderit, ita tribuetur hæreditas. Per tribus et familias possessio dividetur.
55 “Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga.
Sin autem nolueritis interficere habitatores terræ: qui remanserint, erunt vobis quasi clavi in oculis, et lanceæ in lateribus, et adversabuntur vobis in terra habitationis vestræ:
56 Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”
et quidquid illis cogitaveram facere, vobis faciam.

< Okubala 33 >