< Okubala 32 >

1 Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe.
ומקנה רב היה לבני ראובן ולבני גד עצום מאד ויראו את ארץ יעזר ואת ארץ גלעד והנה המקום מקום מקנה׃
2 Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti,
ויבאו בני גד ובני ראובן ויאמרו אל משה ואל אלעזר הכהן ואל נשיאי העדה לאמר׃
3 “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni,
עטרות ודיבן ויעזר ונמרה וחשבון ואלעלה ושבם ונבו ובען׃
4 bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.”
הארץ אשר הכה יהוה לפני עדת ישראל ארץ מקנה הוא ולעבדיך מקנה׃
5 Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
ויאמרו אם מצאנו חן בעיניך יתן את הארץ הזאת לעבדיך לאחזה אל תעברנו את הירדן׃
6 Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano?
ויאמר משה לבני גד ולבני ראובן האחיכם יבאו למלחמה ואתם תשבו פה׃
7 Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde?
ולמה תנואון את לב בני ישראל מעבר אל הארץ אשר נתן להם יהוה׃
8 Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi.
כה עשו אבתיכם בשלחי אתם מקדש ברנע לראות את הארץ׃
9 Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde.
ויעלו עד נחל אשכול ויראו את הארץ ויניאו את לב בני ישראל לבלתי בא אל הארץ אשר נתן להם יהוה׃
10 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti,
ויחר אף יהוה ביום ההוא וישבע לאמר׃
11 ‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo;
אם יראו האנשים העלים ממצרים מבן עשרים שנה ומעלה את האדמה אשר נשבעתי לאברהם ליצחק וליעקב כי לא מלאו אחרי׃
12 tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’
בלתי כלב בן יפנה הקנזי ויהושע בן נון כי מלאו אחרי יהוה׃
13 Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
ויחר אף יהוה בישראל וינעם במדבר ארבעים שנה עד תם כל הדור העשה הרע בעיני יהוה׃
14 “Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri!
והנה קמתם תחת אבתיכם תרבות אנשים חטאים לספות עוד על חרון אף יהוה אל ישראל׃
15 Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
כי תשובן מאחריו ויסף עוד להניחו במדבר ושחתם לכל העם הזה׃
16 Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato.
ויגשו אליו ויאמרו גדרת צאן נבנה למקננו פה וערים לטפנו׃
17 Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu.
ואנחנו נחלץ חשים לפני בני ישראל עד אשר אם הביאנם אל מקומם וישב טפנו בערי המבצר מפני ישבי הארץ׃
18 Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe.
לא נשוב אל בתינו עד התנחל בני ישראל איש נחלתו׃
19 Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
כי לא ננחל אתם מעבר לירדן והלאה כי באה נחלתנו אלינו מעבר הירדן מזרחה׃
20 Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo,
ויאמר אליהם משה אם תעשון את הדבר הזה אם תחלצו לפני יהוה למלחמה׃
21 ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge,
ועבר לכם כל חלוץ את הירדן לפני יהוה עד הורישו את איביו מפניו׃
22 n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
ונכבשה הארץ לפני יהוה ואחר תשבו והייתם נקיים מיהוה ומישראל והיתה הארץ הזאת לכם לאחזה לפני יהוה׃
23 “Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa.
ואם לא תעשון כן הנה חטאתם ליהוה ודעו חטאתכם אשר תמצא אתכם׃
24 Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”
בנו לכם ערים לטפכם וגדרת לצנאכם והיצא מפיכם תעשו׃
25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde.
ויאמר בני גד ובני ראובן אל משה לאמר עבדיך יעשו כאשר אדני מצוה׃
26 Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi.
טפנו נשינו מקננו וכל בהמתנו יהיו שם בערי הגלעד׃
27 Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.”
ועבדיך יעברו כל חלוץ צבא לפני יהוה למלחמה כאשר אדני דבר׃
28 Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri.
ויצו להם משה את אלעזר הכהן ואת יהושע בן נון ואת ראשי אבות המטות לבני ישראל׃
29 Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe.
ויאמר משה אלהם אם יעברו בני גד ובני ראובן אתכם את הירדן כל חלוץ למלחמה לפני יהוה ונכבשה הארץ לפניכם ונתתם להם את ארץ הגלעד לאחזה׃
30 Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
ואם לא יעברו חלוצים אתכם ונאחזו בתככם בארץ כנען׃
31 Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bw’atugambye.
ויענו בני גד ובני ראובן לאמר את אשר דבר יהוה אל עבדיך כן נעשה׃
32 Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogw’obutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.”
נחנו נעבר חלוצים לפני יהוה ארץ כנען ואתנו אחזת נחלתנו מעבר לירדן׃
33 Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
ויתן להם משה לבני גד ולבני ראובן ולחצי שבט מנשה בן יוסף את ממלכת סיחן מלך האמרי ואת ממלכת עוג מלך הבשן הארץ לעריה בגבלת ערי הארץ סביב׃
34 Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri,
ויבנו בני גד את דיבן ואת עטרת ואת ערער׃
35 ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka;
ואת עטרת שופן ואת יעזר ויגבהה׃
36 ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe.
ואת בית נמרה ואת בית הרן ערי מבצר וגדרת צאן׃
37 Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu,
ובני ראובן בנו את חשבון ואת אלעלא ואת קריתים׃
38 ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
ואת נבו ואת בעל מעון מוסבת שם ואת שבמה ויקראו בשמת את שמות הערים אשר בנו׃
39 Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu.
וילכו בני מכיר בן מנשה גלעדה וילכדה ויורש את האמרי אשר בה׃
40 Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo.
ויתן משה את הגלעד למכיר בן מנשה וישב בה׃
41 Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri.
ויאיר בן מנשה הלך וילכד את חותיהם ויקרא אתהן חות יאיר׃
42 Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye.
ונבח הלך וילכד את קנת ואת בנתיה ויקרא לה נבח בשמו׃

< Okubala 32 >