< Okubala 31 >

1 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
וידבר יהוה אל משה לאמר
2 “Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”
נקם נקמת בני ישראל מאת המדינים אחר תאסף אל עמיך
3 Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani.
וידבר משה אל העם לאמר החלצו מאתכם אנשים לצבא ויהיו על מדין לתת נקמת יהוה במדין
4 Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.”
אלף למטה אלף למטה--לכל מטות ישראל תשלחו לצבא
5 Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo.
וימסרו מאלפי ישראל אלף למטה--שנים עשר אלף חלוצי צבא
6 Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago.
וישלח אתם משה אלף למטה לצבא אתם ואת פינחס בן אלעזר הכהן לצבא וכלי הקדש וחצצרות התרועה בידו
7 Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja.
ויצבאו על מדין כאשר צוה יהוה את משה ויהרגו כל זכר
8 Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala.
ואת מלכי מדין הרגו על חלליהם את אוי ואת רקם ואת צור ואת חור ואת רבע--חמשת מלכי מדין ואת בלעם בן בעור הרגו בחרב
9 Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi.
וישבו בני ישראל את נשי מדין ואת טפם ואת כל בהמתם ואת כל מקנהם ואת כל חילם בזזו
10 Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna.
ואת כל עריהם במושבתם ואת כל טירתם--שרפו באש
11 Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo;
ויקחו את כל השלל ואת כל המלקוח--באדם ובבהמה
12 ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.
ויבאו אל משה ואל אלעזר הכהן ואל עדת בני ישראל את השבי ואת המלקוח ואת השלל--אל המחנה אל ערבת מואב אשר על ירדן ירחו
13 Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira.
ויצאו משה ואלעזר הכהן וכל נשיאי העדה--לקראתם אל מחוץ למחנה
14 Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo.
ויקצף משה על פקודי החיל שרי האלפים ושרי המאות הבאים מצבא המלחמה
15 Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse?
ויאמר אליהם משה החייתם כל נקבה
16 Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama.
הן הנה היו לבני ישראל בדבר בלעם למסר מעל ביהוה על דבר פעור ותהי המגפה בעדת יהוה
17 Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja.
ועתה הרגו כל זכר בטף וכל אשה ידעת איש למשכב זכר--הרגו
18 Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere.
וכל הטף בנשים אשר לא ידעו משכב זכר--החיו לכם
19 “Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu.
ואתם חנו מחוץ למחנה--שבעת ימים כל הרג נפש וכל נגע בחלל תתחטאו ביום השלישי וביום השביעי--אתם ושביכם
20 Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.”
וכל בגד וכל כלי עור וכל מעשה עזים וכל כלי עץ--תתחטאו
21 Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda ly’alagidde Musa:
ויאמר אלעזר הכהן אל אנשי הצבא הבאים למלחמה זאת חקת התורה אשר צוה יהוה את משה
22 Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi
אך את הזהב ואת הכסף את הנחשת את הברזל את הבדיל ואת העפרת
23 n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago.
כל דבר אשר יבא באש תעבירו באש וטהר--אך במי נדה יתחטא וכל אשר לא יבא באש תעבירו במים
24 Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”
וכבסתם בגדיכם ביום השביעי וטהרתם ואחר תבאו אל המחנה
25 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
ויאמר יהוה אל משה לאמר
26 “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo.
שא את ראש מלקוח השבי באדם ובבהמה--אתה ואלעזר הכהן וראשי אבות העדה
27 Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina.
וחצית את המלקוח בין תפשי המלחמה היצאים לצבא--ובין כל העדה
28 Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi.
והרמת מכס ליהוה מאת אנשי המלחמה היצאים לצבא--אחד נפש מחמש המאות מן האדם ומן הבקר ומן החמרים ומן הצאן
29 Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda.
ממחציתם תקחו ונתתה לאלעזר הכהן תרומת יהוה
30 Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.”
וממחצת בני ישראל תקח אחד אחז מן החמשים מן האדם מן הבקר מן החמרים ומן הצאן--מכל הבהמה ונתתה אתם ללוים שמרי משמרת משכן יהוה
31 Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויעש משה ואלעזר הכהן כאשר צוה יהוה את משה
32 Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano.
ויהי המלקוח--יתר הבז אשר בזזו עם הצבא צאן שש מאות אלף ושבעים אלף--וחמשת אלפים
33 Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri.
ובקר שנים ושבעים אלף
34 Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi,
וחמרים אחד וששים אלף
35 n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri.
ונפש אדם--מן הנשים אשר לא ידעו משכב זכר כל נפש שנים ושלשים אלף
36 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano;
ותהי המחצה--חלק היצאים בצבא מספר הצאן שלש מאות אלף ושלשים אלף ושבעת אלפים וחמש מאות
37 ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano.
ויהי המכס ליהוה מן הצאן--שש מאות חמש ושבעים
38 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga, ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri.
והבקר--ששה ושלשים אלף ומכסם ליהוה שנים ושבעים
39 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano, ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu.
וחמרים שלשים אלף וחמש מאות ומכסם ליהוה אחד וששים
40 Abantu omutwalo gumu mu kakaaga; ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri.
ונפש אדם ששה עשר אלף ומכסם ליהוה--שנים ושלשים נפש
41 Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויתן משה את מכס תרומת יהוה לאלעזר הכהן--כאשר צוה יהוה את משה
42 Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo,
וממחצית בני ישראל אשר חצה משה מן האנשים הצבאים
43 ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano;
ותהי מחצת העדה מן הצאן--שלש מאות אלף ושלשים אלף שבעת אלפים וחמש מאות
44 Ente, emitwalo esatu mu kakaaga;
ובקר ששה ושלשים אלף
45 Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano;
וחמרים שלשים אלף וחמש מאות
46 n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga.
ונפש אדם ששה עשר אלף
47 Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
ויקח משה ממחצת בני ישראל את האחז אחד מן החמשים--מן האדם ומן הבהמה ויתן אתם ללוים שמרי משמרת משכן יהוה כאשר צוה יהוה את משה
48 Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa,
ויקרבו אל משה הפקדים אשר לאלפי הצבא--שרי האלפים ושרי המאות
49 ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo.
ויאמרו אל משה עבדיך נשאו את ראש אנשי המלחמה אשר בידנו ולא נפקד ממנו איש
50 Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”
ונקרב את קרבן יהוה איש אשר מצא כלי זהב אצעדה וצמיד טבעת עגיל וכומז--לכפר על נפשתינו לפני יהוה
51 Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna.
ויקח משה ואלעזר הכהן את הזהב--מאתם כל כלי מעשה
52 Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda.
ויהי כל זהב התרומה אשר הרימו ליהוה--ששה עשר אלף שבע מאות וחמשים שקל מאת שרי האלפים ומאת שרי המאות
53 Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe.
אנשי הצבא בזזו איש לו
54 Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda.
ויקח משה ואלעזר הכהן את הזהב מאת שרי האלפים והמאות ויבאו אתו אל אהל מועד זכרון לבני ישראל לפני יהוה

< Okubala 31 >