< Okubala 3 >

1 Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
Now these are the generations of Aaron and Moses in the day that the LORD spoke with Moses in Mount Sinai.
2 Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali.
These are the names of the sons of Aaron: Nadab the firstborn, and Abihu, Eleazar, and Ithamar.
3 Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona.
These are the names of the sons of Aaron, the priests who were anointed, whom he consecrated to minister in the priest's office.
4 Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.
Nadab and Abihu died before the LORD, when they offered strange fire before the LORD, in the wilderness of Sinai, and they had no children. Eleazar and Ithamar ministered in the priest's office in the presence of Aaron their father.
5 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
The LORD spoke to Moses, saying,
6 “Leeta ab’omu kika kya Leevi obakwase Alooni kabona bamuweerezenga.
"Bring the tribe of Levi near, and set them before Aaron the priest, that they may minister to him.
7 Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama.
They shall keep his requirements, and the requirements of the whole congregation before the Tent of Meeting, to do the service of the tabernacle.
8 Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.
They shall keep all the furnishings of the Tent of Meeting, and the obligations of the children of Israel, to do the service of the tabernacle.
9 Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri.
You shall give the Levites to Aaron and to his sons. They are wholly given to him on the behalf of the children of Israel.
10 Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”
And you shall appoint Aaron and his sons, and they shall attend to their priesthood; but the unauthorized person who comes near shall be put to death."
11 Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti,
The LORD spoke to Moses, saying,
12 “Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange,
"Look, I have taken the Levites from among the children of Israel instead of all the firstborn who open the womb among the children of Israel; and the Levites shall be mine:
13 kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”
for all the firstborn are mine. On the day that I struck down all the firstborn in the land of Egypt I made holy to me all the firstborn in Israel, both man and animal. They shall be mine. I am the LORD."
14 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti,
The LORD spoke to Moses in the wilderness of Sinai, saying,
15 “Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.”
"Count the descendants of Levi by their fathers' houses, by their families. You shall count every male from a month old and upward."
16 Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Moses numbered them according to the word of the LORD, as he was commanded.
17 Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.
These were the sons of Levi by their names: Gershon, and Kohath, and Merari.
18 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi.
These are the names of the sons of Gershon by their families: Libni and Shimei.
19 Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali: Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
The sons of Kohath by their families: Amram, and Izhar, Hebron, and Uzziel.
20 Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.
The sons of Merari by their families: Mahli and Mushi. These are the families of the Levites according to their fathers' houses.
21 Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.
Of Gershon was the family of the Libnites, and the family of the Shimeites: these are the families of the Gershonites.
22 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano.
Those who were numbered of them, according to the number of all the males, from a month old and upward, even those who were numbered of them were seven thousand five hundred.
23 Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
The families of the Gershonites shall camp behind the tabernacle westward.
24 Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
The prince of the fathers' house of the Gershonites shall be Eliasaph the son of Lael.
25 Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema,
The duty of the sons of Gershon in the Tent of Meeting shall be the tabernacle, and the tent, its covering, and the screen for the door of the Tent of Meeting,
26 n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.
and the curtaining of the court, and the screen for the door of the court, which is by the tabernacle, and around the altar, and its cords for all of its service.
27 Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
Of Kohath was the family of the Amramites, and the family of the Izharites, and the family of the Hebronites, and the family of the Uzzielites: these are the families of the Kohathites.
28 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga. Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
According to the number of all the males, from a month old and upward, there were eight thousand six hundred, keeping the requirements of the sanctuary.
29 Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
The families of the sons of Kohath shall camp on the south side of the tabernacle.
30 Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
The prince of the fathers' house of the families of the Kohathites shall be Elizaphan the son of Uzziel.
31 Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
Their duty shall be the ark, the table, the lamp stand, the altars, the vessels of the sanctuary with which they minister, and the screen, and all its service.
32 Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
Eleazar the son of Aaron the priest shall be chief of the leaders of the Levites, with the oversight of those who keep the requirements of the sanctuary.
33 Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
Of Merari was the family of the Mahlites, and the family of the Mushites. These are the families of Merari.
34 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri.
Those who were numbered of them, according to the number of all the males, from a month old and upward, were six thousand two hundred.
35 Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri; Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
The prince of the fathers' house of the families of Merari was Zuriel the son of Abihail. They shall camp on the north side of the tabernacle.
36 Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo.
The appointed duty of the sons of Merari shall be the tabernacle's boards, its bars, its pillars, its sockets, all its instruments, all its service,
37 Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.
the pillars of the court around it, their sockets, their pins, and their cords.
38 Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.
Those who camp before the tabernacle eastward, in front of the Tent of Meeting toward the sunrise, shall be Moses, and Aaron and his sons, keeping the requirements of the sanctuary for the duty of the children of Israel. The stranger who comes near shall be put to death.
39 Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
All who were numbered of the Levites, whom Moses and Aaron numbered at the commandment of the LORD, by their families, all the males from a month old and upward, were twenty-two thousand.
40 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna.
The LORD said to Moses, "Number all the firstborn males of the children of Israel from a month old and upward, and take the number of their names.
41 Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
You shall take the Levites for me (I am the LORD) instead of all the firstborn among the children of Israel; and the livestock of the Levites instead of all the firstborn among the livestock of the children of Israel."
42 Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
Moses numbered, as the LORD commanded him, all the firstborn among the children of Israel.
43 Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
All the firstborn males according to the number of names, from a month old and upward, of those who were numbered of them, were twenty-two thousand two hundred seventy-three.
44 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
The LORD spoke to Moses, saying,
45 “Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda.
"Take the Levites instead of all the firstborn among the children of Israel, and the livestock of the Levites instead of their livestock; and the Levites shall be mine. I am the LORD.
46 Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja,
For the redemption of the two hundred seventy-three of the firstborn of the children of Israel, who exceed the number of the Levites,
47 onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu.
you shall take five shekels apiece for each one; after the shekel of the sanctuary you shall take them (the shekel is twenty gerahs):
48 Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”
and you shall give the money, with which the remainder of them is redeemed, to Aaron and to his sons."
49 Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi.
Moses took the redemption money from those who exceeded the number of those who were redeemed by the Levites;
50 Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri.
from the firstborn of the children of Israel he took the money, one thousand three hundred sixty-five shekels, after the shekel of the sanctuary:
51 Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
and Moses gave the redemption money to Aaron and to his sons, according to the word of the LORD, as the LORD commanded Moses.

< Okubala 3 >