< Okubala 26 >
1 Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti,
After the plague [ended], Yahweh said to Eleazar and Moses/me,
2 “Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”
“Count all the people of Israel [again]. Write down the names of all the men who are at least 20 years old who are able to fight [in battles], along with their family names.”
3 Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti,
So while the Israelis were on the plains where the Moab people-group lived, Eleazar and Moses/I told this to the Israeli leaders:
4 “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.” Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
“Write down the names of all the Israeli men who are at least 20 years old, as Yahweh has commanded us.” [So they did that], and this is a record of all the descendants of Jacob who came out of Egypt [who were still alive].
5 Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki; abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
[They counted] 43,730 men from the tribe of Reuben, Jacob’s oldest son. They were in clans descended from Hanoch, Pallu, Hezron, and Carmi.
6 abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni; abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
7 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu.
8 Mutabani wa Palu yali Eriyaabu,
Pallu’s son was Eliab
9 ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda.
and his grandsons were Nemuel, Dathan and Abiram. Dathan and Abiram were the leaders who joined with Korah to conspire against Aaron and Moses/me and rebelled against Yahweh.
10 Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.
But the earth opened up and swallowed them and Korah. Yahweh also sent a fire that burned up 250 men who supported those three men. That was a warning [to all the Israeli people] that they should respect and obey the leaders whom Yahweh had appointed.
11 Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
But the descendants of Korah did not die [on that day].
12 Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri; abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini; abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;
The Israeli leaders counted 22,200 men from the tribe of Simeon. They were in clans descended from Nemuel, Jamin, Jakin, Zerah, and Shaul.
13 abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera; abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.
14 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri.
15 Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni; abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi; abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;
They counted 40,500 men from the tribe of Gad. They were in clans descended from Zephon, Haggi, Shuni, Ozni, Eri, Arod, and Areli.
16 abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni; abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;
17 abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi; abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.
18 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano.
19 Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.
They counted 76,500 men from the tribe of Judah. They were in clans descended from Shelah, Perez, Zerah, Hezron, and Hamul. Judah’s other two sons, Er and Onan, died in Canaan [without having had any children].
20 Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera; abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.
21 Bazzukulu ba Pereezi be bano: abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.
22 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano.
23 Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;
They counted 64,300 men from the tribe of Issachar. They were in clans descended from Tola, Puvah, Jashub, and Shimron.
24 abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu; abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni
25 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu.
26 Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi; abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni; abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.
They counted 60,500 men from the tribe of Zebulun. They were in clans descended from Sered, Elon, and Jahleel.
27 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano.
28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
They counted 52,700 men from the tribe of Manasseh, who was one of the sons of Joseph. They were in clans descended from Machir, from his son Gilead, and from his six grandsons—Jezer, Helek, Asriel, Shechem, Shemida, and Hepher. Hepher’s son Zelophehad did not have any sons, but he had five daughters—Mahlah, Noah, Hoglah, Milcah, and Tirzah.
29 Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi. Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
30 Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri, abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;
31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri, abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:
32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida; abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.
33 Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
34 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
35 Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera; abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri; abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.
They counted 32,500 men from the tribe of Ephraim, who was Joseph’s other son. They were in clans descended from Shuthelah, Becher, Tahan, and Shuthelah’s son Eran.
36 Bano be bazzukulu ba Susera: abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.
37 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano. Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
38 Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera; abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu
They counted 45,600 men from the tribe of Benjamin. They were in clans descended from Bela, Ashbel, Ahiram, Shephupham, and Hupham, and from Bela’s two sons—Ard and Naaman.
39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu; abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.
40 Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda; abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.
41 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
42 Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani.
They counted 64,400 men from the tribe of Dan. They were in one clan descended from Shuham.
43 Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna; abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi; abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.
They counted 53,400 men from the tribe of Asher. They were in clans descended from Imnah, Ishvi, and Beriah, and from Beriah’s two sons—Heber and Malkiel. Asher also had a daughter named Serah.
45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino: abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi; abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.
46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.
47 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
48 Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri, abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni
They counted 45,400 men from the tribe of Naphtali. They were in clans descended from Jahzeel, Guni, Jezer, and Shillem.
49 abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri; abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.
50 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
51 Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu.
The total of the Israeli men whom the leaders counted was 601,730.
52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
Then Yahweh said to Moses/me,
53 “Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli.
“Divide Canaan land among the tribes. Distribute the land according the number of people in each tribe that are on your lists.
54 Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.
Decide by (casting lots/throwing stones which are marked) to determine which group will get which area, but give the largest areas to the groups with the most people.”
55 Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo.
56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
57 Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali: abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni; abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi; abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
The leaders also counted the male descendants of Levi. They were in clans descended from Gershon, Kohath, and Merari.
58 Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi: olunyiriri lw’Ababalibuni, olunyiriri lw’Abakebbulooni, olunyiriri lw’Abamakuli, olunyiriri lw’Abamusi, n’olunyiriri lw’Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu.
These also included people from the clans of Libni, Hebron, Mahli, Mushi, and Korah. All of them were descendants of Levi. Kohath was the ancestor of Amram,
59 Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.
whose wife was Jochebed. She also was a descendant of Levi, but she was born in Egypt. She and Amram had two sons, Aaron and Moses/me, and their/our [older] sister Miriam.
60 Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
Aaron’s sons were Nadab, Abihu, Eleazar, and Ithamar.
61 Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
But Nadab and Abihu died when they burned [incense for a sacrifice] to Yahweh in a way that disobeyed what Yahweh had commanded.
62 Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
The leaders counted 23,000 men from the descendants of Levi who were at least one month old. But these men were not counted when the rest of the Israeli people [were counted], because they were not given any land.
63 Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
Those were the men whom Eleazar and Moses/I said should be counted. They counted the Israeli people on the plains where the Moab people-group lived, on the [east] side of the Jordan River, across from Jericho [city].
64 Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi.
None of the men whom they counted were on the lists that were made by Aaron and Moses/me when the Israelis were in the Sinai Desert,
65 Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
because Yahweh had said about them, “They will all die in this desert,” [and that is what happened]. The only ones who were still alive were Jephunneh’s son Caleb and Nun’s son Joshua.