< Okubala 25 >

1 Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu,
以色列人住在什亭,百姓与摩押女子行起淫乱。
2 abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo.
因为这女子叫百姓来,一同给她们的神献祭,百姓就吃她们的祭物,跪拜她们的神。
3 Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.
以色列人与巴力·毗珥连合,耶和华的怒气就向以色列人发作。
4 Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”
耶和华吩咐摩西说:“将百姓中所有的族长在我面前对着日头悬挂,使我向以色列人所发的怒气可以消了。”
5 Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”
于是摩西吩咐以色列的审判官说:“凡属你们的人,有与巴力·毗珥连合的,你们各人要把他们杀了。”
6 Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
摩西和以色列全会众正在会幕门前哭泣的时候,谁知,有以色列中的一个人,当他们眼前,带着一个米甸女人到他弟兄那里去。
7 Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe
祭司亚伦的孙子,以利亚撒的儿子非尼哈看见了,就从会中起来,手里拿着枪,
8 n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma.
跟随那以色列人进亭子里去,便将以色列人和那女人由腹中刺透。这样,在以色列人中瘟疫就止息了。
9 N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
那时遭瘟疫死的,有二万四千人。
10 Mukama n’agamba Musa nti,
耶和华晓谕摩西说:
11 “Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo.
“祭司亚伦的孙子,以利亚撒的儿子非尼哈,使我向以色列人所发的怒消了;因他在他们中间,以我的忌邪为心,使我不在忌邪中把他们除灭。
12 Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe.
因此,你要说:‘我将我平安的约赐给他。
13 Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’”
这约要给他和他的后裔,作为永远当祭司职任的约;因他为 神有忌邪的心,为以色列人赎罪。’”
14 Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni.
那与米甸女人一同被杀的以色列人,名叫心利,是撒路的儿子,是西缅一个宗族的首领。
15 N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.
那被杀的米甸女人,名叫哥斯比,是苏珥的女儿;这苏珥是米甸一个宗族的首领。
16 Mukama n’agamba Musa nti,
耶和华晓谕摩西说:
17 “Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta,
“你要扰害米甸人,击杀他们;
18 kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”
因为他们用诡计扰害你们,在毗珥的事上和他们的姊妹、米甸首领的女儿哥斯比的事上,用这诡计诱惑了你们;这哥斯比,当瘟疫流行的日子,因毗珥的事被杀了。”

< Okubala 25 >