< Okubala 24 >

1 Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu.
וירא בלעם כי טוב בעיני יהוה לברך את ישראל ולא הלך כפעם בפעם לקראת נחשים וישת אל המדבר פניו׃
2 Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda,
וישא בלעם את עיניו וירא את ישראל שכן לשבטיו ותהי עליו רוח אלהים׃
3 n’alagula nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
וישא משלו ויאמר נאם בלעם בנו בער ונאם הגבר שתם העין׃
4 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna, eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
נאם שמע אמרי אל אשר מחזה שדי יחזה נפל וגלוי עינים׃
5 “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo, ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
מה טבו אהליך יעקב משכנתיך ישראל׃
6 “Byeyaliiridde ng’ebiwonvu, ng’ennimiro ku mabbali g’omugga, ng’emigavu egisimbiddwa Mukama ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
כנחלים נטיו כגנת עלי נהר כאהלים נטע יהוה כארזים עלי מים׃
7 Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi. “Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
יזל מים מדליו וזרעו במים רבים וירם מאגג מלכו ותנשא מלכתו׃
8 “Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko. Basaanyaawo amawanga g’abalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa n’obusaale bwabwe.
אל מוציאו ממצרים כתועפת ראם לו יאכל גוים צריו ועצמתיהם יגרם וחציו ימחץ׃
9 Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
כרע שכב כארי וכלביא מי יקימנו מברכיך ברוך וארריך ארור׃
10 Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
ויחר אף בלק אל בלעם ויספק את כפיו ויאמר בלק אל בלעם לקב איבי קראתיך והנה ברכת ברך זה שלש פעמים׃
11 Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
ועתה ברח לך אל מקומך אמרתי כבד אכבדך והנה מנעך יהוה מכבוד׃
12 Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti,
ויאמר בלעם אל בלק הלא גם אל מלאכיך אשר שלחת אלי דברתי לאמר׃
13 ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’
אם יתן לי בלק מלא ביתו כסף וזהב לא אוכל לעבר את פי יהוה לעשות טובה או רעה מלבי אשר ידבר יהוה אתו אדבר׃
14 Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
ועתה הנני הולך לעמי לכה איעצך אשר יעשה העם הזה לעמך באחרית הימים׃
15 N’alagula bw’ati nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
וישא משלו ויאמר נאם בלעם בנו בער ונאם הגבר שתם העין׃
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
נאם שמע אמרי אל וידע דעת עליון מחזה שדי יחזה נפל וגלוי עינים׃
17 “Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
אראנו ולא עתה אשורנו ולא קרוב דרך כוכב מיעקב וקם שבט מישראל ומחץ פאתי מואב וקרקר כל בני שת׃
18 Edomu aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
והיה אדום ירשה והיה ירשה שעיר איביו וישראל עשה חיל׃
19 Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
וירד מיעקב והאביד שריד מעיר׃
20 Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
וירא את עמלק וישא משלו ויאמר ראשית גוים עמלק ואחריתו עדי אבד׃
21 N’alaba Abakeeni, n’alagula nti: “Ekifo kyo w’obeera wagumu, ekisu kyo kiri mu lwazi
וירא את הקיני וישא משלו ויאמר איתן מושבך ושים בסלע קנך׃
22 naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
כי אם יהיה לבער קין עד מה אשור תשבך׃
23 Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
וישא משלו ויאמר אוי מי יחיה משמו אל׃
24 Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu; birifufuggaza Asuli ne Eberi, naye nabyo birizikirira.”
וצים מיד כתים וענו אשור וענו עבר וגם הוא עדי אבד׃
25 Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.
ויקם בלעם וילך וישב למקמו וגם בלק הלך לדרכו׃

< Okubala 24 >