< Okubala 23 >

1 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.”
ויאמר בלעם אל בלק בנה לי בזה שבעה מזבחת והכן לי בזה שבעה פרים ושבעה אילים׃
2 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
ויעש בלק כאשר דבר בלעם ויעל בלק ובלעם פר ואיל במזבח׃
3 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
ויאמר בלעם לבלק התיצב על עלתך ואלכה אולי יקרה יהוה לקראתי ודבר מה יראני והגדתי לך וילך שפי׃
4 Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
ויקר אלהים אל בלעם ויאמר אליו את שבעת המזבחת ערכתי ואעל פר ואיל במזבח׃
5 Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
וישם יהוה דבר בפי בלעם ויאמר שוב אל בלק וכה תדבר׃
6 N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu.
וישב אליו והנה נצב על עלתו הוא וכל שרי מואב׃
7 Balamu n’alagula nti, “Balaki ye yanzigya mu Alamu, kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba. N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo; jjangu oboole Isirayiri.’
וישא משלו ויאמר מן ארם ינחני בלק מלך מואב מהררי קדם לכה ארה לי יעקב ולכה זעמה ישראל׃
8 Nnyinza okukolimira abo Katonda batakolimidde? Nnyinza okuboola abo Mukama Katonda baatabodde?
מה אקב לא קבה אל ומה אזעם לא זעם יהוה׃
9 Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi mbalengera nga nsinziira ku nsozi. Ndaba abantu abeeyawuddeko abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
כי מראש צרים אראנו ומגבעות אשורנו הן עם לבדד ישכן ובגוים לא יתחשב׃
10 Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri? Leka nfe okufa okw’omutuukirivu, n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
מי מנה עפר יעקב ומספר את רבע ישראל תמת נפשי מות ישרים ותהי אחריתי כמהו׃
11 Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
ויאמר בלק אל בלעם מה עשית לי לקב איבי לקחתיך והנה ברכת ברך׃
12 N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
ויען ויאמר הלא את אשר ישים יהוה בפי אתו אשמר לדבר׃
13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
ויאמר אליו בלק לך נא אתי אל מקום אחר אשר תראנו משם אפס קצהו תראה וכלו לא תראה וקבנו לי משם׃
14 N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
ויקחהו שדה צפים אל ראש הפסגה ויבן שבעה מזבחת ויעל פר ואיל במזבח׃
15 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
ויאמר אל בלק התיצב כה על עלתך ואנכי אקרה כה׃
16 Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
ויקר יהוה אל בלעם וישם דבר בפיו ויאמר שוב אל בלק וכה תדבר׃
17 N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
ויבא אליו והנו נצב על עלתו ושרי מואב אתו ויאמר לו בלק מה דבר יהוה׃
18 Bw’atyo n’alagula nti, “Golokoka, Balaki, owulirize; mpulira, mutabani wa Zipoli.
וישא משלו ויאמר קום בלק ושמע האזינה עדי בנו צפר׃
19 Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?
לא איש אל ויכזב ובן אדם ויתנחם ההוא אמר ולא יעשה ודבר ולא יקימנה׃
20 Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa; agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.
הנה ברך לקחתי וברך ולא אשיבנה׃
21 “Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo, tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri. Mukama Katonda waabwe ali nabo; eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
לא הביט און ביעקב ולא ראה עמל בישראל יהוה אלהיו עמו ותרועת מלך בו׃
22 Katonda ye yabaggya mu Misiri, balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
אל מוציאם ממצרים כתועפת ראם לו׃
23 Tewali bulogo ku Yakobo, tewali bulaguzi ku Isirayiri. Kiryogerwako ku Yakobo ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
כי לא נחש ביעקב ולא קסם בישראל כעת יאמר ליעקב ולישראל מה פעל אל׃
24 Abantu basituka ng’empologoma enkazi, beezuukusa ng’empologoma ensajja etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
הן עם כלביא יקום וכארי יתנשא לא ישכב עד יאכל טרף ודם חללים ישתה׃
25 Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”
ויאמר בלק אל בלעם גם קב לא תקבנו גם ברך לא תברכנו׃
26 Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”
ויען בלעם ויאמר אל בלק הלא דברתי אליך לאמר כל אשר ידבר יהוה אתו אעשה׃
27 Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.”
ויאמר בלק אל בלעם לכה נא אקחך אל מקום אחר אולי יישר בעיני האלהים וקבתו לי משם׃
28 Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
ויקח בלק את בלעם ראש הפעור הנשקף על פני הישימן׃
29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.”
ויאמר בלעם אל בלק בנה לי בזה שבעה מזבחת והכן לי בזה שבעה פרים ושבעה אילים׃
30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
ויעש בלק כאשר אמר בלעם ויעל פר ואיל במזבח׃

< Okubala 23 >