< Okubala 20 >

1 Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
So the people of Israel, the whole community, went into the wilderness of Zin in the first month; they stayed at Kadesh. There Miriam died and was buried.
2 Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni.
There was no water for the community, so they assembled together against Moses and Aaron.
3 Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda!
The people complained against Moses. They said, “It would have been better if we had died when our fellow Israelites died in front of Yahweh!
4 Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe?
Why have you brought Yahweh's community into this wilderness to die here, we and our animals?
5 Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
Why did you make us come up out of Egypt to bring us to this horrible place? Here there is no seed, figs, vines, or pomegranates, and there is no water to drink.”
6 Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.
So Moses and Aaron went away from in front of the assembly. They went to the entrance of the tent of meeting and lay facedown. There Yahweh's brilliant glory appeared to them.
7 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
Yahweh spoke to Moses and said,
8 “Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
“Take the staff and assemble the community, you, and Aaron your brother. Speak to the rock before their eyes, and command it to flow with water. You will produce water for them out of that rock, and you must give it to the community and their cattle to drink.”
9 Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
Moses took the staff from before Yahweh, as Yahweh had commanded him to do.
10 Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
Then Moses and Aaron gathered the assembly together before the rock. Moses said to them, “Listen now, you rebels. Must we bring water out of this rock for you?”
11 Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
Then Moses raised his hand and struck the rock twice with his staff, and much water came out. The community drank, and their cattle drank.
12 Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
Then Yahweh said to Moses and Aaron, “Because you did not trust me or honor me as holy in the eyes of the people of Israel, you will not bring this assembly into the land I have given them.”
13 Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
This place was called the waters of Meribah because the people of Israel had quarreled with Yahweh there, and he showed himself to them as holy.
14 Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti, “Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi.
Moses sent messengers from Kadesh to the king of Edom: Your brother Israel says this: “You know all the difficulties that have happened to us.
15 Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe;
You know that our ancestors went down to Egypt and lived in Egypt a long time. The Egyptians treated us harshly and also our ancestors.
16 naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
When we called out to Yahweh, he heard our voice and sent an angel and brought us out of Egypt. Look, we are in Kadesh, a city on the border of your land.
17 “Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
I am asking you to let us pass through your land. We will not pass through field or vineyard, nor will we drink the water in your wells. We will go along the king's highway. We will not turn aside to the right hand or to the left until we have passed your border.”
18 Naye Edomu n’addamu nti, “Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”
But the king of Edom replied to him, “You may not pass through here. If you do, I will come with the sword to attack you.”
19 Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti, “Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
Then the people of Israel said to him, “We will go along the highway. If we or our livestock drink your water, we will pay for it. Just let us walk through on foot, without doing anything else.”
20 Naye Edomu n’addamu nti, “Temuyitawo.” Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi.
But the king of Edom replied, “You may not pass through.” So the king of Edom came against Israel with a strong hand with many soldiers.
21 Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.
The king of Edom refused to allow Israel to cross over their border. Because of this, Israel turned away from the land of Edom.
22 Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola.
So the people journeyed from Kadesh. The people of Israel, the whole community, came to Mount Hor.
23 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti,
Yahweh spoke to Moses and Aaron at Mount Hor, on Edom's border. He said,
24 “Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba.
“Aaron must be gathered to his people, for he will not enter the land that I have given to the people of Israel. This is because you both rebelled against my word at the waters of Meribah.
25 Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola;
Take Aaron and Eleazar his son, and bring them up to Mount Hor.
26 Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
Take Aaron's priestly garments off him and put them on Eleazar his son. Aaron must die and be gathered to his people there.”
27 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba.
Moses did as Yahweh commanded. They went up Mount Hor in the sight of all the community.
28 Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi.
Moses took Aaron's priestly garments off him and put them on Eleazar his son. Aaron died there on the top of the mountain. Then Moses and Eleazar came down.
29 Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.
When all the community saw that Aaron was dead, the entire nation wept for Aaron for thirty days.

< Okubala 20 >