< Nekkemiya 7 >

1 Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,
When the wall had been rebuilt and I had set the doors in place, the gatekeepers, singers, and Levites were appointed.
2 ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi.
Then I put my brother Hanani in charge of Jerusalem, along with Hananiah the commander of the fortress, because he was a faithful man who feared God more than most.
3 Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
And I told them, “Do not open the gates of Jerusalem until the sun is hot. While the guards are on duty, keep the doors shut and securely fastened. And appoint the residents of Jerusalem as guards, some at their posts and some at their own homes.”
4 Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.
Now the city was large and spacious, but there were few people in it, and the houses had not yet been rebuilt.
5 Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
Then my God put it into my heart to assemble the nobles, the officials, and the people to be enrolled by genealogy. I found the genealogical register of those who had first returned, and I found the following written in it:
6 Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
These are the people of the province who came up from the captivity of the exiles carried away to Babylon by Nebuchadnezzar its king. They returned to Jerusalem and Judah, each to his own town,
7 Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana. Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri:
accompanied by Zerubbabel, Jeshua, Nehemiah, Azariah, Raamiah, Nahamani, Mordecai, Bilshan, Mispereth, Bigvai, Nehum, and Baanah. This is the count of the men of Israel:
8 bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri,
the descendants of Parosh, 2,172;
9 bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri,
the descendants of Shephatiah, 372;
10 bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri,
the descendants of Arah, 652;
11 bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana,
the descendants of Pahath-moab (through the line of Jeshua and Joab), 2,818;
12 bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
the descendants of Elam, 1,254;
13 bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano,
the descendants of Zattu, 845;
14 bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga,
the descendants of Zaccai, 760;
15 bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana,
the descendants of Binnui, 648;
16 bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana,
the descendants of Bebai, 628;
17 bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri,
the descendants of Azgad, 2,322;
18 bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu,
the descendants of Adonikam, 667;
19 bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu,
the descendants of Bigvai, 2,067;
20 bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano,
the descendants of Adin, 655;
21 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana,
the descendants of Ater (through Hezekiah), 98;
22 bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana,
the descendants of Hashum, 328;
23 bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana,
the descendants of Bezai, 324;
24 bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri,
the descendants of Hariph, 112;
25 bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano.
the descendants of Gibeon, 95;
26 Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana,
the men of Bethlehem and Netophah, 188;
27 ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana,
the men of Anathoth, 128;
28 ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri,
the men of Beth-azmaveth, 42;
29 ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu,
the men of Kiriath-jearim, Chephirah, and Beeroth, 743;
30 ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu,
the men of Ramah and Geba, 621;
31 ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri,
the men of Michmash, 122;
32 ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu,
the men of Bethel and Ai, 123;
33 ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri,
the men of the other Nebo, 52;
34 ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
the descendants of the other Elam, 1,254;
35 ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri,
the descendants of Harim, 320;
36 ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano,
the men of Jericho, 345;
37 ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu,
the men of Lod, Hadid, and Ono, 721;
38 n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
and the descendants of Senaah, 3,930.
39 Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu,
The priests: the descendants of Jedaiah (through the house of Jeshua), 973;
40 bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri,
the descendants of Immer, 1,052;
41 bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu,
the descendants of Pashhur, 1,247;
42 ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu.
and the descendants of Harim, 1,017.
43 Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana.
The Levites: the descendants of Jeshua (through Kadmiel, through the line of Hodevah ), 74.
44 Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana.
The singers: the descendants of Asaph, 148.
45 Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana.
The gatekeepers: the descendants of Shallum, the descendants of Ater, the descendants of Talmon, the descendants of Akkub, the descendants of Hatita, and the descendants of Shobai, 138 in all.
46 Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
The temple servants: the descendants of Ziha, the descendants of Hasupha, the descendants of Tabbaoth,
47 bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
the descendants of Keros, the descendants of Sia, the descendants of Padon,
48 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,
the descendants of Lebanah, the descendants of Hagabah, the descendants of Shalmai,
49 bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,
the descendants of Hanan, the descendants of Giddel, the descendants of Gahar,
50 bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,
the descendants of Reaiah, the descendants of Rezin, the descendants of Nekoda,
51 bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,
the descendants of Gazzam, the descendants of Uzza, the descendants of Paseah,
52 bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
the descendants of Besai, the descendants of Meunim, the descendants of Nephushesim,
53 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
the descendants of Bakbuk, the descendants of Hakupha, the descendants of Harhur,
54 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
the descendants of Bazlith, the descendants of Mehida, the descendants of Harsha,
55 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
the descendants of Barkos, the descendants of Sisera, the descendants of Temah,
56 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
the descendants of Neziah, and the descendants of Hatipha.
57 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida,
The descendants of the servants of Solomon: the descendants of Sotai, the descendants of Sophereth, the descendants of Perida,
58 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
the descendants of Jaala, the descendants of Darkon, the descendants of Giddel,
59 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni.
the descendants of Shephatiah, the descendants of Hattil, the descendants of Pochereth-hazzebaim, and the descendants of Amon.
60 Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri.
The temple servants and descendants of the servants of Solomon numbered 392 in all.
61 Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
The following came up from Tel-melah, Tel-harsha, Cherub, Addon, and Immer, but could not prove that their families were descended from Israel:
62 bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri.
the descendants of Delaiah, the descendants of Tobiah, and the descendants of Nekoda, 642 in all.
63 Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.
And from among the priests: the descendants of Hobaiah, the descendants of Hakkoz, and the descendants of Barzillai (who had married a daughter of Barzillai the Gileadite and was called by their name).
64 Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.
These men searched for their family records, but they could not find them and so were excluded from the priesthood as unclean.
65 Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.
The governor ordered them not to eat the most holy things until there was a priest to consult the Urim and Thummim.
66 Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
The whole assembly numbered 42,360,
67 obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu; ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano.
in addition to their 7,337 menservants and maidservants, as well as their 245 male and female singers.
68 Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano,
They had 736 horses, 245 mules,
69 n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano, n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
435 camels, and 6,720 donkeys.
70 Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano, n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu mu ggwanika.
Some of the heads of the families contributed to the project. The governor gave to the treasury 1,000 darics of gold, 50 bowls, and 530 priestly garments.
71 Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa.
And some of the heads of the families gave to the treasury for the project 20,000 darics of gold and 2,200 minas of silver.
72 Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
The rest of the people gave a total of 20,000 darics of gold, 2,000 minas of silver, and 67 priestly garments.
73 Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe. Awo mu mwezi ogw’omusanvu,
So the priests, Levites, gatekeepers, singers, and temple servants, along with some of the people and the rest of the Israelites, settled in their own towns. And by the seventh month the Israelites had settled in their towns.

< Nekkemiya 7 >