< Nekkemiya 5 >

1 Awo ekibinja ky’abasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya.
那時,在人民和他們的婦女中,發生了喊冤的大聲音,控告自己的猶太同胞。
2 Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano ey’okulya okutubeezaawo nga tuli balamu.”
有人喊說:「我們應以我們的兒女作質,換取食糧,吃飯生活。」
3 Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.”
另有人喊說:「我們必須典當我們的田地、葡萄園和房屋,為在飢荒之中獲得食糧。」
4 N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu.
還有人喊說:「我們應抵押我們的田地和葡萄園,去借錢給王納稅。
5 Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”
然而我們的肉體與我們同胞的肉體一樣,我們的孩子與他們的孩子也相同,但我們必須叫我們的兒女去作奴婢,且有些女兒已做了奴婢;我們現下一無所能,因為我們的田地和葡萄園,已屬於別人了。」
6 Bwe nawulira okukaaba kwabwe n’ebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo.
我一聽了他們的哀訴和這樣的話,很是悲憤。
7 Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo,
我考慮之後,遂譴責那些權貴和長官,向他們說:「你們每人竟向告自己的同胞索取重利。」為譴責他們,我召集了大會,
8 ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.
向他們說:「我們已費盡力量,贖回來了那些被賣給異民作奴隸的猶太同胞,難道你們又要賣你們的同胞,叫我們贖回來嗎﹖」他們不出聲,也不知如何回答。
9 Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso g’abalabe baffe, bannamawanga?
我接著說:「你們作的這事實在不對! 為避免異民—我們仇敵的辱罵,你們豈不應懷著敬畏我們天主的心行事嗎﹖
10 Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi n’emmere ey’empeke, naye ekigambo ky’okuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome.
我和我的兄弟以及我的僕人,也都借給了他們銀錢和食糧。好罷! 我們都免除他們這債務罷!
11 Mubaddize leero ebibanja byabwe, n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu, n’ez’emizeeyituuni, n’ennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.”
今天就應當歸還他們的田地、葡萄園、橄欖園和房屋,並歸還由借給他們的銀錢、食糧、酒、油所獲得的重利。」
12 Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bw’olagidde.” Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu n’abakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza.
他們答說:「我們都歸還給他們,不向他們索求什麼;你怎麼說;我們就怎麼行。」接著我叫了司祭來,另那些人起誓,按這話去行。
13 Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!” Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.
我又拂拭衣襟說道:「願天主把一切不守這諾言的人,由他的房舍和他的財產中如此拂拭下去,直到將他拂拭淨盡。」全會眾都答說:「阿們。」同時又稱頌了上主。人民都履行了諾言。
14 Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza w’ensi ya Yuda, mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri, gy’emyaka ekkumi n’ebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba ey’owessaza.
此外,自從我被任命為猶大省長之日起,即自阿塔薛西斯王二十年至三十二年,十二年之久,我和我的兄弟從未食過省長的俸祿。
15 Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olw’okutya Katonda.
但是,在我以先的前任省長,苛待民眾,每天由民眾取四十「協刻耳」銀子,作為俸祿,並且他們的臣僕還壓迫民眾;而我因敬畏天主,並未如此行事。
16 Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze n’abasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka.
雖然我也從事修建城垣的工程,但並未購置過田產;我的僕人也都聚集在那裏工作。
17 Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo n’abakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kw’otadde n’abaava mu mawanga agaatuliraananga.
有一百五十個猶太人和官員,在我那裏吃飯,還有從我們四周異民中,來到我們這裏的人。
18 Buli lunaku ente emu, n’endiga ensava mukaaga n’enkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo.
每一天應備辦一頭牛,六隻肥羊和各種飛禽,這些都由我負擔;每天又要備置大量的酒;雖然如此,我仍未索求省長的俸祿,服役的事已為這民眾夠重的了。
19 Nzijukira Ayi Katonda wange, olw’ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.
我的天主! 請記念我! 記念我為這民眾所行的一切,使我蒙福。

< Nekkemiya 5 >