< Nekkemiya 3 >

1 Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama.
וַיָּקׇם אֶלְיָשִׁיב הַכֹּהֵן הַגָּדוֹל וְאֶחָיו הַכֹּהֲנִים וַיִּבְנוּ אֶת־שַׁעַר הַצֹּאן הֵמָּה קִדְּשׁוּהוּ וַֽיַּעֲמִידוּ דַּלְתֹתָיו וְעַד־מִגְדַּל הַמֵּאָה קִדְּשׁוּהוּ עַד מִגְדַּל חֲנַנְאֵֽל׃
2 Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.
וְעַל־יָדוֹ בָנוּ אַנְשֵׁי יְרֵחוֹ וְעַל־יָדוֹ בָנָה זַכּוּר בֶּן־אִמְרִֽי׃
3 Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo.
וְאֵת שַׁעַר הַדָּגִים בָּנוּ בְּנֵי הַסְּנָאָה הֵמָּה קֵרוּהוּ וַֽיַּעֲמִידוּ דַּלְתֹתָיו מַנְעוּלָיו וּבְרִיחָֽיו׃
4 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo.
וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיק מְרֵמוֹת בֶּן־אוּרִיָּה בֶּן־הַקּוֹץ וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיק מְשֻׁלָּם בֶּן־בֶּרֶכְיָה בֶּן־מְשֵׁיזַבְאֵל וְעַל־יָדָם הֶֽחֱזִיק צָדוֹק בֶּֽן־בַּעֲנָֽא׃
5 Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.
וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיקוּ הַתְּקוֹעִים וְאַדִּֽירֵיהֶם לֹא־הֵבִיאוּ צַוָּרָם בַּעֲבֹדַת אֲדֹנֵיהֶֽם׃
6 Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo.
וְאֵת שַׁעַר הַיְשָׁנָה הֶחֱזִיקוּ יֽוֹיָדָע בֶּן־פָּסֵחַ וּמְשֻׁלָּם בֶּן־בְּסֽוֹדְיָה הֵמָּה קֵרוּהוּ וַֽיַּעֲמִידוּ דַּלְתֹתָיו וּמַנְעֻלָיו וּבְרִיחָֽיו׃
7 Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati.
וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיק מְלַטְיָה הַגִּבְעֹנִי וְיָדוֹן הַמֵּרֹנֹתִי אַנְשֵׁי גִבְעוֹן וְהַמִּצְפָּה לְכִסֵּא פַּחַת עֵבֶר הַנָּהָֽר׃
8 Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi.
עַל־יָדוֹ הֶחֱזִיק עֻזִּיאֵל בֶּֽן־חַרְהֲיָה צֽוֹרְפִים וְעַל־יָדוֹ הֶחֱזִיק חֲנַנְיָה בֶּן־הָרַקָּחִים וַיַּֽעַזְבוּ יְרוּשָׁלַ͏ִם עַד הַחוֹמָה הָרְחָבָֽה׃
9 Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira.
וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיק רְפָיָה בֶן־חוּר שַׂר חֲצִי פֶּלֶךְ יְרוּשָׁלָֽ͏ִם׃
10 Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza.
וְעַל־יָדָם הֶחֱזִיק יְדָיָה בֶן־חֲרוּמַף וְנֶגֶד בֵּיתוֹ וְעַל־יָדוֹ הֶחֱזִיק חַטּוּשׁ בֶּן־חֲשַׁבְנְיָֽה׃
11 Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi.
מִדָּה שֵׁנִית הֶחֱזִיק מַלְכִּיָּה בֶן־חָרִם וְחַשּׁוּב בֶּן־פַּחַת מוֹאָב וְאֵת מִגְדַּל הַתַּנּוּרִֽים׃
12 Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.
וְעַל־יָדוֹ הֶחֱזִיק שַׁלּוּם בֶּן־הַלּוֹחֵשׁ שַׂר חֲצִי פֶּלֶךְ יְרוּשָׁלָ͏ִם הוּא וּבְנוֹתָֽיו׃
13 Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.
אֵת שַׁעַר הַגַּיְא הֶחֱזִיק חָנוּן וְיֹשְׁבֵי זָנוֹחַ הֵמָּה בָנוּהוּ וַֽיַּעֲמִידוּ דַּלְתֹתָיו מַנְעֻלָיו וּבְרִיחָיו וְאֶלֶף אַמָּה בַּחוֹמָה עַד שַׁעַר הָשְׁפֽוֹת׃
14 Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.
וְאֵת ׀ שַׁעַר הָאַשְׁפּוֹת הֶחֱזִיק מַלְכִּיָּה בֶן־רֵכָב שַׂר פֶּלֶךְ בֵּית־הַכָּרֶם הוּא יִבְנֶנּוּ וְיַעֲמִיד דַּלְתֹתָיו מַנְעֻלָיו וּבְרִיחָֽיו׃
15 Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
וְאֵת שַׁעַר הָעַיִן הֶחֱזִיק שַׁלּוּן בֶּן־כׇּל־חֹזֶה שַׂר פֶּלֶךְ הַמִּצְפָּה הוּא יִבְנֶנּוּ וִיטַֽלְלֶנּוּ (ויעמידו) [וְיַעֲמִיד] דַּלְתֹתָיו מַנְעֻלָיו וּבְרִיחָיו וְאֵת חוֹמַת בְּרֵכַת הַשֶּׁלַח לְגַן־הַמֶּלֶךְ וְעַד־הַֽמַּעֲלוֹת הַיּוֹרְדוֹת מֵעִיר דָּוִֽיד׃
16 Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיק נְחֶמְיָה בֶן־עַזְבּוּק שַׂר חֲצִי פֶּלֶךְ בֵּֽית־צוּר עַד־נֶגֶד קִבְרֵי דָוִיד וְעַד־הַבְּרֵכָה הָעֲשׂוּיָה וְעַד בֵּית הַגִּבֹּרִֽים׃
17 Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיקוּ הַלְוִיִּם רְחוּם בֶּן־בָּנִי עַל־יָדוֹ הֶחֱזִיק חֲשַׁבְיָה שַׂר־חֲצִי־פֶלֶךְ קְעִילָה לְפִלְכּֽוֹ׃
18 Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיקוּ אֲחֵיהֶם בַּוַּי בֶּן־חֵנָדָד שַׂר חֲצִי פֶּלֶךְ קְעִילָֽה׃
19 Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa.
וַיְחַזֵּק עַל־יָדוֹ עֵזֶר בֶּן־יֵשׁוּעַ שַׂר הַמִּצְפָּה מִדָּה שֵׁנִית מִנֶּגֶד עֲלֹת הַנֶּשֶׁק הַמִּקְצֹֽעַ׃
20 Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
אַחֲרָיו הֶחֱרָה הֶחֱזִיק בָּרוּךְ בֶּן־[זַכַּי] (זבי) מִדָּה שֵׁנִית מִן־הַמִּקְצוֹעַ עַד־פֶּתַח בֵּית אֶלְיָשִׁיב הַכֹּהֵן הַגָּדֽוֹל׃
21 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיק מְרֵמוֹת בֶּן־אוּרִיָּה בֶּן־הַקּוֹץ מִדָּה שֵׁנִית מִפֶּתַח בֵּית אֶלְיָשִׁיב וְעַד־תַּכְלִית בֵּית אֶלְיָשִֽׁיב׃
22 Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
וְאַחֲרָיו הֶחֱזִיקוּ הַכֹּהֲנִים אַנְשֵׁי הַכִּכָּֽר׃
23 Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיק בִּנְיָמִן וְחַשּׁוּב נֶגֶד בֵּיתָם אַחֲרָיו הֶחֱזִיק עֲזַרְיָה בֶן־מַעֲשֵׂיָה בֶּן־עֲנָֽנְיָה אֵצֶל בֵּיתֽוֹ׃
24 Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe,
אַחֲרָיו הֶחֱזִיק בִּנּוּי בֶּן־חֵנָדָד מִדָּה שֵׁנִית מִבֵּית עֲזַרְיָה עַד־הַמִּקְצוֹעַ וְעַד־הַפִּנָּֽה׃
25 Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi
פָּלָל בֶּן־אוּזַי מִנֶּגֶד הַמִּקְצוֹעַ וְהַמִּגְדָּל הַיּוֹצֵא מִבֵּית הַמֶּלֶךְ הָֽעֶלְיוֹן אֲשֶׁר לַחֲצַר הַמַּטָּרָה אַחֲרָיו פְּדָיָה בֶן־פַּרְעֹֽשׁ׃
26 n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa.
וְהַנְּתִינִים הָיוּ יֹשְׁבִים בָּעֹפֶל עַד נֶגֶד שַׁעַר הַמַּיִם לַמִּזְרָח וְהַמִּגְדָּל הַיּוֹצֵֽא׃
27 Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיקוּ הַתְּקֹעִים מִדָּה שֵׁנִית מִנֶּגֶד הַמִּגְדָּל הַגָּדוֹל הַיּוֹצֵא וְעַד חוֹמַת הָעֹֽפֶל׃
28 Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye.
מֵעַל ׀ שַׁעַר הַסּוּסִים הֶחֱזִיקוּ הַכֹּהֲנִים אִישׁ לְנֶגֶד בֵּיתֽוֹ׃
29 Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira.
אַחֲרָיו הֶחֱזִיק צָדוֹק בֶּן־אִמֵּר נֶגֶד בֵּיתוֹ וְאַחֲרָיו הֶחֱזִיק שְׁמַֽעְיָה בֶן־שְׁכַנְיָה שֹׁמֵר שַׁעַר הַמִּזְרָֽח׃
30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge.
(אחרי) [אַחֲרָיו] הֶחֱזִיק חֲנַנְיָה בֶן־שֶׁלֶמְיָה וְחָנוּן בֶּן־צָלָף הַשִּׁשִּׁי מִדָּה שֵׁנִי אַחֲרָיו הֶחֱזִיק מְשֻׁלָּם בֶּן־בֶּרֶכְיָה נֶגֶד נִשְׁכָּתֽוֹ׃
31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda.
(אחרי) [אַחֲרָיו] הֶחֱזִיק מַלְכִּיָּה בֶּן־הַצֹּרְפִי עַד־בֵּית הַנְּתִינִים וְהָרֹכְלִים נֶגֶד שַׁעַר הַמִּפְקָד וְעַד עֲלִיַּת הַפִּנָּֽה׃
32 Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.
וּבֵין עֲלִיַּת הַפִּנָּה לְשַׁעַר הַצֹּאן הֶחֱזִיקוּ הַצֹּרְפִים וְהָרֹכְלִֽים׃

< Nekkemiya 3 >