< Nekkemiya 10 >
1 Abassaako emikono be bano: Nekkemiya owessaza, mutabani wa Kakaliya. Ne Zeddekiya,
2 ne Seraya, ne Azaliya, ne Yeremiya,
3 ne Pasukuli, ne Amaliya, ne Malukiya,
4 ne Kattusi, ne Sebaniya, ne Malluki,
5 ne Kalimu, ne Meremoosi, ne Obadiya,
6 ne Danyeri, ne Ginnesoni, ne Baluki,
7 ne Messulamu, ne Abiya, ne Miyamini,
8 ne Maaziya, ne Birugayi ne Semaaya. Abo be baali bakabona.
9 Abaleevi be bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi batabani ba Kenadaadi ne Kadimiyeeri
10 n’abaabayambangako be ba Sebaniya, ne Kodiya, ne Kerita, ne Peraya, ne Kanani,
11 ne Mikka, ne Lekobu, ne Kasabiya,
12 ne Zakkuli, ne Serebiya, ne Sebaniya,
13 ne Kodiya, ne Baani ne Beninu.
14 Abakulembeze b’abantu baali: Palosi, ne Pakasumowaabu, ne Eramu, ne Zattu, ne Baani,
15 ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,
16 ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini,
17 ne Ateri, ne Keezeekiya, ne Azzuli,
18 ne Kodiya, ne Kasumu, ne Bezayi,
19 ne Kalifu, ne Anasosi, ne Nebayi,
20 ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Keziri,
21 ne Mesezaberi, ne Zadooki, ne Yadduwa,
22 ne Peratiya, ne Kanani, ne Anaya,
23 ne Koseya, ne Kananiya, ne Kassubu,
24 ne Kallokesi, ne Piruka, ne Sobeki,
25 ne Lekumu, ne Kasabuna, ne Maaseya,
26 ne Akiya, ne Kanani, ne Anani,
27 ne Malluki, ne Kallimu ne Baana.
28 “Abantu abalala bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abaweereza b’omu yeekaalu, n’abo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olw’Amateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera
29 beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, n’okugonderanga, amateeka gonna, n’ebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.
30 “Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.
31 “Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.
32 “Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri buli mwaka olw’obuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe:
33 olw’emigaati egy’okulaga; olw’ekiweebwayo eky’obutta ekya buli kiseera, n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, n’olw’ebiweebwayo ebya Ssabbiiti, n’eby’embaga y’omwezi ogwakaboneka, n’embaga ezaateekebwawo n’olw’ebintu ebyatukuzibwa; n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangiririra Isirayiri; n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe.
34 “Ffe bakabona, n’Abaleevi, n’abantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
35 “Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.
36 “Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
37 “Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
38 Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.
39 Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera. “Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”