< Nekkemiya 1 >

1 Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya: Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,
Словеса Неемии сына Ахалиина. И бысть в месяце Хаселев, двадесятаго лета, и аз бех в Сусан-Авире.
2 Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi.
И прииде (ко мне) Ананиа един от братий моих с мужи Иудовы, и вопросих их о спасшихся, иже осташася от пленения, и о Иерусалиме.
3 Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.”
И рекоша ми: оставшиися от пленения тамо во стране, во озлоблении велице и в поношении, и стены Иерусалимския разорены, и врата его сожжена огнем.
4 Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu.
И бысть егда услышах словеса сия, седох и плаках и рыдах дни (многи), и бех постяся и моляся пред лицем Бога небеснаго,
5 Ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge.
и рекох: молю Тя, Господи Боже небесный, крепкий, великий и страшный, храняй завет и милосердие любящым Тя и хранящым заповеди Твоя:
6 Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli.
да будут уши Твои внемлюще и очи Твои отверсте, еже слышати молитву раба Твоего, еюже аз молюся пред Тобою днесь, день и нощь, о сынех Израилевых рабех Твоих: и исповедаюся о гресех сынов Израилевых, имиже согрешихом пред Тобою, и аз и дом отца моего согрешихом:
7 Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.
преступлением преступихом Тебе и не сохранихом заповедий (твоих) и повелений и судеб, яже повелел еси Моисею рабу Твоему:
8 “Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga,
помяни убо слово, еже заповедал еси Моисею рабу Твоему глаголя: аще преступите вы, Аз расточу вы в люди,
9 naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’
и аще обратитеся ко Мне и сохраните заповеди Моя и сотворите я, аще будет разсеяние ваше до конца небесе, оттуду соберу вы и введу вы в место, еже избрах вселитися имени Моему тамо:
10 “Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi.
и тии раби Твои и людие Твои, ихже искупил еси силою Твоей великою и рукою Твоею крепкою:
11 Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.” Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.
молю, Господи, да будет ухо Твое внемлющее на молитву раба Твоего и на молитву рабов Твоих хотящих боятися имене Твоего: и благопоспеши убо рабу Твоему днесь, и даждь его в щедроты пред мужем сим. И аз бых виночерпчий царев.

< Nekkemiya 1 >