< Nakkumu 3 >

1 Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.
הוֹי עִיר דָּמִים כֻּלָּהּ כַּחַשׁ פֶּרֶק מְלֵאָה לֹא יָמִישׁ טָֽרֶף׃
2 Muwulire okuvuga kw’embooko, n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
קוֹל שׁוֹט וְקוֹל רַעַשׁ אוֹפָן וְסוּס דֹּהֵר וּמֶרְכָּבָה מְרַקֵּדָֽה׃
3 Laba eggye ery’embalaasi erirumba, n’ebitala ebitemagana, n’amafumu agamyansa. Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu, ne ntuumu ennene ez’emirambo egitamanyiddwa muwendo; abantu bagirinnyirira.
פָּרָשׁ מַעֲלֶה וְלַהַב חֶרֶב וּבְרַק חֲנִית וְרֹב חָלָל וְכֹבֶד פָּגֶר וְאֵין קֵצֶה לַגְּוִיָּה יכשלו וְכָשְׁלוּ בִּגְוִיָּתָֽם׃
4 Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu, kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu, ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo, n’olw’obulogo bwakyo.
מֵרֹב זְנוּנֵי זוֹנָה טוֹבַת חֵן בַּעֲלַת כְּשָׁפִים הַמֹּכֶרֶת גּוֹיִם בִּזְנוּנֶיהָ וּמִשְׁפָּחוֹת בִּכְשָׁפֶֽיהָ׃
5 “Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo. Ensi zonna ziriraba obwereere bwo n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
הִנְנִי אֵלַיִךְ נְאֻם יְהוָה צְבָאוֹת וְגִלֵּיתִי שׁוּלַיִךְ עַל־פָּנָיִךְ וְהַרְאֵיתִי גוֹיִם מַעְרֵךְ וּמַמְלָכוֹת קְלוֹנֵֽךְ׃
6 Ndikukanyugira kazambi, era ndikufuula ekyenyinyalwa ne nkufuula eky’okwelolera.
וְהִשְׁלַכְתִּי עָלַיִךְ שִׁקֻּצִים וְנִבַּלְתִּיךְ וְשַׂמְתִּיךְ כְּרֹֽאִי׃
7 Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti, ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’ Abalikikubagiza baliva wa?”
וְהָיָה כָל־רֹאַיִךְ יִדּוֹד מִמֵּךְ וְאָמַר שָׁדְּדָה נִֽינְוֵה מִי יָנוּד לָהּ מֵאַיִן אֲבַקֵּשׁ מְנַחֲמִים לָֽךְ׃
8 Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna? Olukomera lwakyo gwali mugga era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
הֲתֵֽיטְבִי מִנֹּא אָמוֹן הַיֹּֽשְׁבָה בַּיְאֹרִים מַיִם סָבִיב לָהּ אֲשֶׁר־חֵיל יָם מִיָּם חוֹמָתָֽהּ׃
9 Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga. Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
כּוּשׁ עָצְמָה וּמִצְרַיִם וְאֵין קֵצֶה פּוּט וְלוּבִים הָיוּ בְּעֶזְרָתֵֽךְ׃
10 Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo. Abakungu baakyo baakubirwa obululu, n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
גַּם־הִיא לַגֹּלָה הָלְכָה בַשֶּׁבִי גַּם עֹלָלֶיהָ יְרֻטְּשׁוּ בְּרֹאשׁ כָּל־חוּצוֹת וְעַל־נִכְבַּדֶּיהָ יַדּוּ גוֹרָל וְכָל־גְּדוֹלֶיהָ רֻתְּקוּ בַזִּקִּֽים׃
11 Nineeve naawe olitamiira, olyekweka ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
גַּם־אַתְּ תִּשְׁכְּרִי תְּהִי נַֽעֲלָמָה גַּם־אַתְּ תְּבַקְשִׁי מָעוֹז מֵאוֹיֵֽב׃
12 Ebigo byo byonna biri ng’emitiini egiriko ebibala ebisooka okwengera; bwe ginyeenyezebwa ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
כָּל־מִבְצָרַיִךְ תְּאֵנִים עִם־בִּכּוּרִים אִם־יִנּוֹעוּ וְנָפְלוּ עַל־פִּי אוֹכֵֽל׃
13 Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi. Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
הִנֵּה עַמֵּךְ נָשִׁים בְּקִרְבֵּךְ לְאֹיְבַיִךְ פָּתוֹחַ נִפְתְּחוּ שַׁעֲרֵי אַרְצֵךְ אָכְלָה אֵשׁ בְּרִיחָֽיִך׃
14 Weenyweze bajja kukulumba! Weeterekere ku mazzi g’onoonywako. Nyweza ebisenge byo. Noonya ettaka olisambe oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
מֵי מָצוֹר שַֽׁאֲבִי־לָךְ חַזְּקִי מִבְצָרָיִךְ בֹּאִי בַטִּיט וְרִמְסִי בַחֹמֶר הַחֲזִיקִי מַלְבֵּֽן׃
15 Omuliro gulikulya, ekitala kirikuzikiriza. Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime. Mweyongere obungi ng’enseenene, mwale ng’enzige.
שָׁם תֹּאכְלֵךְ אֵשׁ תַּכְרִיתֵךְ חֶרֶב תֹּאכְלֵךְ כַּיָּלֶק הִתְכַּבֵּד כַּיֶּלֶק הִֽתְכַּבְּדִי כָּאַרְבֶּֽה׃
16 Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu. Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi ne ziryoka zibuuka.
הִרְבֵּית רֹֽכְלַיִךְ מִכּוֹכְבֵי הַשָּׁמָיִם יֶלֶק פָּשַׁט וַיָּעֹֽף׃
17 Abakuumi bammwe bali ng’enzige, n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti. Enjuba bw’evaayo zibuuka ne ziraga etamanyiddwa.
מִנְּזָרַיִךְ כָּֽאַרְבֶּה וְטַפְסְרַיִךְ כְּגוֹב גֹּבָי הַֽחוֹנִים בַּגְּדֵרוֹת בְּיוֹם קָרָה שֶׁמֶשׁ זָֽרְחָה וְנוֹדַד וְלֹֽא־נוֹדַע מְקוֹמוֹ אַיָּֽם׃
18 Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli, n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko. Abantu bo basaasaanira ku nsozi nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
נָמוּ רֹעֶיךָ מֶלֶךְ אַשּׁוּר יִשְׁכְּנוּ אַדִּירֶיךָ נָפֹשׁוּ עַמְּךָ עַל־הֶהָרִים וְאֵין מְקַבֵּֽץ׃
19 Tewali kisobola kuwonya kiwundu kyo ekinene bwe kityo. Bonna abawulira ebikuguddeko bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo. Ani ataakosebwa olw’ettima lyo eringi? Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?
אֵין־כֵּהָה לְשִׁבְרֶךָ נַחְלָה מַכָּתֶךָ כֹּל ׀ שֹׁמְעֵי שִׁמְעֲךָ תָּקְעוּ כַף עָלֶיךָ כִּי עַל־מִי לֹֽא־עָבְרָה רָעָתְךָ תָּמִֽיד׃ 47 3 4 4

< Nakkumu 3 >