< Nakkumu 2 >

1 Nineeve, olumbiddwa omulabe; kuuma ekigo, Kuuma ekkubo, weesibire ddala onywere mu kiwato, kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
He that dasheth in pieces is come up against thy face: keep the fortress, watch the way, make [thy] loins strong, fortify [thy] power mightily.
2 Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri, newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo, ne boonoona emizabbibu gyabwe.
For Jehovah hath brought again the glory of Jacob, as the glory of Israel; for the wasters have wasted them, and marred their vine-branches.
3 Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo. Amagaali g’ebyuuma gamasamasa ku lunaku lwe gategekebwa, era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
The shield of his mighty men is made red, the valiant men are in scarlet: the chariots [glitter] with the sheen of steel, in the day of his preparation, and the spears are brandished.
4 Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo, gadda eno n’eri, galabika ng’emimuli egyaka, gamyansa ng’eggulu.
The chariots rush madly in the streets, they justle one against another in the broad ways: the appearance of them is like torches, they run like lightnings.
5 Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be bajja bagwirana. Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga we beetegekera okwerwanako.
He bethinketh him of his nobles: they stumble in their march; they make haste to the wall thereof, and the shelter is prepared.
6 Enzigi ez’omugga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
The gates of the rivers are opened, and the palace melteth away.
7 Etteeka lyayisibwa ku kibuga nti kiriwaŋŋangusibwa, abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba.
And it is decreed: she shall be uncovered, she shall be led away, and her maids shall moan as with the voice of doves, drumming upon their breasts.
8 Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba eky’amazzi agakalira. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” bo beeyongerayo bweyongezi.
Nineveh hath been like a pool of water, since the day she existed, yet they flee away. ...Stand! Stand! But none looketh back.
9 Ffeeza yaakyo temugirekaawo, ne zaabu nayo mugitwalire ddala, omunyago teguggwaayo, eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
Plunder the silver, plunder the gold; for there is no end of the splendid store of all precious vessels.
10 Ekibuga kisigadde kyangaala! Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana, amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
She is empty, and void, and waste; and the heart melteth, and the knees smite together, and writhing pain is in all loins, and all their faces grow pale.
11 Eri ludda wa empuku y’empologoma, ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento, empologoma ensajja, n’enkazi, n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
Where is [now] the den of the lions, and the feeding-place of the young lions, where the lion, the lioness, [and] the lion's whelp walked, and none made them afraid?
12 Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala, n’enkazi n’ezittira eyaazo, n’ejjuza empuku n’omuyiggo, ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
The lion tore in pieces enough for his whelps, and strangled for his lionesses, and filled his holes with prey, and his dens with ravin.
13 “Laba nze Mukama ow’Eggye nkwolekedde, era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka, n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento. Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi, n’eddoboozi ly’ababaka bo teririddayo kuwulirwa.”
Behold, I am against thee, saith Jehovah of hosts: and I will burn her chariots into smoke; and the sword shall devour thy young lions, and I will cut off thy prey from the earth; and the voice of thy messengers shall no more be heard.

< Nakkumu 2 >