< Mikka 7 >

1 Ddala zinsanze nze. Ndi ng’omuntu akungula ebibala okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu; tewali kirimba kya mizabbibu kulyako, wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
My woe [is] to me, for I have been As gatherings of summer-fruit, As gleanings of harvest, There is no cluster to eat, The first-ripe fruit desired hath my soul.
2 Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. Bonna banoonya okuyiwa omusaayi, buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
Perished hath the kind out of the land, And upright among men — there are none, All of them for blood lie in wait, Each his brother they hunt [with] a net.
3 Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi; omufuzi asaba ebirabo, n’omulamuzi alya enguzi, n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala nga basala enkwe.
On the evil [are] both hands to do [it] well, The prince is asking — also the judge — for recompence, And the great — he is speaking the mischief of his soul, And they wrap it up.
4 Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo; asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi. Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse, era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
Their best one [is] as a brier, The upright one — than a thorn-hedge, The day of thy watchmen — Thy visitation — hath come. Now is their perplexity.
5 Tewesiga muntu n’omu, wadde mukwano gwo, newaakubadde mukazi wo, Weegendereze by’oyogera.
Believe not in a friend, trust not in a leader, From her who is lying in thy bosom keep the openings of thy mouth.
6 Kubanga omulenzi agaya kitaawe, n’omwana alwanyisa nnyina, muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we. Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
For a son is dishonouring a father, A daughter hath stood against her mother, A daughter-in-law against her mother-in-law, The enemies of each [are] the men of his house.
7 Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi, nnindirira Katonda Omulokozi wange; Katonda wange anampulira.
And I — in Jehovah I do watch, I do wait for the God of my salvation, Hear me doth my God.
8 Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. Ne bwe naatuula mu kizikiza, Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
Thou dost not rejoice over me, O mine enemy, When I have fallen, I have risen, When I sit in darkness Jehovah is a light to me.
9 Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza, kubanga nnyonoonye mu maaso ge, okutuusa lw’alimpolereza, n’anziza buggya. Alindeeta mu kitangaala, era ndiraba obutuukirivu bwe.
The indignation of Jehovah I do bear, For I have sinned against Him, Till that He doth plead my cause, And hath executed my judgment, He doth bring me forth to the light, I look on His righteousness.
10 Olwo omulabe wange alikiraba, n’aswala, oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti, “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?” Ndisanyuka ng’agudde, era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
And see doth mine enemy, And cover her doth shame, Who saith unto me, 'Where [is] Jehovah thy God?' Mine eyes do look on her, Now she is for a treading-place, As mire of the out-places.
11 Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka, olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
The day to build thy walls! That day — removed is the limit.
12 Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri, n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati, n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala, n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
That day — even unto thee it doth come in, From Asshur and the cities of the fortress, And from the fortress even unto the river, And from sea to sea, and mount to mount.
13 Ensi erifuuka matongo, olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
And the land hath been for a desolation, Because of its inhabitants, Because of the fruit of their doings.
14 Lunda abantu bo n’omuggo gwo, ekisibo kye weeroboza, ababeera bokka mu kibira mu malundiro amagimu. Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
Rule Thou Thy people with Thy rod, The flock of Thine inheritance, Dwelling alone [in] a forest in the midst of Carmel, They enjoy Bashan and Gilead as in days of old.
15 Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri, nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
According to the days of thy coming forth out of the land of Egypt, I do shew it wonderful things.
16 Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi, ne gamalibwamu amaanyi. Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe n’amatu gaabwe ne gaziba.
See do nations, and they are ashamed of all their might, They lay a hand on the mouth, their ears are deaf.
17 Balirya enfuufu ng’omusota, ng’ebisolo ebyewalula. Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
They lick dust as a serpent, as fearful things of earth, They tremble from their enclosures, Of Jehovah our God they are afraid, Yea, they are afraid of Thee.
18 Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.
Who [is] a God like Thee? taking away iniquity, And passing by the transgression of the remnant of His inheritance, He hath not retained for ever His anger, Because He — He delighteth [in] kindness.
19 Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
He doth turn back, He pitieth us, He doth subdue our iniquities, And Thou castest into the depths of the sea all their sins.
20 Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu, nga bwe weeyama eri bajjajjaffe okuva mu nnaku ez’edda.
Thou givest truth to Jacob, kindness to Abraham, That thou hast sworn to our fathers, from the days of antiquity!

< Mikka 7 >