< Mikka 4 >
1 Mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2 Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza by’ayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3 Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4 Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe ne mu mutiini gwe. Tewalibaawo abatiisa kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5 Newaakubadde nga amawanga gonna galigoberera bakatonda baago, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.
6 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndikuŋŋaanya abalema, n’abo abaawaŋŋangusibwa n’abo abali mu nnaku.
7 Abalema ndibafuula abalonde, n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi. Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
8 Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga, ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni, ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira, n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
9 Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo? Temulina kabaka abakulembera? Omuwi w’amagezi wammwe yafa, ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni ng’omukazi alumwa okuzaala. Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga ogende obeere ku ttale. Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, era eyo gye ndibalokolera. Ndibanunulira eyo okuva mu mukono gw’omulabe.
11 Kyokka kaakano amawanga mangi gakuŋŋaanye okubalwanyisa. Boogera nti, Ayonoonebwe, n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; tebategeera kuteesa kwe; oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
13 “Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni, kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma; ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo era olibetenta amawanga mangi.” Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama, n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.