< Mikka 3 >

1 Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
ואמר שמעו נא ראשי יעקב וקציני בית ישראל הלוא לכם לדעת את המשפט׃
2 mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba?
שנאי טוב ואהבי רעה גזלי עורם מעליהם ושארם מעל עצמותם׃
3 Mulya ennyama yaabwe, ne mubabaagako eddiba, amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, era ne mubasalaasala ng’ennyama eneefumbibwa mu nsaka.”
ואשר אכלו שאר עמי ועורם מעליהם הפשיטו ואת עצמתיהם פצחו ופרשו כאשר בסיר וכבשר בתוך קלחת׃
4 Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olw’ebibi bye bakoze.
אז יזעקו אל יהוה ולא יענה אותם ויסתר פניו מהם בעת ההיא כאשר הרעו מעלליהם׃
5 Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
כה אמר יהוה על הנביאים המתעים את עמי הנשכים בשניהם וקראו שלום ואשר לא יתן על פיהם וקדשו עליו מלחמה׃
6 Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, n’obudde bubazibirire.
לכן לילה לכם מחזון וחשכה לכם מקסם ובאה השמש על הנביאים וקדר עליהם היום׃
7 Abalabi baliswazibwa n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”
ובשו החזים וחפרו הקסמים ועטו על שפם כלם כי אין מענה אלהים׃
8 Naye nze, nzijjudde amaanyi n’Omwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga n’obuvumu, njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, olw’ekibi kya Isirayiri.
ואולם אנכי מלאתי כח את רוח יהוה ומשפט וגבורה להגיד ליעקב פשעו ולישראל חטאתו׃
9 Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
שמעו נא זאת ראשי בית יעקב וקציני בית ישראל המתעבים משפט ואת כל הישרה יעקשו׃
10 mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
בנה ציון בדמים וירושלם בעולה׃
11 Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”
ראשיה בשחד ישפטו וכהניה במחיר יורו ונביאיה בכסף יקסמו ועל יהוה ישענו לאמר הלוא יהוה בקרבנו לא תבוא עלינו רעה׃
12 Noolwekyo ku lwammwe, Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro, ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu, n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
לכן בגללכם ציון שדה תחרש וירושלם עיין תהיה והר הבית לבמות יער׃

< Mikka 3 >