< Mikka 2 >

1 Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
הוֹי חֹֽשְׁבֵי־אָוֶן וּפֹעֲלֵי רָע עַל־מִשְׁכְּבוֹתָם בְּאוֹר הַבֹּקֶר יַעֲשׂוּהָ כִּי יֶשׁ־לְאֵל יָדָֽם׃
2 Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.
וְחָמְדוּ שָׂדוֹת וְגָזָלוּ וּבָתִּים וְנָשָׂאוּ וְעָֽשְׁקוּ גֶּבֶר וּבֵיתוֹ וְאִישׁ וְנַחֲלָתֽוֹ׃
3 Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera n’amalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
לָכֵן כֹּה אָמַר יְהוָה הִנְנִי חֹשֵׁב עַל־הַמִּשְׁפָּחָה הַזֹּאת רָעָה אֲשֶׁר לֹֽא־תָמִישׁוּ מִשָּׁם צַוְּארֹֽתֵיכֶם וְלֹא תֵֽלְכוּ רוֹמָה כִּי עֵת רָעָה הִֽיא׃
4 Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’”
בַּיּוֹם הַהוּא יִשָּׂא עֲלֵיכֶם מָשָׁל וְנָהָה נְהִי נִֽהְיָה אָמַר שָׁדוֹד נְשַׁדֻּנוּ חֵלֶק עַמִּי יָמִיר אֵיךְ יָמִישׁ לִי לְשׁוֹבֵב שָׂדֵינוּ יְחַלֵּֽק׃
5 Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama, aligabanyaamu ettaka ku bululu.
לָכֵן לֹֽא־יִֽהְיֶה לְךָ מַשְׁלִיךְ חֶבֶל בְּגוֹרָל בִּקְהַל יְהוָֽה׃
6 Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; tewali kabi kagenda kututuukako.”
אַל־תַּטִּפוּ יַטִּיפוּן לֹֽא־יַטִּפוּ לָאֵלֶּה לֹא יִסַּג כְּלִמּֽוֹת׃
7 Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
הֶאָמוּר בֵּֽית־יַעֲקֹב הֲקָצַר רוּחַ יְהוָה אִם־אֵלֶּה מַעֲלָלָיו הֲלוֹא דְבָרַי יֵיטִיבוּ עִם הַיָּשָׁר הוֹלֵֽךְ׃
8 Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ng’omulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
וְאֶתְמוּל עַמִּי לְאוֹיֵב יְקוֹמֵם מִמּוּל שַׂלְמָה אֶדֶר תַּפְשִׁטוּן מֵעֹבְרִים בֶּטַח שׁוּבֵי מִלְחָמָֽה׃
9 Bakazi b’abantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.
נְשֵׁי עַמִּי תְּגָרְשׁוּן מִבֵּית תַּֽעֲנֻגֶיהָ מֵעַל עֹֽלָלֶיהָ תִּקְחוּ הֲדָרִי לְעוֹלָֽם׃
10 Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
קוּמוּ וּלְכוּ כִּי לֹא־זֹאת הַמְּנוּחָה בַּעֲבוּר טָמְאָה תְּחַבֵּל וְחֶבֶל נִמְרָֽץ׃
11 Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
לוּ־אִישׁ הֹלֵךְ רוּחַ וָשֶׁקֶר כִּזֵּב אַטִּף לְךָ לַיַּיִן וְלַשֵּׁכָר וְהָיָה מַטִּיף הָעָם הַזֶּֽה׃
12 “Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.
אָסֹף אֶאֱסֹף יַעֲקֹב כֻּלָּךְ קַבֵּץ אֲקַבֵּץ שְׁאֵרִית יִשְׂרָאֵל יַחַד אֲשִׂימֶנּוּ כְּצֹאן בָּצְרָה כְּעֵדֶר בְּתוֹךְ הַדָּֽבְרוֹ תְּהִימֶנָה מֵאָדָֽם׃
13 Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”
עָלָה הַפֹּרֵץ לִפְנֵיהֶם פָּֽרְצוּ וַֽיַּעֲבֹרוּ שַׁעַר וַיֵּצְאוּ בוֹ וַיַּעֲבֹר מַלְכָּם לִפְנֵיהֶם וַיהוָה בְּרֹאשָֽׁם׃

< Mikka 2 >