< Mikka 1 >
1 Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.
유다 열왕 요담과 아하스와 히스기야 시대에 모레셋 사람 미가에게 임한 여호와의 말씀 곧 사마리아와 예루살렘에 관한 묵시라
2 Muwulire mmwe abantu mwenna, muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ng’alina by’abalumiriza.
백성들아 너희는 다 들을지어다 땅과 거기 있는 모든 것들아 자세히 들을지어다 주 여호와께서 너희에게 대하여 증거하시되 곧 주께서 성전에서 그리하실 것이니라
3 Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
여호와께서 그 처소에서 나오시고 강림하사 땅의 높은 곳을 밟으실 것이라
4 N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
그 아래서 산들이 녹고 골짜기들이 갈라지기를 불 앞의 밀 같고 비탈로 쏟아지는 물 같을 것이니
5 Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? Si ye Samaliya? Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? Si Yerusaalemi?
이는 다 야곱의 허물을 인함이요 이스라엘 족속의 죄를 인함이라 야곱의 허물이 무엇이뇨 사마리아가 아니뇨 유다의 산당이 무엇이뇨 예루살렘이 아니뇨
6 “Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu, kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu. Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
이러므로 내가 사마리아로 들의 무더기 같게 하고 포도 심을 동산 같게 하며 또 그 돌들을 골짜기에 쏟아 내리고 그 지대를 드러내며
7 Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
그 새긴 우상을 다 파쇄하고 그 음행의 값을 다 불사르며 그 목상을 다 훼파하리니 그가 기생의 값으로 모았은즉 그것이 기생의 값으로 돌아가리라
8 Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. Ndikaaba ng’ekibe, ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
이러므로 내가 애통하며 애곡하고 벌거벗은 몸으로 행하며 들개같이 애곡하고 타조같이 애통하리니
9 Ekiwundu kye tekiwonyezeka, ne Yuda ky’alwadde. Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange, ne ku Yerusaalemi yennyini.
이는 그 상처는 고칠 수 없고 그것이 유다까지도 이르고 내 백성의 성문 곧 예루살렘에도 미쳤음이니라
10 Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba maziga n’akatono. Mwevulungulire mu nfuufu mu Besuleyafula.
가드에 고하지 말며 도무지 호곡하지 말지어다 베들레아브라에서 티끌에 굴찌어다
11 Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, mmwe ababeera mu Safiri. Ababeera mu Zanani tebalifuluma. Beswezeeri ekuba ebiwoobe, kubanga tokyalinayo buddukiro.
사빌 거민아 너는 벗은 몸에 수치를 무릅쓰고 나갈지어다 사아난 거민은 나오지 못하고 벧에셀이 애곡하여 너희로 의지할 곳이 없게 하리라
12 Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi nga balindirira okubeerwa, kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama, ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
마롯 거민이 근심 중에 복을 바라니 이는 재앙이 여호와께로 말미암아 예루살렘 성문에 임함이니라
13 Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera mu Lakisi. Mmwe nsibuko y’ekibi mu Bawala ba Sayuuni, kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
라기스 거민아 너는 준마에 병거를 메울지어다 라기스는 딸 시온의 죄의 근본이니 이는 이스라엘의 허물이 네게서 보였음이니라
14 Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi ebirabo ebimusiibula. Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba eri bakabaka ba Isirayiri.
이러므로 너는 가드 모레셋에 작별하는 예물을 줄지어다 악십의 집들이 이스라엘 열왕을 속이리라
15 Mmwe abantu b’omu Malesa, ndibasindikira alibawangula n’abafuga. Oyo ekitiibwa kya Isirayiri alijja mu Adulamu.
마레사 거민아 내가 장차 너를 얻을 자로 네게 임하게 하리니 이스라엘의 영광이 아둘람까지 이를 것이라
16 Mukungubage, n’emitwe mugimwe olw’abaana bammwe be mwesiimisa; mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
너는 네 기뻐하는 자식으로 인하여 네 머리털을 깎아 대머리 같게 할지어다 네 머리로 크게 무여지게 하기를 독수리 같게 할지어다 이는 그들이 사로잡혀 너를 떠났음이니라