< Matayo 1 >
1 Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
The History of Jesus Christ, Son of David, Son of Abraham.
2 Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka n’azaala Yakobo, Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
Abraham begot Isaac. Isaac begot Jacob. Jacob begot Judah and his brothers.
3 Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali, Pereezi n’azaala Kezirooni, Kezirooni n’azaala Laamu.
Judah had Pharez and Zarah by Tamar. Pharez begot Ezrom. Ezrom begot Aram.
4 Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu n’azaala Nasoni, Nasoni n’azaala Salumooni.
Aram begot Aminidab. Aminidab begot Nashon. Nashon begot Salmon.
5 Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi. Obedi n’azaala Yese.
Salmon had Boaz by Rahab. Boaz had Obed by Ruth. Obed begot Jesse.
6 Yese yazaala Kabaka Dawudi. Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
Jesse begot David the king. David the king had Solomon, by her who had been the wife of Uriah.
7 Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu n’azaala Abiya, Abiya n’azaala Asa.
Solomon begot Rehoboam. Rehoboam begot Abia. Abia begot Asa.
8 Asa n’azaala Yekosafaati, Yekosafaati n’azaala Yolaamu, Yolaamu n’azaala Uzziya.
Asa begot Jehoshaphat. Jehoshaphat begot Joram. Joram begot Uzziah.
9 Uzziya n’azaala Yosamu, Yosamu n’azaala Akazi, Akazi n’azaala Keezeekiya.
Uzziah begot Jotham. Jotham begot Ahaz. Ahaz begot Hezekiah.
10 Keezeekiya n’azaala Manaase, Manaase n’azaala Amosi, Amosi n’azaala Yosiya.
Hezekiah begot Manasseh. Manasseh begot Amon. Amon begot Josiah.
11 Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
Josiah had Jeconiah and his brothers, about the time of the migration into Babylon.
12 Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni: Yekoniya n’azaala Seyalutyeri, Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
After the migration into Babylon, Jeconiah begot Salathiel. Salathiel begot Zerubbabel.
13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi, Abiwuudi n’azaala Eriyakimu, Eriyakimu n’azaala Azoli.
Zerubbabel begot Abiud. Abiud begot Eliakim. Eliakim begot Azor.
14 Azoli n’azaala Zadooki, Zadooki n’azaala Akimu, Akimu n’azaala Eriwuudi.
Azor begot Zadoc. Zadoc begot Achim. Achim begot Eliud.
15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali, Eriyazaali n’azaala Mataani, Mataani n’azaala Yakobo.
Eliud begot Eleazar. Eleazar begot Matthan. Matthan begot Jacob.
16 Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
Jacob begot Joseph, the husband of Mary, of whom was born Jesus, who is called Christ.
17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
So all the generations from Abraham to David are fourteen; from David till the migration into Babylon, fourteen; from David till the migration into Babylon to the Messiah, fourteen.
18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
Now the birth of Jesus Christ happened thus: Mary his mother had been espoused to Joseph; but before they came together, she proved to be with child by the Holy Spirit.
19 Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
Joseph her husband being a virtuous man, and unwilling to expose her, intended to divorce her privately.
20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
But while he was thinking upon this, an angel of the Lord appearing to him in a dream, said, Joseph, son of David, scruple not to take home Mary your wife; for her pregnancy is from the Holy Spirit.
21 Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
And she shall bear a son, whom you shall call Jesus, for he will save his people from their sins.
22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,
In all this what the Lord had spoken by the Prophet was verified,
23 “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
"Behold the virgin shall conceive and bear a son, who shall be called Immanuel;" which signifies, God with us.
24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we.
When Joseph awoke, he did as the messenger of the Lord had commanded him, and took home his wife;
25 Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.
but knew her not, until she had brought forth her first born son, whom he named Jesus.