< Matayo 7 >

1 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango.
Ne jugez point, afin que vous ne soyez point jugés.
2 Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
Car d’après le jugement selon lequel vous aurez jugé, vous serez jugés, et selon la mesure avec laquelle vous aurez mesuré, mesure vous sera faite.
3 “Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
Pourquoi vois-tu la paille qui est dans l’œil de ton frère et ne vois-tu point la poutre qui est dans ton œil?
4 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
Ou comment dis-tu à ton frère: Laisse-moi ôter la paille de ton œil, tandis qu’il y a une poutre dans le tien?
5 Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
Hypocrite, ôte d’abord la poutre de ton œil, et alors tu songeras à ôter la paille de l’œil de ton frère.
6 “Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”
Ne donnez pas les choses saintes aux chiens, et ne jetez pas vos perles devant les pourceaux, de peur qu’ils ne les foulent aux pieds, et que, se tournant, ils ne vous déchirent.
7 “Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
Demandez, et il vous sera donné; cherchez et vous trouverez; frappez, et il vous sera ouvert.
8 Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”
Car quiconque demande, reçoit; et qui cherche, trouve; et à qui frappe, il sera ouvert.
9 “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja?
Quel est d’entre vous l’homme qui, si son fils lui demande du pain, lui présentera une pierre?
10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota?
Ou si c’est un poisson qu’il lui demande, lui présentera-t-il un serpent?
11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
Si donc vous qui êtes mauvais, vous savez donner de bonnes choses à vos enfants, combien plus votre Père qui est dans les cieux donnera-t-il de bonnes choses à ceux qui les lui demandent?
12 Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
Ainsi, tout ce que vous voulez que les hommes vous fassent, faites-le leur aussi: car c’est la loi et les prophètes.
13 “Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi.
Entrez par la porte étroite; parce que large est la porte et spacieuse la voie qui conduit à la perdition; et nombreux sont ceux qui entrent par elle.
14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”
Combien est étroite la porte et resserrée la voie qui conduit à la vie, et qu’il en est peu qui la trouvent!
15 “Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
Gardez-vous des faux prophètes qui viennent à vous sous des vêtements de brebis, tandis qu’au dedans ce sont des loups ravissants:
16 Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo.
Vous les connaîtrez à leurs fruits. Cueille-t-on des raisins sur des épines, ou des figues sur des ronces?
17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi.
Ainsi, tout arbre bon produit des fruits bons; mais tout mauvais arbre produit de mauvais fruits.
18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi.
Un arbre bon ne peut produire de mauvais fruits, ni un arbre mauvais produire de bons fruits.
19 Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.
Tout arbre qui ne produit point de bon fruit sera coupé et jeté au feu.
20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”
Vous les connaîtrez donc à leurs fruits.
21 “Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
Ce ne sont pas tous ceux qui me disent: Seigneur, Seigneur, qui entreront dans le royaume des cieux; mais celui qui fait la volonté de mon Père qui est aux cieux, celui-là entrera dans le royaume des cieux.
22 Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’
Beaucoup me diront en ce jour là: Seigneur, Seigneur, n’est-ce pas en votre nom que nous avons prophétisé; en votre nom que nous avons chassé des démons, et en votre nom que nous avons fait beaucoup de miracles?
23 Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’”
Et alors je leur dirai hautement: Je ne vous ai jamais connu: retirez-vous de moi, vous qui opérez l’iniquité.
24 “Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
Quiconque donc entend ces paroles que je dis et les accomplit, sera comparé à un homme sage qui a bâti sa maison sur la pierre:
25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.
Et la pluie est descendue, et les fleuves se sont débordés et les vents ont soufflé et sont venus fondre sur cette maison, et elle n’a pas été renversée, parce qu’elle était fondée sur la pierre.
26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu.
Mais quiconque entend ces paroles que je dis, et ne les accomplit point, sera semblable à un homme insensé qui a bâti sa maison sur le sable;
27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
Et la pluie est descendue, et les fleuves se sont débordés, et les vents ont soufflé et sont venus fondre sur cette maison; elle s’est écroulée et sa ruine a été grande.
28 Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe.
Or il arriva que, lorsque Jésus eut achevé ces discours, le peuple était dans l’admiration de sa doctrine.
29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.
Car il les instruisait comme ayant autorité, et non comme leurs scribes et les pharisiens.

< Matayo 7 >