< Matayo 6 >

1 “Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
Take heed that ye do not your alms before men, to be seen of them: otherwise ye have no reward of your Father which is in heaven.
2 “Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe.
Therefore when thou doest [thine] alms, do not sound a trumpet before thee, as the hypocrites do in the synagogues and in the streets, that they may have glory of men. Verily I say unto you, They have their reward.
3 Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola.
But when thou doest alms, let not thy left hand know what thy right hand doeth:
4 Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
That thine alms may be in secret: and thy Father which seeth in secret himself shall reward thee openly.
5 “Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna.
And when thou prayest, thou shalt not be as the hypocrites [are]: for they love to pray standing in the synagogues and in the corners of the streets, that they may be seen of men. Verily I say unto you, They have their reward.
6 Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.
But thou, when thou prayest, enter into thy closet, and when thou hast shut thy door, pray to thy Father which is in secret; and thy Father which seeth in secret shall reward thee openly.
7 Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu.
But when ye pray, use not vain repetitions, as the heathen [do]: for they think that they shall be heard for their much speaking.
8 Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
Be not ye therefore like unto them: for your Father knoweth what things ye have need of, before ye ask him.
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe.
After this manner therefore pray ye: Our Father which art in heaven, Hallowed be thy name.
10 Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
Thy kingdom come. Thy will be done in earth, as [it is] in heaven.
11 Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
Give us this day our daily bread.
12 Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
And forgive us our debts, as we forgive our debtors.
13 Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
And lead us not into temptation, but deliver us from evil: For thine is the kingdom, and the power, and the glory, for ever. Amen.
14 “Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga.
For if ye forgive men their trespasses, your heavenly Father will also forgive you:
15 Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
But if ye forgive not men their trespasses, neither will your Father forgive your trespasses.
16 “Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna.
Moreover when ye fast, be not, as the hypocrites, of a sad countenance: for they disfigure their faces, that they may appear unto men to fast. Verily I say unto you, They have their reward.
17 Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso,
But thou, when thou fastest, anoint thine head, and wash thy face;
18 abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
That thou appear not unto men to fast, but unto thy Father which is in secret: and thy Father, which seeth in secret, shall reward thee openly.
19 “Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira.
Lay not up for yourselves treasures upon earth, where moth and rust doth corrupt, and where thieves break through and steal:
20 Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba.
But lay up for yourselves treasures in heaven, where neither moth nor rust doth corrupt, and where thieves do not break through nor steal:
21 Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
For where your treasure is, there will your heart be also.
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana.
The light of the body is the eye: if therefore thine eye be single, thy whole body shall be full of light.
23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
But if thine eye be evil, thy whole body shall be full of darkness. If therefore the light that is in thee be darkness, how great [is] that darkness!
24 “Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
No man can serve two masters: for either he will hate the one, and love the other; or else he will hold to the one, and despise the other. Ye cannot serve God and mammon.
25 “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.
Therefore I say unto you, Take no thought for your life, what ye shall eat, or what ye shall drink; nor yet for your body, what ye shall put on. Is not the life more than meat, and the body than raiment?
26 Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?
Behold the fowls of the air: for they sow not, neither do they reap, nor gather into barns; yet your heavenly Father feedeth them. Are ye not much better than they?
27 Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”
Which of you by taking thought can add one cubit unto his stature?
28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera,
And why take ye thought for raiment? Consider the lilies of the field, how they grow; they toil not, neither do they spin:
29 naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala.
And yet I say unto you, That even Solomon in all his glory was not arrayed like one of these.
30 Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono!
Wherefore, if God so clothe the grass of the field, which to day is, and to morrow is cast into the oven, [shall he] not much more [clothe] you, O ye of little faith?
31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’
Therefore take no thought, saying, What shall we eat? or, What shall we drink? or, Wherewithal shall we be clothed?
32 Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga.
(For after all these things do the Gentiles seek: ) for your heavenly Father knoweth that ye have need of all these things.
33 Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
But seek ye first the kingdom of God, and his righteousness; and all these things shall be added unto you.
34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
Take therefore no thought for the morrow: for the morrow shall take thought for the things of itself. Sufficient unto the day [is] the evil thereof.

< Matayo 6 >