< Matayo 3 >
1 Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti,
2 “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.”
3 Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti, “Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti, ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, muluŋŋamye amakubo ge!’”
4 Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
5 Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira.
6 N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
8 Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.
9 Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu!
10 Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 “Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro.
12 Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
13 Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana.
14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”
15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba.
17 Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”