< Matayo 28 >

1 Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
tataḥ paraṁ viśrāmavārasya śēṣē saptāhaprathamadinasya prabhōtē jātē magdalīnī mariyam anyamariyam ca śmaśānaṁ draṣṭumāgatā|
2 Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako.
tadā mahān bhūkampō'bhavat; paramēśvarīyadūtaḥ svargādavaruhya śmaśānadvārāt pāṣāṇamapasāryya taduparyyupavivēśa|
3 Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku.
tadvadanaṁ vidyudvat tējōmayaṁ vasanaṁ himaśubhrañca|
4 Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
tadānīṁ rakṣiṇastadbhayāt kampitā mr̥tavad babhūvaḥ|
5 Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa,
sa dūtō yōṣitō jagāda, yūyaṁ mā bhaiṣṭa, kruśahatayīśuṁ mr̥gayadhvē tadahaṁ vēdmi|
6 wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.
sō'tra nāsti, yathāvadat tathōtthitavān; ētat prabhōḥ śayanasthānaṁ paśyata|
7 Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
tūrṇaṁ gatvā tacchiṣyān iti vadata, sa śmaśānād udatiṣṭhat, yuṣmākamagrē gālīlaṁ yāsyati yūyaṁ tatra taṁ vīkṣiṣyadhvē, paśyatāhaṁ vārttāmimāṁ yuṣmānavādiṣaṁ|
8 Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be.
tatastā bhayāt mahānandāñca śmaśānāt tūrṇaṁ bahirbhūya tacchiṣyān vārttāṁ vaktuṁ dhāvitavatyaḥ| kintu śiṣyān vārttāṁ vaktuṁ yānti, tadā yīśu rdarśanaṁ dattvā tā jagāda,
9 Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza.
yuṣmākaṁ kalyāṇaṁ bhūyāt, tatastā āgatya tatpādayōḥ patitvā praṇēmuḥ|
10 Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
yīśustā avādīt, mā bibhīta, yūyaṁ gatvā mama bhrātr̥n gālīlaṁ yātuṁ vadata, tatra tē māṁ drakṣyanti|
11 Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo.
striyō gacchanti, tadā rakṣiṇāṁ kēcit puraṁ gatvā yadyad ghaṭitaṁ tatsarvvaṁ pradhānayājakān jñāpitavantaḥ|
12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi.
tē prācīnaiḥ samaṁ saṁsadaṁ kr̥tvā mantrayantō bahumudrāḥ sēnābhyō dattvāvadan,
13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.”
asmāsu nidritēṣu tacchiṣyā yāminyāmāgatya taṁ hr̥tvānayan, iti yūyaṁ pracārayata|
14 Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.”
yadyētadadhipatēḥ śrōtragōcarībhavēt, tarhi taṁ bōdhayitvā yuṣmānaviṣyāmaḥ|
15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
tatastē mudrā gr̥hītvā śikṣānurūpaṁ karmma cakruḥ, yihūdīyānāṁ madhyē tasyādyāpi kiṁvadantī vidyatē|
16 Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.
ēkādaśa śiṣyā yīśunirūpitāgālīlasyādriṁ gatvā
17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa!
tatra taṁ saṁvīkṣya praṇēmuḥ, kintu kēcit sandigdhavantaḥ|
18 Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
yīśustēṣāṁ samīpamāgatya vyāhr̥tavān, svargamēdinyōḥ sarvvādhipatitvabhārō mayyarpita āstē|
19 Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.
atō yūyaṁ prayāya sarvvadēśīyān śiṣyān kr̥tvā pituḥ putrasya pavitrasyātmanaśca nāmnā tānavagāhayata; ahaṁ yuṣmān yadyadādiśaṁ tadapi pālayituṁ tānupādiśata|
20 Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.” (aiōn g165)
paśyata, jagadantaṁ yāvat sadāhaṁ yuṣmābhiḥ sākaṁ tiṣṭhāmi| iti| (aiōn g165)

< Matayo 28 >