< Matayo 27 >

1 Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu.
到了早晨,众祭司长和民间的长老大家商议要治死耶稣,
2 Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.
就把他捆绑,解去,交给巡抚彼拉多。
3 Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya,
这时候,卖耶稣的犹大看见耶稣已经定了罪,就后悔,把那三十块钱拿回来给祭司长和长老,说:
4 ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”
“我卖了无辜之人的血是有罪了。”他们说:“那与我们有什么相干?你自己承当吧!”
5 Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga!
犹大就把那银钱丢在殿里,出去吊死了。
6 Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.”
祭司长拾起银钱来,说:“这是血价,不可放在库里。”
7 Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira.
他们商议,就用那银钱买了窑户的一块田,为要埋葬外乡人。
8 Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro y’Omusaayi” n’okutuusa leero.
所以那块田直到今日还叫做“血田”。
9 Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula,
这就应了先知耶利米的话,说:“他们用那三十块钱,就是被估定之人的价钱,是以色列人中所估定的,
10 ne bagulamu ennimiro eyali ey’ababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”
买了窑户的一块田;这是照着主所吩咐我的。”
11 Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”
耶稣站在巡抚面前;巡抚问他说:“你是犹太人的王吗?”耶稣说:“你说的是。”
12 Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula.
他被祭司长和长老控告的时候,什么都不回答。
13 Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?”
彼拉多就对他说:“他们作见证告你这么多的事,你没有听见吗?”
14 Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.
耶稣仍不回答,连一句话也不说,以致巡抚甚觉希奇。
15 Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga.
巡抚有一个常例,每逢这节期,随众人所要的释放一个囚犯给他们。
16 Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba.
当时有一个出名的囚犯叫巴拉巴。
17 Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”
众人聚集的时候,彼拉多就对他们说:“你们要我释放哪一个给你们?是巴拉巴呢?是称为基督的耶稣呢?”
18 Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.
巡抚原知道他们是因为嫉妒才把他解了来。
19 Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”
正坐堂的时候,他的夫人打发人来说:“这义人的事,你一点不可管,因为我今天在梦中为他受了许多的苦。”
20 Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.
祭司长和长老挑唆众人,求释放巴拉巴,除灭耶稣。
21 Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”
巡抚对众人说:“这两个人,你们要我释放哪一个给你们呢?”他们说:“巴拉巴。”
22 Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”
彼拉多说:“这样,那称为基督的耶稣我怎么办他呢?”他们都说:“把他钉十字架!”
23 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”
巡抚说:“为什么呢?他做了什么恶事呢?”他们便极力地喊着说:“把他钉十字架!”
24 Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”
彼拉多见说也无济于事,反要生乱,就拿水在众人面前洗手,说:“流这义人的血,罪不在我,你们承当吧。”
25 Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”
众人都回答说:“他的血归到我们和我们的子孙身上。”
26 Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere.
于是彼拉多释放巴拉巴给他们,把耶稣鞭打了,交给人钉十字架。
27 Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna.
巡抚的兵就把耶稣带进衙门,叫全营的兵都聚集在他那里。
28 Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu,
他们给他脱了衣服,穿上一件朱红色袍子,
29 ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!”
用荆棘编做冠冕,戴在他头上,拿一根苇子放在他右手里,跪在他面前,戏弄他,说:“恭喜,犹太人的王啊!”
30 Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe.
又吐唾沫在他脸上,拿苇子打他的头。
31 Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.
戏弄完了,就给他脱了袍子,仍穿上他自己的衣服,带他出去,要钉十字架。
32 Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
他们出来的时候,遇见一个古利奈人,名叫西门,就勉强他同去,好背着耶稣的十字架。
33 Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,”
到了一个地方名叫各各他,意思就是“髑髅地”。
34 ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana.
兵丁拿苦胆调和的酒给耶稣喝;他尝了,就不肯喝。
35 Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
他们既将他钉在十字架上,就拈阄分他的衣服,
36 Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma.
又坐在那里看守他。
37 Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”
在他头以上安一个牌子,写着他的罪状,说:“这是犹太人的王耶稣。”
38 Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono.
当时,有两个强盗和他同钉十字架,一个在右边,一个在左边。
39 Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe
从那里经过的人讥诮他,摇着头,说:
40 nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”
“你这拆毁圣殿、三日又建造起来的,可以救自己吧!你如果是 神的儿子,就从十字架上下来吧!”
41 Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti,
祭司长和文士并长老也是这样戏弄他,说:
42 “Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!
“他救了别人,不能救自己。他是以色列的王,现在可以从十字架上下来,我们就信他。
43 Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’”
他倚靠 神, 神若喜悦他,现在可以救他;因为他曾说:‘我是 神的儿子。’”
44 N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.
那和他同钉的强盗也是这样地讥诮他。
45 Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza.
从午正到申初,遍地都黑暗了。
46 Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
约在申初,耶稣大声喊着说:“以利!以利!拉马撒巴各大尼?”就是说:“我的 神!我的 神!为什么离弃我?”
47 Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
站在那里的人,有的听见就说:“这个人呼叫以利亚呢!”
48 Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko.
内中有一个人赶紧跑去,拿海绒蘸满了醋,绑在苇子上,送给他喝。
49 Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”
其余的人说:“且等着,看以利亚来救他不来。”
50 Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.
耶稣又大声喊叫,气就断了。
51 Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika.
忽然,殿里的幔子从上到下裂为两半,地也震动,磐石也崩裂,
52 Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira,
坟墓也开了,已睡圣徒的身体多有起来的。
53 era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.
到耶稣复活以后,他们从坟墓里出来,进了圣城,向许多人显现。
54 Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”
百夫长和一同看守耶稣的人看见地震并所经历的事,就极其害怕,说:“这真是 神的儿子了!”
55 Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso.
有好些妇女在那里,远远地观看;她们是从加利利跟随耶稣来服事他的。
56 Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.
内中有抹大拉的马利亚,又有雅各和约西的母亲马利亚,并有西庇太两个儿子的母亲。
57 Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu.
到了晚上,有一个财主,名叫约瑟,是亚利马太来的,他也是耶稣的门徒。
58 N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe.
这人去见彼拉多,求耶稣的身体;彼拉多就吩咐给他。
59 Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena,
约瑟取了身体,用干净细麻布裹好,
60 n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira.
安放在自己的新坟墓里,就是他凿在磐石里的。他又把大石头滚到墓门口,就去了。
61 Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.
有抹大拉的马利亚和那个马利亚在那里,对着坟墓坐着。
62 Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato,
次日,就是预备日的第二天,祭司长和法利赛人聚集来见彼拉多,说:
63 ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’
“大人,我们记得那诱惑人的还活着的时候曾说:‘三日后我要复活。’
64 Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”
因此,请吩咐人将坟墓把守妥当,直到第三日,恐怕他的门徒来,把他偷了去,就告诉百姓说:‘他从死里复活了。’这样,那后来的迷惑比先前的更利害了!”
65 Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.”
彼拉多说:“你们有看守的兵,去吧!尽你们所能的把守妥当。”
66 Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.
他们就带着看守的兵同去,封了石头,将坟墓把守妥当。

< Matayo 27 >