< Matayo 26 >

1 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti,
Cuando Jesús terminó estas palabras, dijo a sus discípulos:
2 “Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
Ustedes saben que dentro de dos días se celebra la Pascua, y el Hijo del Hombre será entregado para ser crucificado.
3 Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu,
Entonces los principales sacerdotes y los ancianos del pueblo se reunieron en el patio del sumo sacerdote Caifás
4 nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte.
y conspiraron para apresar a Jesús con engaño y matarlo.
5 Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
Pero decían: No durante la fiesta, para que no haya alboroto en el pueblo.
6 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya,
Jesús estaba en casa de Simón el leproso en Betania.
7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
Se acercó una mujer que tenía un frasco de alabastro con un perfume muy costoso, y lo derramó sobre la cabeza de Jesús mientras estaba reclinado.
8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo!
Cuando los discípulos vieron [esto ]se indignaron y dijeron: ¿Para qué este derroche?
9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
Pues esto se podría vender por mucho para dar a [los] pobres.
10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi.
Jesús les preguntó: ¿Por qué molestan a la mujer? Pues me hizo buena obra,
11 Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
porque siempre tienen con ustedes a los pobres, pero a Mí no me tienen siempre.
12 Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika.
Al derramar este perfume sobre mi cuerpo, me preparó para ser sepultado.
13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
En verdad les digo: En cualquier parte del mundo donde se proclamen estas Buenas Noticias también se dirá lo que hizo en memoria de ella.
14 Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu.
Entonces uno de los 12, Judas Iscariote, fue a los principales sacerdotes
15 N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
y les preguntó: ¿Qué me dan si yo se lo entrego? Y ellos le pesaron 30 piezas de plata.
16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
Desde entonces buscaba una oportunidad para entregarlo.
17 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”
El primer día de la fiesta de los Panes sin Levadura, los discípulos preguntaron a Jesús: ¿Dónde quieres que preparemos para comer la pascua?
18 Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’”
Y Él contestó: Vayan a la ciudad, a casa de un hombre y díganle: El Maestro dice: Mi tiempo está cerca. En tu casa celebro la Pascua con mis discípulos.
19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.
Los discípulos hicieron como Jesús les ordenó, y prepararon la pascua.
20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde
Cuando llegó la tarde, se reclinó a la mesa con los 12.
21 ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
Mientras comían, [Jesús] dijo: En verdad les digo que uno de ustedes me entregará.
22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
Ellos, profundamente entristecidos, comenzaron a preguntarle, uno por uno: ¿Soy yo, Señor?
23 Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo.
Él respondió: El que mete la mano conmigo en el plato me entregará.
24 Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”
En verdad, el Hijo del Hombre avanza según lo que está escrito de Él, pero ¡ay de aquel hombre por el cual el Hijo del Hombre es entregado! Bueno le fuera a ese hombre no haber nacido.
25 Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
Entonces Judas, el que lo iba a entregar, preguntó: ¿Soy yo, Maestro? Le respondió: Tú [lo] dijiste.
26 Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”
Mientras comían, Jesús tomó un pan, dio gracias, partió y al dar a los discípulos dijo: Tomen, coman. Esto es mi cuerpo.
27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna,
Tomó una copa, dio gracias, les dio y dijo: Beban de ella todos.
28 kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
Esto es la sangre del Pacto, la cual se derrama por muchos para perdón de pecados.
29 Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”
Y les digo: Que de ningún modo beba de este fruto de la vid desde ahora hasta aquel día cuando beba nuevo [vino] con ustedes en el reino de mi Padre.
30 Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
Después de cantar un himno, salieron hacia la Montaña de Los Olivos.
31 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. “Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’
Entonces Jesús les dijo: Esta noche todos ustedes serán conturbados a causa de Mí, porque está escrito: Heriré al Pastor y las ovejas del rebaño serán dispersadas.
32 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
Pero después que Yo sea resucitado, iré delante de ustedes a Galilea.
33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”
Pedro respondió: Aunque todos sean conturbados por causa de Ti, yo nunca seré conturbado.
34 Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.”
Jesús le dijo: En verdad te digo que esta noche, antes que un gallo cante, me negarás tres veces.
35 Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Pedro le respondió: Aunque tenga que morir contigo, de ningún modo te negaré. Y todos los discípulos dijeron lo mismo.
36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.”
Entonces Jesús llegó con ellos a un lugar llamado Getsemaní y dijo a los discípulos: Siéntense aquí, mientras voy allí y hablo con Dios.
37 N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo.
Se llevó a Pedro y a los dos hijos de Zebedeo, y comenzó a entristecerse y angustiarse.
38 N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
Les dijo: Mi alma está muy afligida hasta la muerte. ¡Quédense aquí y velen conmigo!
39 N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
Fue un poco más adelante, se postró sobre su rostro y habló con Dios: ¡Padre mío, si es posible pase de Mí esta copa! Pero no como Yo quiero, sino como Tú [quieras].
40 N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu?
Luego regresó a los discípulos y los halló dormidos, y dijo a Pedro: ¿Así que no pudieron velar conmigo una hora?
41 Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
Velen y hablen con Dios para que no entren en tentación. En verdad, el espíritu está dispuesto, pero el cuerpo es débil.
42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
Fue de nuevo y habló con Dios por segunda vez: ¡Padre mío, si esto no puede pasar sin que lo beba, sea hecha tu voluntad!
43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo.
Al regresar, los halló otra vez dormidos, porque sus ojos estaban cargados [de sueño].
44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
Nuevamente los dejó, fue y habló con Dios por tercera vez, y dijo las mismas palabras.
45 Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
Luego fue a los discípulos y les dijo: Duerman lo que resta y descansen. Miren, la hora llegó y el Hijo del Hombre es entregado en manos de pecadores.
46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”
Levántense, vamos. Miren, se acerca el que me entrega.
47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya.
Mientras hablaba llegó Judas, uno de los 12, acompañado por mucha gente con espadas y garrotes de parte de los sacerdotes y ancianos del pueblo.
48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata.
El que lo entregaba les dio una señal: Al que [yo] bese, Él es. Arréstenlo.
49 Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
Enseguida, al acercarse a Jesús, dijo: ¡Te saludo, Maestro! Y lo besó ostentosamente.
50 Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.” Awo abalala ne bakwata Yesu.
Jesús le dijo: ¡Compañero, a lo que vienes! Entonces se acercaron, pusieron las manos sobre Jesús y lo arrestaron.
51 Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
Pero uno de los que estaban con Jesús, sacó su espada, atacó al esclavo del sumo sacerdote y le amputó la oreja.
52 Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala.
Entonces Jesús le dijo: Vuelve tu espada a su lugar, porque todos los que toman espada, a espada perecerán.
53 Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?
¿O piensas que no puedo invocar a mi Padre, y ahora mismo pondría a mi disposición más de 12 legiones de ángeles?
54 Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”
Pero entonces, ¿cómo se cumplirían las Escrituras las cuales dicen que así debe suceder?
55 Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.
En aquella hora Jesús dijo a la muchedumbre: ¿Como contra un bandido salieron ustedes a arrestarme con espadas y garrotes? Cada día me sentaba y enseñaba en el Templo, y no me arrestaron.
56 Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
Pero todo esto sucedió para que se cumplieran las Escrituras de los profetas. Entonces todos los discípulos lo abandonaron y huyeron.
57 Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde.
Los que arrestaron a Jesús lo llevaron ante el sumo sacerdote Caifás, donde estaban reunidos los escribas y los ancianos.
58 Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo.
Pedro lo seguía de lejos, hasta el patio del sumo sacerdote. Después de entrar, se sentó con los guardianes para ver el fin.
59 Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa.
Los principales sacerdotes y todo el Tribunal Supremo buscaban un falso testimonio contra Jesús para matarlo.
60 Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri
Pero, aunque se presentaron muchos testigos falsos, no [lo] hallaron. Finalmente, al presentarse dos,
61 abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’”
dijeron: Éste dijo: Puedo derribar el Santuario de Dios y reconstruirlo en tres días.
62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?”
Entonces el sumo sacerdote se levantó y le preguntó: ¿Nada respondes a lo que testifican estos contra ti?
63 Naye Yesu n’asirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
Pero Jesús callaba. Entonces el sumo sacerdote le dijo: ¡Te conjuro por el Dios viviente que nos digas si Tú eres el Cristo, el Hijo de Dios!
64 Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.”
Jesús le contestó: Tú mismo lo dijiste. Y además les digo: Desde ahora verán ustedes al Hijo del Hombre sentado a la mano derecha del Poder, y que viene sobre las nubes del cielo.
65 Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera!
Entonces el sumo sacerdote rasgó sus ropas y dijo: ¡Blasfemó! ¿Qué necesidad tenemos aún de testigos? ¡Ahora mismo ustedes oyeron la blasfemia!
66 Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”
¿Cómo les parece? Ellos respondieron: ¡Es reo de muerte!
67 Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi,
Entonces lo escupieron en el rostro y le dieron puñetazos. Otros le dieron bofetadas
68 nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
y decían: ¡Profetízanos, Cristo! ¿Quién es el que te golpeó?
69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
Pedro estaba sentado afuera en el patio. Se le acercó una esclava y [le] dijo: ¡Tú también estabas con Jesús el galileo!
70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”
Pero él negó delante de todos: ¡No sé [de] qué hablas!
71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
Al salir a la puerta, otra lo vio y dijo a los que estaban allí: ¡Éste estaba con Jesús nazareno!
72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”
Otra vez negó con juramento: ¡No conozco al Hombre!
73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
Después, se acercaron los que estaban por ahí y dijeron a Pedro: En verdad tú también eres de ellos, porque hasta tu manera de hablar te delata.
74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
Entonces comenzó a maldecir y a jurar: ¡No conozco a ese Hombre! Enseguida un gallo cantó.
75 Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.
Pedro se acordó de la Palabra de Jesús, Quien le dijo: Antes que un gallo cante, me negarás tres veces. Y salió afuera y lloró amargamente.

< Matayo 26 >