< Matayo 25 >

1 “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.
Then the kingdom of heaven will be like ten virgins, who took their lamps, and went out to meet the bridegroom.
2 Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi.
And five of them were foolish, and five wise.
3 Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe.
For the foolish took their lamps, and took no oil with them.
4 Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe.
But the wise took oil in their vessels with their lamps.
5 Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.
And as the bridegroom tarried, they all slumbered and slept.
6 “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’
But at midnight there was a cry, Lo! the bridegroom! go out to meet him.
7 “Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe.
Then all those virgins arose, and trimmed their lamps.
8 Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’
And the foolish said to the wise, Give us of your oil, for our lamps are going out.
9 “Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’
But the wise answered, saying, Perhaps there will not be enough for us and you; go rather to those who sell, and buy for yourselves.
10 “Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo.
And while they went to buy, the bridegroom came; and they who were ready went in with him to the wedding; and the door was shut.
11 Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’
Afterward came also the other virgins, saying, Lord, lord, open to us.
12 Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’
But he answering said, Truly do I say to you, I know you not,
13 “Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”
Watch, therefore, for ye know not the day nor the hour.
14 “Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye.
For it will be as when a man going abroad called his own servants, and intrusted to them his property;
15 Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira.
and to one he gave five talents, to another two, and to another one, to each according to his ability, and went abroad.
16 Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala.
He that had received the five talents went immediately and traded with the same, and gained five talents more.
17 N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri.
In like manner, he that had received the two gained two more.
18 Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.
But he that had received the one went and dug in the earth, and hid his lord's money.
19 “Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera.
And after a long time the lord of those servants cometh, and reckoneth with them.
20 Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’
And he that had received the five talents came and brought five talents more, saying, Lord, thou intrustedst to me five talents; see, I have gained five talents more.
21 “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
His lord said to him, Well done, good and faithful servant! thou hast been faithful over a little, I will place thee in charge of much; enter into the joy of thy lord.
22 “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’
He also that had received the two talents came and said, Lord, thou intrustedst to me two talents; see, I have gained two talents more.
23 “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’
His lord said to him, Well done, good and faithful servant! thou hast been faithful over a little, I will place thee in charge of much; enter into the joy of thy lord.
24 “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza.
Then he also that had received the one talent came and said, Lord, I knew thee to be a hard man, reaping where thou didst not sow, and gathering where thou didst not scatter seed;
25 Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’
and I was afraid, and went and hid thy talent in the earth. See! thou hast thine own.
26 “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira,
But his lord answered and said to him, Wicked and slothful servant! Didst thou know that I reap where I sowed not, and gather where I did not scatter seed?
27 wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’
Thou oughtest then to have put my money with the money-dealers, and on my coming I should have received mine own with interest.
28 “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi.
Take therefore the talent from him, and give it to him who hath the ten talents.
29 Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako.
For to every one that hath will be given, and he will have abundance; but from him that hath not, even that which he hath will be taken away.
30 N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
And cast out the unprofitable servant into the outer darkness; there will be wailing and gnashing of teeth.
31 “Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye.
And when the Son of man shall come in his glory, and all the angels with him, then will he sit on the throne of his glory,
32 Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi.
and before him will be gathered all the nations; and he will separate men one from another, as a shepherd separateth the sheep from the goats;
33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.
and he will set the sheep on his right hand, and the goats on the left.
34 “Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.
Then will the king say to those on his right hand, Come, ye blessed by my Father, inherit the kingdom prepared for you from the foundation of the world.
35 Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza,
For I was hungry, and ye gave me food; I was thirsty, and ye gave me drink; I was a stranger, and ye took me in;
36 nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’
naked, and ye clothed me; I was sick, and ye visited me; I was in prison, and ye came to me.
37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa?
Then will the righteous answer him, saying, Lord, when saw we thee hungry, and fed thee? or thirsty, and gave thee drink?
38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza?
and when saw we thee a stranger, and took thee in? or naked, and clothed thee?
39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’
or when did we see thee sick, or in prison, and come to thee?
40 “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
And the king will answer and say to them, Truly do I say to you, Inasmuch as ye did it to one of the least of these my brethren, ye did it to me.
41 “Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. (aiōnios g166)
Then will he say also to those on the left hand, Depart from me, ye cursed, into the everlasting fire, which is prepared for the Devil and his angels. (aiōnios g166)
42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa,
For I was hungry, and ye gave me no food; I was thirsty, and ye gave me no drink;
43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’
I was a stranger, and ye took me not in; naked, and ye clothed me not; sick, and in prison, and ye visited me not.
44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
Then will they also answer, saying, Lord, when saw we thee hungry, or thirsty, or a stranger, or naked, or sick, or in prison, and did not minister to thee?
45 “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
Then will he answer them, saying, Truly do I say to you, Inasmuch as ye did it not to one of the least of these, ye did it not to me.
46 “Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.” (aiōnios g166)
And these will go away into everlasting punishment; but the righteous into everlasting life. (aiōnios g166)

< Matayo 25 >