< Matayo 24 >
1 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu,
Jesús salió del templo y siguió su camino. Sus discípulos se acercaron a él para mostrarle los edificios del templo.
2 naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”
Pero él les respondió: “¿Veis todo esto, verdad? Os aseguro que no quedará aquí una piedra sobre otra que no sea derribada”.
3 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?” (aiōn )
Mientras estaba sentado en el Monte de los Olivos, los discípulos se acercaron a él en privado, diciendo: “Dinos, ¿cuándo serán estas cosas? ¿Cuál es la señal de tu venida y del fin de los tiempos?” (aiōn )
4 Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba.
Jesús les contestó: “Tened cuidado de que nadie os engañe.
5 Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.
Porque vendrán muchos en mi nombre, diciendo: “Yo soy el Cristo”, y engañarán a muchos.
6 Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
Oiréis hablar de guerras y rumores de guerras. Mirad que no os turbéis, porque es necesario que todo esto ocurra, pero aún no es el fin.
7 Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi.
Porque se levantará nación contra nación, y reino contra reino; y habrá hambres, plagas y terremotos en diversos lugares.
8 Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”
Pero todas estas cosas son el principio de los dolores de parto.
9 “Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.
“Entonces te entregarán a la tribulación y te matarán. Seréis odiados por todas las naciones por causa de mi nombre.
10 Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana.
Entonces muchos tropezarán, se entregarán unos a otros y se odiarán.
11 Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi.
Se levantarán muchos falsos profetas y llevarán a muchos por el mal camino.
12 Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.
Porque se multiplicará la iniquidad, el amor de muchos se enfriará.
13 Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.
Pero el que aguante hasta el final se salvará.
14 Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”
Esta Buena Nueva del Reino será predicada en todo el mundo para testimonio de todas las naciones, y entonces vendrá el fin.
15 “Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere,
“Por tanto, cuando veáis la abominación de la desolación, de la que se habló por medio del profeta Daniel, de pie en el lugar santo (que el lector entienda),
16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.
entonces los que estén en Judea huyan a las montañas.
17 Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu.
Que el que esté en la azotea no baje a sacar las cosas que están en su casa.
18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe.
Que el que esté en el campo no regrese a buscar su ropa.
19 Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
Pero ¡ay de las que estén embarazadas y de las madres lactantes en esos días!
20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti.
Rogad que vuestra huida no sea en invierno ni en sábado,
21 Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.
porque entonces habrá un gran sufrimiento, como no lo ha habido desde el principio del mundo hasta ahora, ni lo habrá jamás.
22 Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.
Si no se acortaran esos días, ninguna carne se habría salvado. Pero por el bien de los elegidos, esos días serán acortados.
23 Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga.
“Entonces, si alguien les dice: ‘He aquí el Cristo’ o ‘Allí’, no lo crean.
24 Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda.
Porque se levantarán falsos cristos y falsos profetas, y harán grandes señales y prodigios, para extraviar, si es posible, incluso a los elegidos.
25 Laba mbalabudde nga bukyali!”
“He aquí que os lo he dicho de antemano.
26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga.
“Por tanto, si os dicen: ‘He aquí que está en el desierto’, no salgáis; o ‘He aquí que está en las habitaciones interiores’, no lo creáis.
27 Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo.
Porque como el rayo que sale del oriente y se ve hasta el occidente, así será la venida del Hijo del Hombre.
28 Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”
Porque donde está el cadáver, allí se reúnen los buitres.
29 “Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa “kw’omu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era n’omwezi teguliyaka, n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’”
“Pero inmediatamente después la tribulación de esos días, el sol se oscurecerá, la luna no dará su luz, las estrellas caerán del cielo y las potencias de los cielos serán sacudidas;
30 “Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.
y entonces aparecerá en el cielo la señal del Hijo del Hombre. Entonces todas las tribus de la tierra se lamentarán, y verán al Hijo del Hombre venir sobre las nubes del cielo con poder y gran gloria.
31 Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
Enviará a sus ángeles con gran sonido de trompeta, y reunirán a sus elegidos de los cuatro vientos, desde un extremo del cielo hasta el otro.
32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
“Aprended ahora de la higuera esta parábola: Cuando su rama ya está tierna y produce sus hojas, sabéis que el verano está cerca.
33 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
Así también vosotros, cuando veáis todas estas cosas, sabed que está cerca, incluso a las puertas.
34 Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
De cierto os digo que no pasará esta generación hasta que se cumplan todas estas cosas.
35 Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
El cielo y la tierra pasarán, pero mis palabras no pasarán.
36 “Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.
“Pero nadie sabe de ese día y de esa hora, ni siquiera los ángeles del cielo, sino sólo mi Padre.
37 Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba.
Como los días de Noé, así será la venida del Hijo del Hombre.
38 Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato,
Porque como en los días anteriores al diluvio estaban comiendo y bebiendo, casándose y dando en matrimonio, hasta el día en que Noé entró en la nave,
39 abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera.
y no lo supieron hasta que vino el diluvio y se los llevó a todos, así será la venida del Hijo del Hombre.
40 Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.
Entonces dos hombres estarán en el campo: uno será tomado y otro será dejado.
41 Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”
Dos mujeres estarán moliendo en el molino: una será tomada y la otra será dejada.
42 “Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi.
Velad, pues, porque no sabéis a qué hora vendrá vuestro Señor.
43 Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira.
Pero sabed esto, que si el dueño de la casa hubiera sabido a qué hora de la noche iba a venir el ladrón, habría velado y no habría permitido que entraran en su casa.
44 Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
Por tanto, estad también preparados, porque a una hora que no esperáis, vendrá el Hijo del Hombre.
45 “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu?
“¿Quién es, pues, el siervo fiel y prudente al que su señor ha puesto al frente de su casa para que les dé el alimento a su debido tiempo?
46 Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo.
Dichoso aquel siervo al que su señor encuentre haciendo eso cuando venga.
47 Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna.
Ciertamente os digo que lo pondrá sobre todo lo que tiene.
48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’
Pero si ese siervo malo dice en su corazón: “Mi señor se demora en venir”,
49 n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda.
y comienza a golpear a sus consiervos, y a comer y beber con los borrachos,
50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi,
el señor de ese siervo vendrá en un día en que no lo espera y en una hora en que no lo sabe,
51 alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
y lo despedazará y pondrá su parte con los hipócritas. Allí será el llanto y el rechinar de dientes.