< Matayo 23 >

1 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti,
Alors Jésus, s'adressant au peuple et à ses disciples, parla ainsi:
2 “Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa.
" Les Scribes et les Pharisiens sont assis dans la chaire de Moïse.
3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba.
Faites donc et observez tout ce qu'ils vous disent; mais n'imitez pas leurs œuvres, car ils disent et ne font pas.
4 Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
Ils lient des fardeaux pesants et difficiles à porter, et les mettent sur les épaules des hommes, mais ils ne veulent pas les remuer du doigt.
5 “Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawoomuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.
Ils font toutes leurs actions pour être vus des hommes, portant de plus larges phylactères et des houppes plus longues.
6 Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro.
Ils aiment la première place dans les festins, les premiers sièges dans les synagogues,
7 Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’
les salutations dans les places publiques, et à s'entendre appeler par les hommes Rabbi.
8 “Temweyitanga ‘Labbi,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda.
Pour vous, ne vous faites point appeler Rabbi; car vous n'avez qu'un seul Maître, et vous êtes tous frères.
9 Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.
Et ne donnez à personne sur la terre le nom de Père; car vous n'avez qu'un seul Père, celui qui est dans les cieux.
10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo.
Qu'on ne vous appelle pas non plus Maître; car vous n'avez qu'un Maître, le Christ.
11 Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe.
Le plus grand parmi vous sera votre serviteur.
12 Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
Mais quiconque s'élèvera sera abaissé, et quiconque s'abaissera sera élevé.
13 “Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, parce que vous fermez aux hommes le royaume des cieux! Vous n'y entrez pas vous-mêmes, et vous n'y laissez pas entrer ceux qui y viennent.
14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe.
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, parce que, sous le semblant de vos longues prières, vous dévorez les maisons des veuves! C'est pourquoi vous subirez une plus forte condamnation.
15 Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri. (Geenna g1067)
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, parce que vous courez les mers et la terre pour faire un prosélyte, et, quand il l'est devenu, vous faites de lui un fils de la géhenne, deux fois plus que vous! (Geenna g1067)
16 “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’
" Malheur à vous, guides aveugles, qui dites: Si un homme jure par le temple, ce n'est rien; mais s'il jure par l'or du temple, il est lié.
17 Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu?
Insensés et aveugles! lequel est le plus grand, l'or, ou le temple qui sanctifie l'or?
18 Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’
Et encore: Si un homme jure par l'autel, ce n'est rien; mais s'il jure par l'offrande qui est déposée sur l'autel, il est lié.
19 Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu?
Aveugles! lequel est le plus grand, l'offrande, ou l'autel qui sanctifie l'offrande?
20 Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna,
Celui donc qui jure par l'autel, jure par l'autel et par tout ce qui est dessus;
21 era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu.
et celui qui jure par le temple, jure par le temple et par celui qui y habite;
22 Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.
et celui qui jure par le ciel, jure par le trône de Dieu et par celui qui y est assis.
23 “Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira.
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, qui payez la dîme de la menthe, de l'aneth et du cumin, et qui négligez les points les plus graves de la Loi, la justice, la miséricorde et la bonne foi! Ce sont ces choses qu'il fallait pratiquer, sans omettre les autres.
24 Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!
Guides aveugles, qui filtrez le moucheron, et avalez le chameau!
25 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka.
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, parce que vous nettoyez le dehors de la coupe et du plat, tandis que le dedans est rempli de rapine et d'intempérance.
26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.
Pharisien aveugle, nettoie d'abord le dedans de la coupe et du plat, afin que le dehors aussi soit pur.
27 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu, songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri.
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, parce que vous ressemblez à des sépulcres blanchis, qui au dehors paraissent beaux, mais au dedans sont pleins d'ossements de morts et de toute sorte de pourriture.
28 Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.
Ainsi vous, au dehors, vous paraissez justes aux hommes, mais au dedans vous êtes pleins d'hypocrisie et d'iniquité.
29 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu,
" Malheur à vous, Scribes et Pharisiens hypocrites, qui bâtissez les tombeaux des prophètes et ornez les monuments des justes,
30 ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’
et qui dites: Si nous avions vécu aux jours de nos pères, nous n'aurions pas été leurs complices pour verser le sang des prophètes.
31 Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi.
Ainsi vous rendez contre vous-mêmes ce témoignage, que vous êtes les fils de ceux qui ont tué les prophètes.
32 Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.
Comblez donc la mesure de vos pères!
33 “Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? (Geenna g1067)
Serpents, race de vipères, comment éviterez-vous d'être condamnés à la géhenne? (Geenna g1067)
34 Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.
C'est pourquoi voici que je vous envoie des prophètes, des sages et des docteurs. Vous tuerez et crucifierez les uns, vous battrez de verges les autres dans vos synagogues, et vous les poursuivrez de ville en ville:
35 Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala.
afin que retombe sur vous tout le sang innocent répandu sur la terre, depuis le sang du juste Abel jusqu'au sang de Zacharie, fils de Barachie, que vous avez tué entre le temple et l'autel.
36 Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.
En vérité, je vous le dis, tout cela viendra sur cette génération.
37 “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana.
" Jérusalem, Jérusalem, qui tue les prophètes et lapides ceux qui lui sont envoyés! Que de fois j'ai voulu rassembler tes enfants, comme une poule rassemble ses poussins sous ses ailes, et vous ne l'avez pas voulu!
38 Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa.
Voici que votre maison vous est laissée solitaire.
39 Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”
Car, je vous le dis, vous ne me verrez plus désormais jusqu'à ce que vous disiez: " Béni soit celui qui vient au nom du Seigneur! "

< Matayo 23 >