< Matayo 20 >

1 Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
天國は勞動人を葡萄園に雇ふために、朝 早く出でたる主人のごとし。
2 N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
一日 一デナリの約束をなして、勞動人どもを葡萄園に遣す。
3 “Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola,
また九時ごろ出でて市場に空しく立つ者どもを見て、
4 nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’
「なんぢらも葡萄園に往け、相當のものを與へん」といへば、彼らも往く。
5 Ne bagenda. “Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu.
十二 時 頃と三時 頃とに復いでて前のごとくす。
6 Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
五 時 頃また出でしに、なほ立つ者どものあるを見ていふ「何ゆゑ終日ここに空しく立つか」
7 “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’
かれら言ふ「たれも我らを雇はぬ故なり」主人いふ「なんぢらも葡萄園に往け」
8 “Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.
夕になりて葡萄園の主人その家 司に言ふ「勞動人を呼びて、後の者より始め、先の者にまで賃銀をはらへ」
9 “Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu.
かくて五 時ごろに雇はれしもの來りて、おのおの一デナリを受く。
10 Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali.
先の者きたりて、多く受くるならんと思ひしに、之も亦おのおの一デナリを受く。
11 Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro
受けしとき、家主にむかひ呟きて言ふ、
12 nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’
「この後の者どもは僅に一 時間はたらきたるに、汝は一日の勞と暑さとを忍びたる我らと均しく之を遇へり」
13 “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu?
主人こたへて其の一人に言ふ「友よ、我なんぢに不正をなさず、汝は我と一デナリの約束をせしにあらずや。
14 Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde.
己が物を取りて往け、この後の者に汝とひとしく與ふるは、我が意なり。
15 Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’
わが物を我が意のままにするは可からずや、我よきが故に汝の目あしきか」
16 “Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
かくのごとく後なる者は先に、先なる者は後になるべし』
17 Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti,
イエス、エルサレムに上らんとし給ふとき、竊に十二 弟子を近づけて、途すがら言ひ給ふ、
18 “Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa.
『視よ、我らエルサレムに上る、人の子は祭司長・學者らに付されん。彼ら之を死に定め、
19 Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
また嘲弄し、鞭うち、十字架につけん爲に異邦人に付さん、かくて彼は三日めに甦へるべし』
20 Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.
ここにゼベダイの子らの母、その子らと共に御許にきたり、拜して何事か求めんとしたるに、
21 Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”
イエス彼に言ひたまふ『何を望むか』かれ言ふ『この我が二人の子が汝の御國にて、一人は汝の右に、一人は左に坐せんことを命じ給へ』
22 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”
イエス答へて言ひ給ふ『なんぢらは求むる所を知らず、我が飮まんとする酒杯を飮み得るか』かれら言ふ『得るなり』
23 N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”
イエス言ひたまふ『實に汝らは我が酒杯を飮むべし、されど我が右 左に坐することは、これ我の與ふべきものならず、我が父より備へられたる人こそ與へらるるなれ』
24 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
十 人の弟子これを聞き、二人の兄弟の事によりて憤ほる。
25 Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi.
イエス彼らを呼びて言ひたまふ『異邦人の君のその民を宰どり、大なる者の民の上に權を執ることは、汝らの知る所なり。
26 Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne.
汝らの中にては然らず、汝らの中に大ならんと思ふ者は、汝らの役者となり、
27 Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe.
首たらんと思ふ者は汝らの僕となるべし。
28 Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
かくのごとく、人の子の來れるも事へらるる爲にあらず、反つて事ふることをなし、又おほくの人の贖償として己が生命を與へん爲なり』
29 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera.
彼らエリコを出づるとき、大なる群衆イエスに從へり。
30 Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
視よ、二人の盲人、路の傍らに坐しをりしが、イエスの過ぎ給ふことを聞き、叫びて言ふ『主よ、ダビデの子よ、我らを憫みたまへ』
31 Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”
群衆かれらを禁めて默さしめんとしたれど、愈々 叫びて言ふ『主よ、ダビデの子よ、我らを憫み給へ』
32 Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”
イエス立ちどまり、彼らを呼びて言ひ給ふ『わが汝らに何を爲さんことを望むか』
33 Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”
彼ら言ふ『主よ、目の開かれんことなり』
34 Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.
イエスいたく憫みて彼らの目に觸り給へば、直ちに物 見ることを得て、イエスに從へり。

< Matayo 20 >