< Matayo 13 >
1 Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja.
2 Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama.
3 N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye.
4 Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5 Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu.
6 Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi.
7 Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala.
8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi.
9 Alina amatu agawulira, awulire.”
10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11 N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa.
12 Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina.
13 Kyenva njigiriza mu ngero: “Abalaba baleme okulaba, n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.
14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti, “‘Muliwulira naye temulitegeera n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 Kubanga omutima gw’abantu bano gwesibye, n’amatu gaabwe tegawulira bulungi. N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu, wadde omutima gwabwe okutegeera, ne bakyuka ne mbawonya.’
16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira.
17 Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
18 “Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo.
19 Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima.
20 Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu,
21 naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa.
22 N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. (aiōn )
23 Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”
24 N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye,
25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda.
26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.
27 “Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
28 “Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
29 “N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano.
30 Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’”
31 N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro.
32 Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
33 N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
34 Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero.
35 Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti, “Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.”
36 Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.
37 N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi.
38 Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani.
39 Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika. (aiōn )
40 “Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. (aiōn )
41 Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu,
42 babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji.
43 Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
44 “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwamu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
45 “Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo,
46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
47 “Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri,
48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula.
49 Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. (aiōn )
50 Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
53 Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo n’avaayo,
54 n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?”
55 Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda.
56 Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?”
57 Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”
58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.