< Matayo 10 >

1 Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.
And he called to him his twelve disciples, and gave them power over unclean spirits, to cast them out, and to heal every sickness and every disease.
2 Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano: Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero; ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;
Now the names of the twelve apostles are these: first, Simon, who is called Peter, and Andrew his brother, and James the son of Zebedee, and John his brother;
3 Firipo; ne Battolomaayo; ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo; ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;
Philip and Bartholomew; Thomas and Matthew the publican; James the son of Alphaeus, and Lebbaeus;
4 ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.
Simon of Cana, and Judas Iscariot, he who betrayed him.
5 Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya.
These twelve Jesus sent forth, when he had charged them, saying, Go not away to gentiles, and enter not any city of the Samaritans;
6 Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula.
but go rather to the lost sheep of the house of Israel.
7 Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’
And, as ye go, proclaim, saying, The kingdom of heaven is at hand.
8 Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
Heal the sick, raise the dead, cleanse lepers, cast out demons; freely ye received, freely give.
9 “Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe,
Provide neither gold, nor silver, nor brass, in your girdles;
10 wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba.
nor bag for the journey, nor two coats, nor sandals, nor a staff. For the laborer is worthy of his living.
11 Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
And into whatever city or town ye enter, inquire who in it is worthy; and there abide till ye leave the place.
12 Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe.
And as ye enter the house, salute it.
13 Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga.
And if the house be worthy, let your peace come upon it; but if it be not worthy, let your peace return to you.
14 Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufuey’oku bigere byammwe.
And whoever shall not receive you, nor hear your words, when ye go out of that house or city, shake off the dust from your feet.
15 Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.
Truly do I say to you, It will be more tolerable for the land of Sodom and Gomorrah in the day of judgment, than for that city.
16 “Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba.
Lo! I send you forth as sheep into the midst of wolves. Be therefore wise as serpents, and harmless as doves.
17 Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo.
But beware of men. For they will deliver you up to the councils, and they will scourge you in their synagogues;
18 Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga.
and ye will be brought before governors and kings for my sake, that ye may bear testimony to them and to the gentiles.
19 Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo.
But when they deliver you up, be not anxious as to how or What ye shall speak; for it will be given you in that hour what ye shall speak.
20 Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!
For it is not ye that speak, but the Spirit of your Father that speaketh in you.
21 “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta.
And brother will deliver up brother to death, and the father his child; and children will rise up against their parent, and put them to death;
22 Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.
and ye will be hated by all on account of my name. But he that endureth to the end will be saved.
23 Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.
And when they persecute you in one city, flee to another. For truly do I say to you, Ye will not have gone over the cities of Israel till the Son of man hath come.
24 “Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we.
A disciple is not above his teacher, nor a servant above his lord.
25 Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
It is enough for the disciple to be as his teacher, and the servant as his lord. If they have called the master of the house Beelzebul, how much more will they so call those of his household!
26 “Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa.
Fear them not therefore. For there is nothing covered that will not be revealed; and hid, that will not be known.
27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba.
What I say to you in darkness, speak ye in the light; and what ye hear in the ear, proclaim ye upon the housetops.
28 Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. (Geenna g1067)
And fear not those who kill the body, but are not able to kill the soul; but rather fear him who is able to destroy both soul and body in hell. (Geenna g1067)
29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi.
Are not two sparrows sold for a penny? and not one of them shall fall to the ground without your Father.
30 Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa.
But even the hairs of your head are all numbered.
31 Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
Fear not therefore; ye are of more value than many sparrows.
32 “Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
Every one therefore who shall acknowledge me before men, him will I also acknowledge before my Father who is in heaven.
33 Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
But whoever shall deny me before men, him will I also deny before my Father who is in heaven.
34 “Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.
Think not that I came to send peace on earth: I came not to send peace, but a sword.
35 Kubanga najja okwawukanya “‘omwana owoobulenzi ne kitaawe, n’omwana owoobuwala ne nnyina n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.
For I came to set a man at variance with his father, and a daughter with her mother, and a bride with her mother-in-law;
36 Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’
and they of a man's own household will be his foes.
37 “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira.
He that loveth father or mother more than me, is not worthy of me; and he that loveth son or daughter more than me, is not worthy of me;
38 N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira.
and he that doth not take his cross, and follow me, is not worthy of me.
39 Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
He that findeth his life will lose it; and he that loseth his life for my sake will find it.
40 “Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.
He that receiveth you, receiveth me; and he that receiveth me, receiveth him that sent me.
41 Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu.
He that receiveth a prophet because he is a prophet, will receive a prophet's reward, and he that receiveth a righteous man because he is a righteous man, will receive a righteous man's reward.
42 Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”
And whoever shall give to drink only a cup of cold water to one of these little ones because he is a disciple, truly do I say to you, he will by no means lose his reward.

< Matayo 10 >