< Makko 9 >
1 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”
Il leur disait encore: En vérité, je vous le dis, il y en a parmi ceux ici présents qui ne goûteront pas de la mort, qu’ils n’aient vu le royaume de Dieu venant dans sa puissance.
2 Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba,
Six jours après, Jésus prit Pierre, Jacques et Jean, et il les conduisit seuls à l’écart sur une haute montagne, et il fut transfiguré devant eux.
3 ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo!
Ses vêtements devinrent resplendissants et très blancs comme la neige, d’une blancheur telle, qu’aucun foulon sur la terre ne pourrait l’égaler.
4 Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!
Et Elie leur apparut avec Moïse; et ils s’entretenaient avec Jésus.
5 Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.”
Alors, prenant la parole, Pierre dit à Jésus: Maître, il nous est bon d’être ici. Faisons trois tentes, une pour vous, une pour Moïse, et une pour Elie.
6 Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.
Car il ne savait ce qu’il disait, parce qu’ils étaient saisis de crainte.
7 Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
Cependant il se fit une nuée qui les couvrit de son ombre; et il vint de la nuée une voix disant: Celui-ci est mon fils bien-aimé; écoutez-le.
8 Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.
Et aussitôt, regardant tout autour, ils ne virent plus personne, si ce n’est Jésus seul avec eux.
9 Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu.
Mais lorsqu’ils descendaient de la montagne, il leur commanda de ne raconter à personne ce qu’ils avaient vu, jusqu’à ce que le Fils de l’homme fût ressuscité d’entre les morts.
10 Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.
Et ils gardèrent cette parole en eux-mêmes, se demandant ce que voulait dire: Jusqu’à ce qu’il fût ressuscité d’entre les morts.
11 Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”
Et ils l’interrogeaient, disant: Pourquoi donc les pharisiens et les scribes disent-ils qu’il faut qu’Elie vienne auparavant?
12 Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa?
Jésus répondant, leur dit: Elie viendra auparavant, et il rétablira toutes choses; et, comme il est écrit du Fils de l’homme, il faudra qu’il souffre beaucoup et qu’il soit rejeté avec mépris.
13 Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”
Mais je vous dis qu’Elie est déjà venu (et ils lui ont fait tout ce qu’ils ont voulu), ainsi qu’il est écrit de lui.
14 Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo.
Et venant vers ses disciples, il vit une grande foule autour d’eux, et des scribes disputant avec eux.
15 Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.
Aussitôt tout le peuple apercevant Jésus, fut saisi d’étonnement et de frayeur; et, accourant, ils le saluaient.
16 Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?”
Alors il leur demanda: De quoi disputez-vous ensemble?
17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi.
Et un homme de la foule prenant la parole, dit: Maître, je vous ai amené mon fils, qui a en lui un esprit muet;
18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
Lequel, partout où il s’empare de lui, le brise contre terre, et l’enfant écume, grince des dents, et il se dessèche. J’ai dit à vos disciples de le chasser, mais ils ne l’ont pu.
19 Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”
Jésus, s’adressant à eux, dit: Ô race incrédule, jusqu’à quand serai-je avec vous? jusqu’à quand vous supporterai-je? Amenez-le-moi.
20 Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
Et ils le lui amenèrent. Or sitôt qu’il eut vu Jésus, l’esprit le tourmenta; et, brisé contre terre, il se roulait en écumant.
21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto.
Jésus demanda à son père: Combien y a-t-il de temps que cela lui arrive? Depuis son enfance, dit le père.
22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
Souvent il l’a jeté dans le feu et dans l’eau pour le faire périr; mais si vous pouvez quelque chose, ayez pitié de nous et secourez-nous.
23 Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
Jésus lui dit: Si tu peux croire, tout est possible à celui qui croit.
24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
Et aussitôt le père de l’enfant s’écria, disant avec larmes: Je crois, Seigneur; aidez mon incrédulité.
25 Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
Et Jésus voyant une foule qui accourait, menaça l’esprit impur, lui disant: Esprit sourd et muet, je te le commande, sors de cet enfant et n’y rentre plus.
26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde.
Et poussant un grand cri et le déchirant violemment, il sortit de l’enfant qui devint comme mort; de sorte que beaucoup disaient: Il est mort.
27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.
Mais Jésus, prenant sa main et le soulevant, il se leva.
28 Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”
Et lorsque Jésus fut entré dans une maison, ses disciples lui demandèrent en secret: Pourquoi, nous, n’avons-nous pu le chasser?
29 N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
Il leur dit: Ce genre de démons ne peut se chasser que par la prière et le jeûne.
30 Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya.
Etant partis de là, ils traversèrent la Galilée; et il ne voulait pas que personne le sût.
31 Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
Cependant il instruisait ses disciples, et leur disait: Le Fils de l’homme sera livré entre les mains des hommes, et ils le tueront, et le troisième jour après sa mort, il ressuscitera.
32 Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.
Mais ils ne comprenaient point cette parole, et ils craignaient de l’interroger.
33 Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
Ils vinrent ensuite à Capharnaüm; et, lorsqu’ils furent dans la maison, il leur demanda: Que discutiez-vous en chemin?
34 Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
Et ils se taisaient, parce que dans le chemin ils avaient disputé ensemble qui d’entre eux était le plus grand.
35 Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”
Et, s’étant assis, il appela les douze, et leur dit: Si quelqu’un veut être le premier, il sera le dernier de tous et le serviteur de tous.
36 N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti,
Puis, prenant un enfant, il le mit au milieu d’eux; et après l’avoir embrassé, il leur dit:
37 “Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
Quiconque reçoit en mon nom un petit enfant comme celui-ci, me reçoit; et quiconque me reçoit, reçoit non pas moi, mais celui qui m’a envoyé.
38 Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
Jean, prenant la parole, lui dit: Maître, nous avons vu quelqu’un qui chassait les démons en votre nom, et qui ne nous suit pas, et nous l’en avons empêché.
39 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi.
Mais Jésus leur répondit: Ne l’en empêchez point; car il n’y a personne qui fasse un miracle en mon nom, et qui puisse incontinent mal parler de moi;
40 Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe.
Car qui n’est pas contre vous, est pour vous.
41 Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
Et quiconque vous donnera un verre d’eau en mon nom, parce que vous êtes au Christ, en vérité, je vous le dis, il ne perdra point sa récompense.
42 “Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja.
Mais quiconque scandalisera un de ces petits qui croient en moi, il vaudrait mieux pour lui que l’on mît autour de son cou une meule de moulin, et qu’on le jetât dans la mer.
43 Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, (Geenna )
Que si votre main vous scandalise, coupez-la: il vaut mieux pour vous entrer dans la vie, privé d’une main, que d’aller, ayant deux mains, dans la géhenne du feu qui ne peut s’éteindre, (Geenna )
44 mu muliro ogutazikira.
Où leur ver ne meurt point, et leur feu ne s’éteint pas.
45 Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena (Geenna )
Et si votre pied vous scandalise, coupez-le: il vaut mieux pour vous entrer, privé d’un pied, dans la vie éternelle, que d’être jeté, ayant deux pieds, dans la géhenne du feu qui ne peut s’éteindre, (Geenna )
46 envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.
Où leur ver ne meurt point, et leur feu ne s’éteint pas.
47 Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, (Geenna )
Que si votre œil vous scandalise, arrachez-le: il vaut mieux pour vous entrer, privé d’un œil, dans le royaume de Dieu, que d’être jeté, ayant deux yeux, dans la géhenne du feu, (Geenna )
48 n’osuulibwa mu ggeyeena, “envunyu gye zitafa n’omuliro gye gutazikira.
Où leur ver ne meurt point, et leur feu ne s’éteint pas.
49 Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”
Car tous seront salés par le feu, comme toute victime doit être salée par le sel.
50 “Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”
Le sel est bon; mais si le sel perd sa vertu, avec quoi l’assaisonnerez-vous? Ayez du sel en vous, et conservez la paix entre vous.