< Makko 6 >
1 Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.
Und er zog von dannen und kam in seine Vaterstadt; und seine Jünger folgten ihm nach.
2 Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?”
Und als der Sabbat kam, fing er an in der Synagoge zu lehren; und die vielen, die zuhörten, erstaunten und sprachen: Woher kommt diesem solches? Und was ist das für eine Weisheit, die ihm gegeben ist, und geschehen solche Taten durch seine Hände?
3 Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
Ist er nicht der Zimmermann, der Sohn der Maria, der Bruder des Jakobus und Joses und Judas und Simon? Und sind nicht seine Schwestern hier bei uns? Und sie nahmen Anstoß an ihm.
4 Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.”
Jesus aber sprach zu ihnen: Ein Prophet ist nirgends verachtet außer in seiner Vaterstadt und bei seinen Verwandten und in seinem Hause.
5 Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya.
Und er konnte daselbst kein Wunder tun, außer daß er wenigen Kranken die Hände auflegte und sie heilte.
6 N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
Und er verwunderte sich wegen ihres Unglaubens und zog durch die Dörfer ringsumher und lehrte.
7 Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
Und er rief die Zwölf zu sich und fing an, sie je zwei und zwei auszusenden, und gab ihnen Macht über die unreinen Geister.
8 N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba.
Und er befahl ihnen, sie sollten nichts auf den Weg nehmen als nur einen Stab, keine Tasche, kein Brot, kein Geld im Gürtel,
9 Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.”
sondern nur Sandalen an den Füßen tragen und nicht zwei Röcke anziehen.
10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
Und er sprach zu ihnen: Wo ihr in ein Haus eintretet, da bleibet, bis ihr von dannen ziehet.
11 Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”
Und wenn ein Ort euch nicht aufnimmt und man euch nicht hören will, da zieht von dannen und schüttelt den Staub von euren Füßen, ihnen zum Zeugnis.
12 Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”
Und sie gingen und predigten, man solle Buße tun,
13 Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
und trieben viele Dämonen aus und salbten viele Kranke mit Öl und heilten sie.
14 Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”
Und der König Herodes hörte das (denn sein Name ward bekannt), und er sprach: Johannes der Täufer ist von den Toten auferstanden; darum wirken die Wunderkräfte durch ihn!
15 Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.” N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.”
Andere aber sprachen: Es ist Elia; wieder andere: Es ist ein Prophet oder wie einer der Propheten.
16 Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.”
Da es also Herodes hörte, sprach er: Es ist Johannes, den ich enthauptet habe; der ist [von den Toten] auferstanden!
17 Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza.
Denn er, Herodes, hatte ausgesandt und Johannes greifen und ihn im Gefängnis binden lassen, wegen Herodias, des Weibes seines Bruders Philippus, weil er sie zur Frau genommen hatte.
18 Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.”
Denn Johannes hatte zu Herodes gesagt: Es ist dir nicht erlaubt, deines Bruders Weib zu haben!
19 Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza.
Herodias aber stellte ihm nach und wollte ihn töten, und sie vermochte es nicht.
20 Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.
Denn Herodes fürchtete den Johannes, weil er wußte, daß er ein gerechter und heiliger Mann war, und er bewachte ihn und gehorchte ihm in manchem und hörte ihn gern.
21 Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya.
Als aber ein gelegener Tag kam, da Herodes seinen Großen und Obersten und den Vornehmsten des galiläischen Landes an seinem Geburtstag ein Gastmahl gab,
22 Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga. Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.”
da trat die Tochter der Herodias herein und tanzte. Das gefiel dem Herodes und denen, die mit ihm zu Tische saßen. Da sprach der König zu dem Mädchen: Erbitte von mir, was du willst, so will ich es dir geben!
23 Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!”
Und er schwur ihr: Was du auch von mir erbitten wirst, das will ich dir geben, bis zur Hälfte meines Königreichs.
24 Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
Da ging sie hinaus und sprach zu ihrer Mutter: Was soll ich erbitten? Diese aber sprach: Das Haupt Johannes des Täufers!
25 Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
Und alsbald ging sie eilends zum König hinein, bat und sprach: Ich will, daß du mir gäbest jetzt gleich auf einer Schüssel das Haupt Johannes des Täufers!
26 Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe.
Da ward der König sehr betrübt; doch um des Eides und um derer willen, die mit ihm zu Tische saßen, wollte er sie nicht abweisen.
27 Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe,
Und der König schickte alsbald einen von der Wache hin und befahl, sein Haupt zu bringen.
28 n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina.
Dieser ging hin und enthauptete ihn im Gefängnis und brachte sein Haupt auf einer Schüssel und gab es dem Mädchen, und das Mädchen gab es seiner Mutter.
29 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.
Und als seine Jünger es hörten, kamen sie und nahmen seinen Leichnam und legten ihn in ein Grab.
30 Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
Und die Apostel versammelten sich bei Jesus und verkündigten ihm alles, was sie getan und gelehrt hatten.
31 N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.
Und er sprach zu ihnen: Kommet ihr allein abseits an einen einsamen Ort und ruhet ein wenig! Denn es waren viele, die ab und zugingen, und sie hatten nicht einmal Zeit zu essen.
32 Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.
Und sie fuhren allein zu Schiff an einen einsamen Ort.
33 Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo.
Und viele sahen sie wegfahren und merkten es; und sie liefen aus allen Städten zu Fuß dort zusammen und kamen ihnen zuvor.
34 Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.
Und als Jesus ausstieg, sah er eine große Menge Volks und hatte Erbarmen mit ihnen; denn sie waren wie Schafe, die keinen Hirten haben; und er fing an, sie vieles zu lehren.
35 Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde.
Und als nun der Tag fast dahin war, traten seine Jünger zu ihm und sagten: Dieser Ort ist öde, und der Tag ist fast dahin.
36 Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”
Entlasse sie, damit sie in die Gehöfte und Dörfer ringsumher gehen und sich Brot kaufen; denn sie haben nichts zu essen.
37 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?”
Er aber antwortete und sprach zu ihnen: Gebet ihr ihnen zu essen! Und sie sprachen zu ihm: Sollen wir hingehen und für zweihundert Denare Brot kaufen und ihnen zu essen geben?
38 Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.”
Er aber sprach zu ihnen: Wie viele Brote habt ihr? Gehet hin und sehet! Und als sie es erkundigt hatten, sprachen sie: Fünf, und zwei Fische.
39 Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja.
Und er befahl ihnen, daß sich alle nach Tischgesellschaften ins grüne Gras setzen sollten.
40 Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi.
Und sie setzten sich gruppenweise, zu hundert und zu fünfzig.
41 Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna.
Und er nahm die fünf Brote und die zwei Fische, blickte zum Himmel empor und dankte, brach die Brote und gab sie seinen Jüngern, damit sie sie ihnen vorlegten; auch die zwei Fische teilte er unter alle.
42 Bonna ne balya ne bakkuta.
Und sie aßen alle und wurden satt.
43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri.
Und sie hoben auf an Brocken zwölf Körbe voll, und von den Fischen.
44 Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.
Und die, welche die Brote gegessen hatten, waren fünftausend Männer.
45 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu.
Und alsbald nötigte er seine Jünger, in das Schiff zu steigen und vor ihm ans jenseitige Ufer, nach Bethsaida, voraus zu fahren, bis er das Volk entlassen hätte.
46 Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.
Und nachdem er sie verabschiedet hatte, ging er auf einen Berg, um zu beten.
47 Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu,
Und als es Abend geworden, war das Schiff mitten auf dem Meere und er allein auf dem Lande.
48 n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako.
Und er sah, daß sie beim Rudern Not litten; denn der Wind war ihnen entgegen. Und um die vierte Nachtwache kommt er zu ihnen, auf dem Meere wandelnd; und er wollte bei ihnen vorübergehen.
49 Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu,
Als sie ihn aber auf dem Meere wandeln sahen, meinten sie, es sei ein Gespenst, und schrieen.
50 kubanga bonna baamulaba ne batya. Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.”
Denn sie sahen ihn alle und erschraken. Er aber redete alsbald mit ihnen und sprach: Seid getrost! Ich bin's; fürchtet euch nicht!
51 Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.
Und er stieg zu ihnen in das Schiff, und der Wind legte sich. Und sie erstaunten bei sich selbst über die Maßen und verwunderten sich.
52 Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
Denn sie waren nicht verständig geworden durch die Brote; denn ihr Herz war verhärtet.
53 Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti,
Und sie fuhren hinüber ans Land, kamen nach Genezareth und landeten dort.
54 ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo.
Und als sie aus dem Schiffe traten, erkannten die Leute ihn alsbald,
55 Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda.
durchliefen die ganze umliegende Landschaft und fingen an, die Kranken auf den Betten dorthin zu tragen, wo sie hörten, daß er sei.
56 Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.
Und wo er in Dörfer oder Städte oder Gehöfte einkehrte, da legten sie die Kranken auf die freien Plätze und baten ihn, daß sie nur den Saum seines Kleides anrühren dürften. Und so viele ihn anrührten, die wurden gesund.