< Makko 3 >

1 Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.
Uđe ponovno u sinagogu. Bio je ondje čovjek usahle ruke.
2 Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire.
A oni vrebahu hoće li ga Isus u subotu izliječiti, da ga optuže.
3 Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.”
On kaže čovjeku usahle ruke: “Stani na sredinu!”
4 N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu.
A njima će: “Je li subotom dopušteno činiti dobro ili činiti zlo, život spasiti ili pogubiti?” No oni su šutjeli.
5 Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona.
A on, ražalošćen okorjelošću srca njihova, srdito ih ošinu pogledom pa reče tom čovjeku: “Ispruži ruku!” On ispruži - i ruka mu zdrava!
6 Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
Farizeji iziđu i dadnu se odmah s herodovcima na vijećanje protiv njega kako da ga pogube.
7 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera.
Isus se s učenicima povuče k moru. Za njim je išao silan svijet iz Galileje. I iz Judeje,
8 N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali.
iz Jeruzalema, iz Idumeje, iz Transjordanije i iz okolice Tira i Sidona - silno je mnoštvo čulo što čini i nagrnulo k njemu.
9 Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza.
Stoga reče učenicima neka mu se zbog mnoštva pripravi lađica da ga ne bi zgnjeli.
10 Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe.
Jer mnoge je ozdravio pa su se svi koji bijahu pogođeni kakvim zlom bacali na nj da bi ga se dotakli.
11 Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”
A nečisti duhovi, čim bi ga spazili, padali bi preda nj i vikali: “Ti si Sin Božji!”
12 Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.
A on im se oštro prijetio da ga ne prokazuju.
13 Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali.
Uziđe na goru i pozove koje sam htjede. I dođoše k njemu.
14 N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira.
I ustanovi dvanaestoricu da budu s njime i da ih šalje propovijedati
15 N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
s vlašću da izgone đavle.
16 Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano: Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
Ustanovi dakle dvanaestoricu: Šimuna, kojemu nadjenu ime Petar,
17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
i Jakova Zebedejeva i Ivana, brata Jakovljeva, kojima nadjenu ime Boanerges, to jest Sinovi groma,
18 Andereya, ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo ne Saddayo, ne Simooni, Omukananaayo,
i Andriju i Filipa i Bartolomeja i Mateja i Tomu i Jakova Alfejeva i Tadeja i Šimuna Kananajca
19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
i Judu Iškariotskoga, koji ga izda.
20 Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya.
I dođe Isus u kuću. Opet se skupi toliko mnoštvo da nisu mogli ni jesti.
21 Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse.
Čuvši to, dođoše njegovi da ga obuzdaju jer se govorilo: “Izvan sebe je!”
22 Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”
I pismoznanci što siđoše iz Jeruzalema govorahu: “Beelzebula ima, po poglavici đavolskom izgoni đavle.”
23 Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani?
A on ih dozva pa im u prispodobama govoraše: “Kako može Sotona Sotonu izgoniti?
24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo.
Ako se kraljevstvo u sebi razdijeli, ono ne može opstati.
25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo.
Ili: ako se kuća u sebi razdijeli, ona ne može opstati.
26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka.
Ako je dakle Sotona sam na sebe ustao i razdijelio se, ne može opstati, nego mu je kraj.
27 Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye.
Nitko, dakako, ne može u kuću jakoga ući i oplijeniti mu pokućstvo ako prije jakoga ne sveže. Tada će mu kuću oplijeniti!”
28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola.
Doista, kažem vam, sve će se oprostiti sinovima ljudskima, koliki god bili grijesi i hule kojima pohule.
29 Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.” (aiōn g165, aiōnios g166)
No pohuli li tko na Duha Svetoga, nema oproštenja dovijeka; krivac je grijeha vječnoga.” (aiōn g165, aiōnios g166)
30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”
Jer govorahu: “Duha nečistoga ima.”
31 Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo.
I dođu majka njegova i braća njegova. Ostanu vani, a k njemu pošalju neka ga pozovu.
32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”
Oko njega je sjedjelo mnoštvo. I reknu mu: “Eno vani majke tvoje i braće tvoje, traže te!”
33 Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”
On im odgovori: “Tko je majka moja i braća moja?”
34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange!
I okruži pogledom po onima što su sjedjeli oko njega u krugu i kaže: “Evo majke moje, evo braće moje!
35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
Tko god vrši volju Božju, on mi je brat i sestra i majka.”

< Makko 3 >