< Makko 2 >

1 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka.
I pošto nakon nekoliko dana opet uđe u Kafarnaum, pročulo se da je u kući.
2 Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri.
I skupiše se mnogi te više nije bilo mjesta ni pred vratima. On im navješćivaše Riječ.
3 Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana.
I dođu noseći k njemu uzetoga. Nosila ga četvorica.
4 Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke.
Budući da ga zbog mnoštva nisu mogli unijeti k njemu, otkriju krov nad mjestom gdje bijaše Isus. Načinivši otvor, spuste postelju na kojoj je uzeti ležao.
5 Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Vidjevši njihovu vjeru, kaže Isus uzetome: “Sinko! Otpuštaju ti se grijesi.”
6 Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti,
Sjedjeli su ondje neki pismoznanci koji počeše mudrovati u sebi:
7 “Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?”
“Što to ovaj govori? Huli! Ta tko može grijehe otpuštati doli Bog jedini?”
8 Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe?
Isus duhom odmah proniknu da tako mudruju u sebi, pa će im: “Što to mudrujete u sebi?
9 Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule?
Ta što je lakše? Reći uzetomu: 'Otpuštaju ti se grijesi' ili reći: 'Ustani, uzmi svoju postelju i hodi?'
10 Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti,
Ali da znate: vlastan je Sin Čovječji na zemlji otpuštati grijehe!” I reče uzetomu:
11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.”
“Tebi zapovijedam, ustani, uzmi postelju i pođi kući!”
12 Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
I on usta, uze odmah postelju i iziđe na očigled svima. Svi su zaneseni slavili Boga govoreći: “Takvo što nikad još ne vidjesmo!”
13 Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza.
Isus ponovno iziđe k moru. Sve je ono mnoštvo grnulo k njemu i on ih poučavaše.
14 Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera.
Prolazeći ugleda Levija Alfejeva gdje sjedi u carinarnici. I kaže mu: “Pođi za mnom!” On usta i pođe za njim.
15 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde,
Kada zatim Isus bijaše za stolom u njegovoj kući, nađoše se za stolom s njime i njegovim učenicima i mnogi carinici i grešnici. Bilo ih je uistinu mnogo. A slijedili su ga
16 abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?”
i pismoznanci farizejske sljedbe pa vidjevši da jede s grešnicima i carinicima rekoše njegovim učenicima: “Zašto jede s carinicima i grešnicima?”
17 Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Čuvši to, Isus im reče: “Ne treba zdravima liječnika, nego bolesnima! Ne dođoh zvati pravednike, nego grešnike.”
18 Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
Ivanovi su učenici i farizeji postili. I dođu neki i kažu mu: “Zašto učenici Ivanovi i učenici farizejski poste, a tvoji učenici ne poste?”
19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo?
Nato im Isus reče: “Mogu li svatovi postiti dok je zaručnik s njima? Dokle god imaju zaručnika sa sobom, ne mogu postiti.
20 Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba.
Doći će već dani kad će im se ugrabiti zaručnik i tada će postiti u onaj dan!”
21 Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa.
“Nitko ne prišiva krpe od sirova sukna na staro odijelo. Inače nova zakrpa vuče sa starog odijela pa nastane još veća rupa.”
22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”
“I nitko ne ulijeva novo vino u stare mješine. Inače će vino poderati mješine pa propade i vino i mješine. Nego - novo vino u nove mješine!”
23 Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke.
Jedne je subote prolazio kroz usjeve. Njegovi učenici počeše putem trgati klasje. A farizeji mu rekoše:
24 Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.”
“Gle! Zašto čine što subotom nije dopušteno?”
25 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo,
Isus im odgovori: “Zar nikad niste čitali što učini David kad ogladnje te se nađe u potrebi on i njegovi pratioci?
26 bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.”
Kako za velikog svećenika Ebjatara uđe u Dom Božji i pojede prinesene kruhove kojih ne smije jesti nitko osim svećenika; a on dade i svojim pratiocima?”
27 N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti.
I govoraše im: “Subota je stvorena radi čovjeka, a ne čovjek radi subote.
28 Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
Tako, Sin Čovječji gospodar je subote!”

< Makko 2 >