< Makko 16 >
1 Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu.
息日一過,瑪利亞瑪達肋納、雅各伯的母親瑪利亞和撒羅默買了香料,要去傅抹耶穌。
2 Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana.
一週的第一天,大清早,她們來到墳墓那裏;那時, 太陽剛升起,
3 Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.
她們彼此說:「誰給我們從墳墓門口滾開那塊石頭呢﹖」
4 Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo.
但舉目一望,看見那塊很大的石頭已經滾開了。
5 Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!
她們進了墳墓,看見一個少年人,坐在右邊,穿著白衣,就非常驚恐。
6 Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.
那少年人向她們說:「不要驚惶! 你們尋找那被釘在十字架上的納匝肋人耶穌,他已經復活了, 不在這裏了;請看安放過他的地方!
7 Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’”
但是你們去,告訴他的門徒和伯多祿說:他在你們以先往加里肋亞去,在那裏你們要看見他,就如他所告訴你們的。」
8 Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
們一出來,就從墳墓那裏逃跑了,因為戰慄和恐懼攫住了她們,她們什麼也沒有給人說,因為她們害怕。
9 (note: The most reliable and earliest manuscripts do not include Mark 16:9-20.) Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.
(note: The most reliable and earliest manuscripts do not include Mark 16:9-20.) 一週的第一天,清早,耶穌復活後,首先顯現給瑪利亞瑪達肋納:耶穌曾從她身上逐出過七個魔鬼。
10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga.
她去報告那些一向同耶穌在一起的人,那時,他們正在哀號哭泣。
11 N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!
他們聽說耶穌活,並顯現於她,他們卻不相信。
12 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo.
此後,他們中有兩個人往鄉下去;走路的時候,耶穌藉了另一個形狀顯現給他,
13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.
他們就去報告其餘的人,但那些人對他們也不相信。
14 Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.
最後,當他們十一人坐席的時候,耶穌顯現給他們,責斥他們的無信和心硬,因為他們不信那些在他由死者中復活後,見了他的人。
15 N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.
然後耶穌對他們說:「你們往普天下去,向一切受造物宣傳福音,
16 Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.
信而受洗的必要得救;但不信的必被判罪。
17 Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.
信的人必有這些奇蹟隨著他們:因我的名驅逐魔鬼說新語言,
18 Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”
手拿毒蛇,甚或喝了什麼致死的毒物,也決不受害;按手在病人身上,可使人痊癒。」
19 Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
主耶穌給他們說了這些話以後,就被接升天,坐在天主的右邊。
20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.
他們出去,到處宣講,主與他們合作,並以奇跡相隨,證實所傳的道理。